Jump to content

EkkyO (IQ)

Bisangiddwa ku Wikipedia
One kind of IQ test item, modelled after items in the Raven's Progressive Matrices test

Gakuweebwa Charles Muwanga !!"Ekkyo" kifundiwazo kya bigambo bya Luganda bino wansi:

(i)Ekipimo ky'Obugezi(measure of Wisdom) (ii)Ekipimo ky'Obwakalimagezi(measure of Intelligence) (iii)Ekigeranyo ky'Obwakalimagezi(Intelligence Quotient) (iv)Ekigeranyo ky'Obugezi (Wisdom Quotient)

"EkkyO"(IQ) epimibwa akusinziira ku mugerageranyo gwa 100(Ratio of 100). Omuntu ayinza okuba n’EkkyO eya 100 , eri wansi wa 100 , oba waggulu wa 100.EkkyO(IQ) mu njogera ey'oluganda olw'ekiyivu esonjolwa bweti:

EkkyO Ensonjola 140 Kagezimunyu 120 - 140 Kalimagezi omusukkulumufu 110 - 120 Kalimagezi omusukkulumu 70 – 110 Kalimagezi owabulijjo 60 - 70 Kalimagezi owa kibogwe 50 - 60 Katwe wungu 50 Muwugulavu 40 Muwutta 30 Muwuttufu 20 Muwunguttufu

Embeera ezifuga Ekkyo

Okufaanana n’obwakalimagezi (intelligence), Ekipimo ky’Obuwakalimagezi (Ekkyo) kisinziira ku bintu ebikulu bibiri:

i) Obuzaale ii) Embeera omuntu gy’abeeramu


Buli buwangwa buba n’ebigambo ebyekuusiza ku “okumanya”(knowing), “okutegeera” (understanding), okusegeera(sense perception) , “okukwata”(grasping), n’amagezi”(wisdom) . Mu luganda era tuyinza okwogera ku muntu kalimagezi oba (intelligent person) n’omuntu kagezimunyu(genius) . Bino byonna mwe muva omulamwa gw’obwakalimagezi (intelligence). Obwakalimagezi kikwata ku “bugezi” bwa muntu ‘Okunoonyereza kulaga nti obusobozi obusinga obw’okukozesa obwongo okuzibuwavu ( complex reasoning) businziira ku mbeera omuntu gy’alimu. Omuntu ayinza okuba kagezimunyu mu sayansi w’ensolo naye nga mu kutabagana n’abantu abalala muwugulavu(alina ekimuwugula oba awaba). Kino kitegeeza nti ensengeka z’okumanya mu bwongo bw’abantu za njawulo. Obwakalimagezi kyeyorekera mu ngeri nnyingi omuli, okusengeka ebirowooza(logic), okutondeka ebirowooza(abstruction), okutegeera, okukwata, okuwuliziganya n’abalala, okuyiga, okumanya ebijja abantu mu mbeera, okujjukira, okuteekateeka, n’okujjawo obuzibu.

Obwakalimagezi kisonjolwa nga obusobozi okuyiga, okutegeera, okwang’anga embeera empya. Obwakalimagezi’ kiraga obusobozi okutuuka ku kulowooza okuzibuwavu n’okukozesa obwongo okuzibuwavu. Obwakalimagezi businziira ku mbeera enkulu bbiri.

i) Obuzaale (Heredity) ii) Embeera omuntu gy’abaamu (Environment) Entabiro (interplay) y’obuzaale n’embeera omuntu gy’abeeramu kintu kikulu nnyo okusobola okukulakulanya obusobozi bw’obuyivuwavu obw’omuntu.

EkkyO(IQ) kifundiwazo oba katugambe “ekigambo ekyatulirwa mu bufunze bwakyo” (acronym). Okufaananamu n’oky’olungereza IQ (Intelligence Quostient) , EkkyO kifundiwazo ekiggwayo : “Ekipimo ky’obwakalimagezi” ekitegeeza” Measure of intelligence oba “intelligence quostient”.


EkkyO         Obwogi bwa Mulengera (OM)    x  100

Obukulu mu myaka (BM)


Mu kubaza okusingayo obwangu , ekipimo ky’obwakalimagezi kiba kyenkanankana obwogi bw’Omulengera(OM) nga ogabizzaamu obukulu mu myaka (BM) n’okubisaamu 100.

Eky’okulabirako, singa omwana atandika okusoma ku myaka ebiri n’ekitundu ate nga’abasinga batandikira ku myaka mukaaga, omwana oyo aba afuna “EkkyO YA 200. Kino kipimo kya waggulu nnyo, ekitasangikasengika. Eyo EBA EkkyO ya mugerageranyo (ratio IQ).

Mu ngeri endala, singa omwana akola ekintu oky’etaagisa amagezi og’omuntu ow’emyaka 20 , ono aba ne EkkyO ya 200.

EkkyO epimibwa akusinziira ku kigero kya 100. Omuntu ayinza okuba n’EkkyO eya 100 , eri wansi wa 100 , oba waggulu wa 100. Okunoonyereza okukoleddwa kulaze nti amawanga agakulaakulanye mu bulaaya, Amerika ne Aziya ge galina abantu abasinga okuba ne EkkyO eziri waggulu ate agaffe aga Afrika ne gakwebera nga ekigero kya EkkyO eky’abuddugavu kiri ddala wansi nga ku 65 ng’ate agasajjakudde gali 100 n’okusingako.

Mu ndowooza yange EkkyO y’abaddugavu okuba wansi kiyinza okuva ku kuddirira kwaffe mu bwakalimagezi olw’okuyigiriza abaana baffe mu nnimi engwira ne bakonziba obwongo nga bato, okwo kw’ogatta embeera endala ng’obwanvu n’obuwangwa obwesigama ennyo ku sikimanyikitye(superstitution) mu kifo ky’okukola okunonyereza ku kiri emabega w’oobutonde n’embeera enzibuwavu okutegeera.