Ekkuumira ly'amazike erya Mgahinga

Bisangiddwa ku Wikipedia

Template:Infobox Protected areaEkkuumira ly'amazike erya Mgahinga

Ekkuumiro ly'amazike erya Mgahinga kkuumiro erisangibwa mu bikiikakkono bw'obugwanjuba bwa Uganda. Lwatandikibwawo mu 1991 nga liri ku 33.9 km2 (13.1 sq mi).[1]

Ekifo[kyusa | edit source]

Ekkuumiro ly'amazike erya Magahinga lisangibwa mu nsozi za Virunga era nga lirimu ensozi ssatu omuli Muhabura, Gahinga ne Sabyinyo. Obuwanvu bw'ettaka okwambuka mu bbanga liri 2,227 okutuuka 4,127 m (7,306 okutuuka 13,540 ft) era nga kitundu ku kifo ekisaasaaniddemu amazzi g'omugga Nile. Liriraanye ekkuumiro ly'omu nsozi z'erwanda n'ekitundu ky'ekkuumiro lya Volcanoes mu Democratic Republic eya Congo.[2]

Ekkuumiro liri ku bugazi bwa kkiromita 15 (9.3) ku luguudo okuva nu kibuga ky'e Kisoro ne kkiromita 55 (34 mi) okuva e Kabale ekibuga ekisinga obunene mu kitundu.

Embeera y'obudde[kyusa | edit source]

Ekitundu kifuna enkuba okuva mu mwezi ogwokubiri okutuuka mu gwokutaano; ne mu gwomwenda okutuuka mu gw'ekkumi n'ebiri. Enkuba etonnya omwezi ebeera wakati wa 250 mm (9.8) mu gw'ekkumi etuuka ku 10 mm (0.39) mu gw'omusanvu.

Ebirimu[kyusa | edit source]

  Ekkuumiro lirimu ebibira bya bamboo, Albertine Rift montane , Ruwenzori-Virunga montane moorlands ne tree heath era nga ebifo eby'ensozi binnyogovu.[3]

Ebisolo[kyusa | edit source]

Ebisolo ebiyonsa mu kkuumiro amazike ag'omu nsozi (Gorilla beringei beringei) n'enkima (Cercopithecus kandti).[4]

Bino bye binyonyi ebyazuulibwa mu kkuumiro mu 2004. handsome spurfowl, dusky crimson-wing, red-throated alethe, Kivu ground thrush, Rwenzori turaco, Rwenzori batis, Rwenzori double-collared sunbird, collared apalis, mountain masked apalis, Archer's ground robin, stripe-breasted tit, blue-headed sunbird, regal sunbird, strange weaver, montane nightjar, red-faced woodland warbler neGrauer's swamp warbler.[5]

Ebyafaayo[kyusa | edit source]

Ekkuumiro lya ly'amazike ga Mgahinga lyatandikibwawo mu 1991 mu kifo ekyali kikuumibwamu ebisolo wakati w'emyaka gya 1930 ne 1950 ne ekitundu ku lyo kyafuulibwa ekirimirwako. Okunoonyereza mu byobutonde kwatandika mu 1989 emitego gya waya gyayonoonebwa, abalambisi ne batendekebwa n'emiti ne gisimbibwa. Abantu abaali mu kifo ne basengulibwa ne bazzibwa mu bido wabweru w'ekkuumiro mu myaka gya 1990 egyasooka.[6]

Mu museenen wa 2013, ekibiina ky'abayeekera ekya M23 kyawaayo ekkuumiro oluvannyuma lw'oluwangulwa amagye ga Congo.[7]

Laba ne[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwa[kyusa | edit source]

  1. Butynski, T. M., Kalina, J. (1993). "Three new mountain parks for Uganda". Oryx. 27 (4): 214–224. doi:10.1017/s003060530002812x.{{cite journal}}: CS1 maint: uses authors parameter (link) Butynski, T. M., Kalina, J. (1993). "Three new mountain parks for Uganda". Oryx. 27 (4): 214–224. doi:10.1017/s003060530002812x.{{cite journal}}: CS1 maint: uses authors parameter (link)
  2. Butynski, T. M., Kalina, J. (1993). "Three new mountain parks for Uganda". Oryx. 27 (4): 214–224. doi:10.1017/s003060530002812x.{{cite journal}}: CS1 maint: uses authors parameter (link) Butynski, T. M., Kalina, J. (1993). "Three new mountain parks for Uganda". Oryx. 27 (4): 214–224. doi:10.1017/s003060530002812x.{{cite journal}}: CS1 maint: uses authors parameter (link)
  3. Butynski, T. M., Kalina, J. (1993). "Three new mountain parks for Uganda". Oryx. 27 (4): 214–224. doi:10.1017/s003060530002812x.{{cite journal}}: CS1 maint: uses authors parameter (link) Butynski, T. M., Kalina, J. (1993). "Three new mountain parks for Uganda". Oryx. 27 (4): 214–224. doi:10.1017/s003060530002812x.{{cite journal}}: CS1 maint: uses authors parameter (link)
  4. Butynski, T. M., Kalina, J. (1993). "Three new mountain parks for Uganda". Oryx. 27 (4): 214–224. doi:10.1017/s003060530002812x.{{cite journal}}: CS1 maint: uses authors parameter (link) Butynski, T. M., Kalina, J. (1993). "Three new mountain parks for Uganda". Oryx. 27 (4): 214–224. doi:10.1017/s003060530002812x.{{cite journal}}: CS1 maint: uses authors parameter (link)
  5. Butynski, T. M., Kalina, J. (1993). "Three new mountain parks for Uganda". Oryx. 27 (4): 214–224. doi:10.1017/s003060530002812x.{{cite journal}}: CS1 maint: uses authors parameter (link) Butynski, T. M., Kalina, J. (1993). "Three new mountain parks for Uganda". Oryx. 27 (4): 214–224. doi:10.1017/s003060530002812x.{{cite journal}}: CS1 maint: uses authors parameter (link)
  6. Butynski, T. M., Kalina, J. (1993). "Three new mountain parks for Uganda". Oryx. 27 (4): 214–224. doi:10.1017/s003060530002812x.{{cite journal}}: CS1 maint: uses authors parameter (link) Butynski, T. M., Kalina, J. (1993). "Three new mountain parks for Uganda". Oryx. 27 (4): 214–224. doi:10.1017/s003060530002812x.{{cite journal}}: CS1 maint: uses authors parameter (link)
  7. "DR Congo's M23 rebel chief Sultani Makenga 'surrenders'". BBC News. 2013.