Ekkuumiro ly'ebisolo erya Katonga
Template:Infobox Protected areaEkkuumiro ly'ebisolo erya Katonga.
- Ekkuumiro ly'ebisoro erya Katonga kkuumiro mu buvanuba bwa Uganda ku mbalama z'omugga Katonga. Ekkuumiro lyatandikibwawo mu 1998 nga litudde ku bugazi bwa ssukweya kkiromita 211 (81 sq mi). Ebimera n'ebisolo ebingi ebiri mu kkuumiro tebitera kulabika mu bifo by'entobazi.
Omugga Katonga
[kyusa | edit source]Ekkuumiro lyatuumibwa oluvannyuma lw'omugga Katonga ogukulukuta okuva mu kitoogo ekiri mu bukiikaddyo bw'obugwanjuba bw'ennyanja Wamala okudda eri ennyanja Nalubaale mu bugwanjuba, okutuuka ku nnyanja George mu buvanjuba.
Ekifo
[kyusa | edit source]Ekkuumiro lisangibwa mu disitulikiti z'omubugwanjuba eza Ibanda ne Kamwenge. Mu Kamwenge, lisalagana n'omuluka gw'e Bugiri n'ekitundu ku muluka gw'e Mpara mu Kyenjojo. Ekkuumiro litudde ku bugazi bwa kkiromita 200 (120 mi) ku luguudo mu buvanjuba bwa Kampala, ekibuga kya Uganda ekikulu. Ensalo z'ekkuumiro ziri 00 02N, 30 25E.
Omuddo
[kyusa | edit source]Omuddo gw'ekkuumiro mutabike ogwa savannah ne acacia oba woodlands. Ekitundu ky'ekkuumiro ekisinga obunene gwa nkalakkalira oba gwa sizoni. Waliwo riverine n'ebibira ebimerukawo ku bw'enkuba.[1]
Ebisolo
[kyusa | edit source]Waliwo ebisolo ebisukka amakumi ana n'ebinyonyi ebisukka 150 mu kkuumiro.[2] Ebisolo ebiri mu kkuumiro mulimu:
- Sitatunga
- Reedbuck
- Waterbuck
- Warthog
- Bushbuck
- Enkima enjeru
- Enjovu
- Engonge
Ekkuumiro lisinga kulambulwa ku bigere oba ku bwato bw'oku nnyanja. Uganda Wildlife Authority ekuuma ekifo n'abalamisi wamu n'ekiriiro mu kkuumiro.
Ebijuliziddwa
[kyusa | edit source]- ↑ The vegetation of Katonga Wildlife Reserve Template:Webarchive
- ↑ Fauna of Katonga Wildlife Reserve Template:Webarchive