Ekyewuunyo eky'Obutonde (The Miracle in Nature)

Bisangiddwa ku Wikipedia
Ekyewuunyo eky'Obutonde kiwandiiko ekiweerezeddwa Omubuurizi w'enjiri ya Yesu, Muwanga Charles. Obadde okimanyi nti Obutonde kyewuunyo kyennyini abawandiisi b'ebyawandiikibwa ebitukuvu kye wawandiikako emyaka nkumu na nkumi egiyise ?

Ekyewuunyo eky’Obutonde -Zabbuli 104:24 (The Wonder of Nature)

Okusumululwa kutandika na kumanya “ekyewuunyo eky’obutonde” (the wonder of creation). Omutontomi (the Psalmist) mu Zabbuli 104:24 yewuumya engeri Katonda gye yatondamu obwengula n’ensi na buli kitonde ekibulimu ng’agamba nti:

“Ayi Katonda, ng’otonze ebintu eby’enjawulo ebiwuniikiriza! Obikoze mu magezi agatasangika byonna. Ensi ejjudde ebitonde byo”. Omukono gwa Katonda ogw’Amaanyi.

Ekyewwunyo eky’obutonde kyoleka amaanyi ga Katonda. Mu Yeremiya 32:17 omusajja wa Katonda omulala yewuunya nti: “Yii! Ayi Mukama, Katonda, watonda eggulu n’ensi n’omukono gwo ogwegolodde, n’omukono gwo ogw’amaanyi; tewali kikulema”. Omuntu ateefumiitiriza ku butonde obw’ekyewuunyo bw’alabako oba oyo eyefumiitiriza naye n’atalaba mukono gwa Katonda ogw’amaanyi oguli emabega w’obutonde, aba yetaaga okusumulumwa obwongo/omulungera gwe (his or her mind), asobole okulaba ekyewuunyo ekiri mu butonde.

Obukakafu obusooka, obulaga nti Katonda gwe tusinza gyali, bweyolekera mu kibalo ekyawaggulu eky’obutonde bw’obwengula na buli kiramu ekibulimu. Ekyewuunyo eky’obutonde kyeyolekera mu:

(i) Okubaawo kwo. Kino ky’ekyewuunyo ekisooka.

(ii) Obwengula obw’ekibalo

(iii) Sayansi ow’ekibalo mu butaffaali bw’ebiramu

Buli kintu ekiri mu bwengula ne ku nsi, ebiramu n’ebitali biramu, bizimbibwa “akatoffaali” (particle) akasirikitu akayitibwa “akazimba” (atomu). Buli ndagakintu (element) erina obuzimbe bw’akazimba obwayo obugyawula ku ndagakintu endala 118. Obuzimbe (structure) bw’akazimba akasirikitu bwa kibalo kya waggulu nnyo (bwa kyewuunyo) okufaanana n’obuzimbe bw’obwengula. Kano wansi ke kamu ku buzimba obw’endagakintu 118 eziriwo. Akazimba kano kalina obutoffaali obutinniinya (obutini ennyo) munda mwako, omuli obusannyalazo (electrons), obukontanyo (Protons), ne nampawengwa (neutrons).


Kyokka buli kiramu kizimbibwa “obutaffaali” (living cells), buno nga nabwo buzimbibwa obutoffali (particles), obusirikitu obuyitibwa “obuzimba (atomu). Kino kitegeeza nti akatoffaali akayitibwa “akazimba”, katini nnyo okusinga “akataffaali” k’ekiramu. Mu butonde bwe, omuntu akolebwa omubiri, omwoyo w’obuntu (the soul), n’omwoyo w’obwakatonda (the spirit that yearns for God). Omwoyo waffe ow’obwakatonda y’atusobozesa okukenga omukono gwa Katonda omusukkulumu ogweyolekera mu kibalo ky’obutonde obw’ekyewuunyo.

