Ekkuumiro ly'ebisolo erya Kidepo Valley

Bisangiddwa ku Wikipedia

Ekkuumiro lya Kidepo Valley litudde ku sukweya kkiromita 1,442 (557 sq mi) mu bitundu by'e Karamojja mu bukiikaddyo bw'obugwanjuba bwa Uganda. Kidepo esangibwa mu Savannah, nga esingamu Mount Morungole ku mmita 2,750 (9,020 ft) era eyitamu emigga Kidepo ne Narus.

Ekifo[kyusa | edit source]

Ekkuumiro lya Kidepo Valley lirinaanye Karenga mu disitulikiti y'e Kaabong mu nsonda y'obukiikakkono by'obuvanjuba bwa Uganda. Ekkuumiri kisuubirwa nti liri ku kkiromita 220 (140mi) okuva mu kibuga ekisingawo obunene eky'e Moroto. Okuva e kampala liri ku kkiromiyta 520 (20mi) ekibuga kya Uganda ekikulu era ekisinga obunene.[1]

Ensalo y'ekkuumiro ey'obukiikakkono bw'obuvanjuba ey'ekkuumiro eviira ddala Bira, mu Sudan ey'amaserengeta n'ekwata ku kkuumiro ly'ekidepo.

Ebyafaayo[kyusa | edit source]

Baketebo oba Bamening be balimi era abayizzi ababeera mu kitundu okuviira ddala mu 1800 nga terinnafuulibwa kkuumiro lya bisolo gavumenti y'abafuzi b'amatwale mu 1958. Omugaso gwa kino kwali kutaasa bisolo okubiyigga n'okusaanyaawo ensiko nga batangira ebivu.[2] Okusengula abatuuze n'enjala eyakivaamu okusingira ddala Bakerepo abaggyibwa mu kifo kino ku mpaka okubateeka mu bifo ebirinaanye Bira nga Napotpot, Kalo Kudo, namosingo, Loriwo ne Naurkori mu South Sudan kirabika ng'ekifo ekikuumibwa ng'ekyokulabirako n'obutakkiriza bikivaamu olw'obutafa ku byetaago by'ekitundu bwe baali bateekateeka ekkuumiro.[3]

Gavumenti ya Uganda empya wansi wa Milton Obote ekkuumiro yalifuula Kidepo Valley National Park mu 1962. Omukuumi w'ekkuumiro omukulu eyasooka yali Ian Ross, omungereza. Mu 1972, Paul Ssali omunnayuganda yamuddira mu bigere. Okuwaanyisiganya obuyinza n'okutendekebwa kwabwe kwali ku katambi ka firimu y'Abamerika. "The Wild and the Brave.[4]"

Enkula y'ekitundu[kyusa | edit source]

Ekkuumiro lirimu emigga emikulu ebiri ne Kidepo ne Narus. Ekikko kiri wakati wa ffuuti 3,000 (910mi)

Kanangorok (era ekinyukutawazibwa nga Kananorok oba Kanatarok) ky'ekiriyiriro ekisangibwa ku nkomerelo y'ekkuumio mu bukiikakkono, mu Lotukei, ku nsalo ya Sudana ey'amaserengeta. Ekiriyiriro kino y'ensulo y'amazzi ey'enkalakkalira mu kkuumiro.

Ettaka ly'ekkuumiro lya lubumbabumba. Mu Kidepo Valley, ettaka ery'olubumba eriddugavu n'ery'olusenyusenyu eriddugavu lye lisingamu, wabula nga omugga Narus gwo gulina ebbumba erimyufu n'ettaka eriddugavu.[5]

Ebisolo[kyusa | edit source]

Entulege za Maneless, ekikula kya plains zebra

Ekiwonvu Narus[kyusa | edit source]

