Ekkomera ly'e Makindye

Bisangiddwa ku Wikipedia

Makindye Prison ly'ali kkomera lya Gavumenti ya Uganda eryali litwalibwa Gavumenti eryafuuka ekifo omwatemulwanga abaali bawakanya nga Gavumenti nga tebatwaliddwa mu mbuga z'amateeka mu biseera by'omukulembeze n'akyemalira, Idi Amin.

Ekkomera ly'e Makindye lyazimbibwa era ly'atandikibwa nga ekkomera ly'abantu babulijjo. Lyakyusibwa n'elifuuka ekkomera ly'amagye mu 1971 omukulembeze nakyemalira Idi Amin mu buyinza. Mu buyinza bwe, Amin yatandika okukwata n'okusiba abaali abawakanya Gavumenti ye mu kkomera eryo.

John Kakonge, eyali Minisita w'ebyobulimi mu Uganda wansi wa Milton Obote, yatwalibwa mu kkomera ly'e Makindye ng'eno gyeyattibwa nga akawanga ke kamementulwa n'ennyondo.[1] Abasibe bagambibwa nti okukola ekikolwa ekyo baali bakusonyiyibwa. Buli musibe yaweebwa ennyondo okukola nga munne bweyali akoze n'okukkiriza okwo.Alipoota ey'okubiri eyafulumizibwa y'agamba nti abasibe basimbibwa mu lunyiriri ne basindikirizibwa okukuba omuntu ali mu maaso..[2]

  • Benedicto Kiwanuka yali munnamateeka wa Uganda nga yatulugunyizibwa, bamulaawa n'oluvannyuma n'ayokebwa mu Gwomwenda 1972.

Ekkomera lino likyaliyo e Makindye, Disitulikiti eliraanye ekibuga Kampala mu Uganda.

Ebijulisiddwamu[kyusa | edit source]