(i) Gwe Kyewuunyo ekisookerwako (1 Abakolinso 12: 12-27; Abaluumi 12:4-5)

Okimanyi nti omubiri gwo guyimiriddewo olwa sayansi ne tekinologiya Katonda gwe yaguteekamu akusobozesa okubaawo olw’engerekera za kalonda w’obutonde ezitali za kyeyagalire, ezigenda mu maaso mu mubiri gwo mu kimpowooze nga ggwe nnannyini gwo towulira kigenda mu maaso. Zino zonna, mu butuufu, si ngerekera za butonde (natural instincts) wabula ngerekera za Katonda (divine instincts), Namugereka agerekera obutonde, obulamu n’obutali bulamu bwonna, olw’engerekera zeyateeka mu mubiri gwo okukusobozesa:

 Okukola ku mmere gy’olya okugijjamu ebiriisa n’amasoboza (energy).

 Okussa n’okukozesa empewo eya okisigyeni gy’oyingiza ate n’ofulumya kabonibbiri-okisaidi ng’empewo eya kazambi.

 Okukola enketteso (sensing) ez’enjawulo omuli okulaba n’amaaso, okuwunyiriza n’ennyindo, okusenserwa obulumi ng’okutte ku kintu, okulega n’olulimi lwo, okuwulira n’amatu go.

 Obwongo bwo okuvaamu embeera ey’obwakalimagezi/obugezi (intelligence) okuyita mu mulengera gwo (your mind)

 Okufuga ebbugumu ly’omubiri gwo.

 Ebyana okusikira enkula (traits) okuva ku bizadde oba obujajja bwabyo.

 Ebigenda mu maaso mu butaffaali bw’ebiramu okuyita mu ndagabuzaale/ennabuzaale (genes) n’edagabutonde (DNA).

Mu butuufu, omubiri gwo nsengekera (nsengeka eyemalirira) eyawamu ey’ekyewuunyo, omuli ebitundu by’omubiri (body organs) eby’enjawulo. Buli kitundu kya mubiri nsegekara (system) ku bwakyo kyokka ate ensengekera zino zonna ne zikola ensengera eyawamu (collective system), esobozesa omubiri gwona okubaawo nga mulamu. Waliwo;

a) Ensengekera ey’okulaba (the optical system), ensengeka ey’emalirira ey’eriiso ekusobozesa okulaba

b) Ensengekera ey’obusimu (the nervous system), ensengeka eyemalirira etambuza obubaka obutambula nga sigino z’amasannyalaze okuva mu buli kitundu kya mubiri okudda ku bwongo obukola okutaputa obubaka obwo n’omanya buli kintu ekigenda mu maaso mu mubiri gwo ne wabweru waagwo.

c) Ensengekera ey’amasitula (skeleton system), eno nayo nsengeka eyemalirira ey’amagumba, okusitukira oba okuwanirirwa omubiri gwo ne guyimirira bulungi nga bwegufaanana.

d) Ensegekera ey’ekifulumya-musulo (the urinary system), ensengeka eyemalirira (self-sustaining arrangement) ey’okufulumya omusulo okuva mu mubiri.

e) Ensengekera ey’emifumbi (the muscle system). Eno y’ensengeka ey’emalirira ey’emifumbi. Emifumbi gizimbibwa obutabalika bw’obutaffaali obw’ebitundu by’omubiri byonna.

f) Ensengekera y’ekitambuza-musaayi (the circulatory system), eno y’esengeka eyemalirira etambuza omusaayi okugenda n’okuva mu buli kitundu kya mubiri.

g) Ensengekera ey’ekizaazi (Reproductive system)

h) Ensengekera ey’ekiremesa-ndwadde (immune system)

i) Ensegekera ey’ekikyusanya-mpewo (respiratory system). Eno erimu amawuggwe (lungs) n’emiyitiro gy’empewo (air ways)

j) Ensegekera ey’ekivululo (endocrine system). Eno erimu obutimbagano bw’obuvuluzi (network of glands), obuvulula ebyongezabwangu (hormones), ebiyamba mu kwanguyiriza ebikolebwa mu mubiri eby’enjawulo.

k) Ensegekera y’ekifulumyakazambi (the secretary system).

l) Ensegekera y’ekikugiro (integumentary system). Eno eziiyiza oba okukugira ekintu kyonna okuva wabweru w’omubiri okutuusa obuvune munda mu mubiri. Ensegekera eno erimu olususu lwo, enjala, obuvuluzi bw’entuuyo (sweat glands), n’enviiri.