Narus linnya eryakiweebwa bakatebo oba bamening n'ekika kya ba Amening abaali babeera mu kiwonvu. Omuddo gw'omukiwonvu gwe mumpi ogwa red oat n'omuwanvu ogwa Guinea n'ogwa fine thatching.[6] Emiti egisinga mu kitundu kya kya red thorn acacias, desert dates n'emitonotono egya drumstick. Emiti gya sausage ne fan palms gibibidde amazzi. Euphorbian candelabrum n'emimpi egya monkey bread (oba camel's foot) ne Buffalo thorn.[7]


Amazzi ga Perennial gafuula omugga Kidepo okubeera ensibuko y'amazzi mu kyeya nga lirimu ebisolo ebiyonsa ebisukka mu 86 omuli; empisi, empologoma, engabi, engo, embwa zoomunsiko, enjovu, entulege, embogo wamu n'ebinyonyi kumpi 500.[8]

Emigga mu Kidepo Valley giringa ekibatu. Ebifo ebiri mu nsozi zirina ensiko ya whistling thorn acacias.[9]

Obukulembeze bw'ekkuumiro[kyusa | edit source]

Ekkuumiro likulemberwa ekitongole ky'ebisolo mu ggwanga. USAID mu gwomunaana gwa 2013 yali eteeka ssente mu kuddaabiriza enguudo mu kkuumiro.

Obukulembeze[kyusa | edit source]

Ekkuumiro likulirwa Chief Warden. Ekifo kino kibadde ba waeden bano.

  • 1958–1962 Tony Henley[10]
  • 1964–1972 Ian Ross

ODUR ye mufirika omuddugavu eyasooka chief warden w'ekkuumiro okukulembera Kidepo mu 1960 okusooka Paul Ssali.first black African to be chief park warden managed Kidepo in the 1960s before Paul Ssali

  • 1972– ? Paul Ssali
  • –1981 A.M.K. Bendebule (yafiira mu kabenje k'ennyonyi mu kkuumiro)[11]
  • 1994– Peter Lotyang
  • 1996 Anjelo Ajoka
  • 1998 (akola nga ) Daniel Aleper [12]
  • 2001-2002 Joseph Sentongo [13]
  • 2003-2006 Kuloao Okwongo [14]

Edward Asalu nga chief park warden Capt. John Emille Otekat naye yakolako nga chief warden w'ekkuumiro.

  • 2008 Henry Tusubira [15]
  • 2013 Johnson Masereka

Ensimbi[kyusa | edit source]

Mu mwaka gw'ebyenfuna 2009-2010 Kidepo yafuna 294M ssente ya Uganda (US$129k oba €99k nga 1, ogwomunaana, 2010) okuva mu bagenyi 2100. Mu mwaka gw'ebyenfuna 2012-2013 zaali zeeyongedde okutuuka ku UGX 466M ($178k oba €134k nga 1, ogwomunaana, 2013) okuva mu bagenyi 2300.[16]

Emirimu gy'okukuuma[kyusa | edit source]

Entuga[kyusa | edit source]

Bannakyewa ba Mercy Corps

Mu myaka gya 1960, Kidepo yalina entuga ezisukka mu 400. Mu 1992zino zaali ziyiggiddwa okutuuka ku nsolo ssatu zokka, nga mwalimu enkazi emu. Mu 1997 Warden Peter Möller yafuna obuyambi okuva mu Frankfurt Zoological Society okusengula entuga okuva mu kkuumiro lya Lake Nakuru e Kenya. Enkazi emu yafa mu kifo mwe zikuumirwa mu Lake Nakuru. Enkazi bbiri n'ensajja emu zaabbuusibwa okutwalibwa mu Kidepo. Mu Kidepo ensajja emu yallibwa nga kyejje etwalibweyo.[17]

Obulambuzi[kyusa | edit source]

Okulambula ebisolo kisoboka mu mmotoka ku nguudo eziyita mu kkuumiro okutuuka mu bukiikaddyo n'obuvanjuba bw'ekkuumiro. Enguudo ezimu ez'enfuufu kiteekeddwamu mmalamu era nnungi mu budde bwonna.

Ebijuliziddwa[kyusa | edit source]