Ensengekera yÓbusimu y’emu ku byewuunyo ebiri mu mubiri gwo

(ii) Ekyewuunyo eky’olugyegere lw’amasoboza (the Wonder of the energy chain)

“Amaanyi agasobozesa”, mu bufunze “amasoboza” (energy) ge “amaanyi agasobozesa” (ability to do work) buli ekigenda mu maaso mu bwengula, mu mibiri gy’ebiramu, mu sayasi ne tekinologiya.

Mu sayansi waliwo amasoboza ga bika bibiri (a) amasoboza amatereke (potential energy) (b) amasoboza agaba mu kuva (motion/kineticenergy). Mumasoboza amatereke mulimu amasoboza ag’emmere (food energy) n’amasoboza ag’enkyusabuzimba (chemical energy). Amasoboza agaba mu kuva ge masoboza agakokozesebwa (working energy), ng’amasoboza ag’ebidduka oba amasoboza ag’ekitambuzo (mechanical energy), agatambuza ebitundu by’ensengekera (causing parts of a system to move).

Omuntu oba ensolo endala yonna teyinza kukola kintu kyonna yadde okutambula ng’omubiri tegulina maanyi gagusobozesa, agayitibwa amasoboza ag’emmere (food energy). Ekitondekamaanyi (engine) kya motoka oba eky’ennyonyi, tekisobola kugitambuza nga teteereddwamu masoboza, gano nga ge mafuta aga nakavundira (fossil fuel) oba amasannyalaze, amaanyi agagisobozesa okutambula oba okubuuka.

Ensolo nga n’omuntu mw’omutwalidde zifuna amasoboza gaazo okuva mu mmere gye zirya. Gano ge gayitibwa amasoboza ag’emmere (food energy). Amasoboza ag’emmere ensolo zigaggya mu bimera ate ebimera bbyo bifuna amasoboza gabyo butereemu okuva ku kitangaala ky’enjuba.

Amafuta aga nakavundira (fossil fuel) gava mu byali, omuli ebimera n’ensolo ebyali by’atereka amasoboza gaabyo okuva mu kitangaala ky’enjuba okuyita mu kalonda w’obutonde (natural phenomenon) ayitibwa “akitangattisa” (photosynthesis), emyaka mitwalo na mitwalo. Okiraba nti enjuba y’ensibuko y’amasoboza esookerwako (primary energy source). Amasoboza gano ge maanyi agakozesebwa ebiramu ne tekinologiya yenna ku nsi kuno.

Olugyegere lw’amasoboza(The Energy Chain)

Ekyo si kyewuunyo? Katonda kagezimunyu ataliiko kkomo ye yasengeka obwengula na buli ekigenda mu maaso mu kibalo ekya waggulu bwe kityo, si buttoned ku bwabwo!

(iii) Sayansi Ow’ekibalo ekya waggulu ali mu butaffaali bw’ebiramu.

Okusinziira ku muwandiisi Kalungi Chritiano mu kitabo kye: Essomabiramu (Biology), essomabuzaale (Genetics), ly’essomo ly’engeri ebiramu gye bisikiramu enkula okuva mu bizadde oba obujjajja bwabyo. Essomabuzaale ye sayansi w’essomabiramu (biological science), asoma:

a) Engeri ebiramu gye bisikira enkula (traits) n’enjawukano (variation) z’ebizadde byabyo okuva mu mulembe ogumu okudda mu mulala. Kino kikwata ku ngeri ebiramu gye bisikiramu endabika zabyo nga langi y’amaaso, endabika y’enviiri, ennyindo, emimwa, obuwanvu, n’ebirala okuva ku bizadde byabyo.

b) Engeri emibiri gy’ebiramu gye gyebezaawo nga miramu. Endagabuzaale/ennabuzaale (genes) zirimu ebiragiro (instructions) ebyetaagisa okukola “obuzitoya” (molecules) obuyitibwa “ebizimbamubiri ” (proteins), obuzimba ebitundu eby’enjawulo mu mubiri gw’ekiramu.

Endegabuzaale (genes) buba “butereke” obusirikitu obusangibwa mu buli kataffaali (living cell), obutereka ebiragiro (instructions) oba obubaka (information), omuba ebiragiro, obutegeeza endagabutonde (DNA) ki eky’okukola. Kumpi buli kataffaali mu mubiri gw’ekiramu kaba n’endagabutonde y’emu. Ebiragiro oba obubaka mu ndagabutonde buterekebwa mu ndagabuzaale (genes). Edagabutonde eyinza okweyabuluzaamu kopi endala oba ezaayo zennyini.

Endagabuzaale y’eraga endagabutonde (DNA) buzaale ki obw’okusikiza ekito okuva mu bizadde oba mu bujajja bwabyo ate era n’etegeeza endabutonde mu buli kataffaali okuzimba ebizimbamubiri (proteins) ebyetaagisa okuzimba ebitundu by’omubiri eby’enjawulo. Omubiri gw’ekiramu mu butuufu nsengekera (nsengeka eyemalirira) ey’ekyewuunyo nga buli kitundu kirina ensengeka yakyo kyokka ng’ekwatagana n’ensengekera (systems) endala okubezaawo ekiramu.

Ekigenda mu maaso mu mubiri gwo n’olwekyo ky’ekyewuunyo ekisooka ekiraga Namugereka (Katonda), engeri gye yagereka obulamu mu ngeri ey’ekibalo ekya waggulu.Oyo atalaba mukono gwa Katonda mu butonde bwe aba aliko ekikyamu ku mutwe!!

(iv) Ekyewuunyo eky’Obwengula

Enzitoya (masses) eziri mu bwengula, omuli ebisinde (galaxies), ensengekera z’enjuba (solar systems), enkulungo (planets) zaazo, ne seng’endo endala entonoko nga emyeeziomuli omwezi gwa kaluuna (lunar moon) ogw’ebulungula ensi yaffe eno n’ebikomete (comets), nteeketeeke mu kibalo ekya waggulu ennyo, ekisukkulumye ku magezi ag’obuntu.

Tewali mpagi ewaniridde nzitoya oba seng’endo zino obwaguuga mu bwengula kyokka tewali eva mu buyitiro bwayo (its orbit) kutomeregana na ndala, so ng’ate buli emu ku butabalika bw’enzitoya zino eri mu kuva okw’entakoma (continuous/unending motion). Ensi yaffe okwetoloolera ku kisiisi kyayo (its axis) okumala essaawa 24 kye kituwa obudde obw’emisana mwe tukolera emirimu n’obw’ekiro ne tusobola okuwummulako (okwebaka). Olaba enteekateeka eyo!! Obadde okimanyi nti empagi ewaniridde buli seng’endo mu bwengula eri mu kukontana wakati w’enzitoya emu, ennene ennyo, n’endala entono, wakati w’enjuba n’enkulungo zaayo. Waliwo okukontana wakati w’enjuba n’enkulungo ezisangibwa mu kyebulungulo kyayo ek’essikirizo (its gravitational field). Waliwo empalirizo esikira mu makkati (centripetal force) okuva mu njuba ate era ne wabaawo empalirizo eviira amakkati esangibwa mu nkulungo z’enjuba (solar planets).

Okukontana wakati w’empalirizo esikira mu makkati (centripetal forces) okuva mu njuba n’empalirizo eviira oba eyawaggula ku makkati (centrifugal forces) ky’ekikuumira awamu ensengekera y’enjuba, buli nkulungo n’esigala mu kuva mu buyitiro bwayo (its orbit) okwatoloola enjuba mu ntakoma (infinitely). Ekyo nakyo kyewuunyo kya butonde ekiraga obukakafu obwenkukunala nti Katonda Namugereka, gyali, eyatonda obwengula n’ensi, mu kibalo ekya waggulu ennyo.

Ensengeka y’Obwengula (the cosmic arrangement)

Obuzimbe bw’obwengula busengekeddwa mu kibalo ekya waggulu ennyo ekirimu obutabalika bw’ebisinde (galaxies) nga buli kisinde kirimu obutabalika bw’ensengekera z’enjuba (solar systems)/emmunyenye (stars) ate nga buli mmunyenye/njuba yebulunguddwa enkulungo (planets) eziri mu kyebulungulo kyayo eky’essikirizo (its gravitational field).

Buli kisinde (every galaxy), kiri mu kuva okutakoma, na buli nsengekeraya njuba (every solar system) eri mu kuva okutakoma n’enkulungo zaayo kyokka na buli nkulungo eri mu kuva oba omugendo ogutakoma okwetoloola enjuba yayo kyokka tewali kisinde, njuba(mmunyenye), oba enkulungo eva mu buyitiro bwayo okutomeragana n’endala. Ekyo singa kiba kibaddewo enteekateeka y’obwengula eba esaanawo mu kabenje ddekabusa.

Mu bisinde obutabalika obuli mu bwengula, ekisinde, ensengekera y’enjuva yaffe (Our solar system) mw’esangibwa kiyitibwa “ekisinde eky’olutangalijjo (the Milky Way Galaxy), nakyo kyokka ekirimu ensengekera z’enjuba butabalika. Obusangiro (the location of) bw’ensengekera y’enjuba yaffe mu kisinde eky’olutangalijjo era ekiyitibwa ekisinde eky’oluta, ensi yaffe mw’esangibwa buli kumpi n’amabbali g’ekisinde kino nga bwe kiragiddwa mu bifaananyi bino wansi.


Ekisinde eky’Olutangalijjo (The Milky Way Galaxy)


Obusangiro (the location of) bw’ensengekera y’enjuba yaffe mu kisinde eky’olutangalijjo era ekiyitibwa ekisinde eky’oluta, ensi yaffe mw’esangibwa buli kumpi n’amabbali g’ekisinde

Ensengekera y’Enjuba yaffe (Our Solar system)

Waggulu: Okukontana wakati w’empalirizo esikira mu makkati (centripetal forces) okuva mu njuba n’empalirizo eviira oba eyawaggula ku makkati (centrifugal forces) okuva mu nkulungo z’enjuba ky’ekikuumira awamu ensengekera y’enjuba, buli nkulungo n’esigala mu kuva mu buyitiro bwayo (it’s orbit) okwatoloola enjuba mu ntakoma (infinitely). Empalirizo esikira mu makkati n’Empalirizo eviira amakkati

Ekyewuunyo eky’Enjuba /Emmunyeenye (The wonder of the Suns/The Stars)

Omusana ogwaka okuva kunjuba bw’oguyimiramu nga gwaka, owulira amaanyi Katonda ge yakozesa okutonda enjuba (emmunyeenye) eziri mu bwengula. Bannasayansibagamba ntimu buziba bw’enjuba, ntegeeza amakkati g’enjuba, mulimu ebbugumu lya nabwoki (degrees), ntegeeza namunigina z’obwoki (units of hotness), nga 27,000,000 obwa Farenayiti buno nga bwe bukadde 15,000,000 obwa sentiguleedi.

Obadde okimanyi nti buli katikitiki enjuba k’efulumya amaanyi genkana obukadde n’obukadde bwa bbomu ez’obuziizi, ntegeeza bbomu eza nyukiriya (nukuriya).

Bannasayansi bateebereza nti emukummunyeenye ezisingayo obunene eyitibwa UY Scutierina obugazi obukubisaamu obw’enjuba emirundi nga 1,700. Singa emmunyeenye eyo eteekebwa mu kifo enjuba yaffe w’eri, esobola okubuutikira okuyisa ensi yaffe eno w’eri n’etuuka ne mu buyitiro (orbit) bwa Jupitor, emu ku nkulungo z’enjuba yaffe ezisingayo obunene, mweyita.

Ggwe bw’oba olowooza nti Katonda talina kakwate na bulamubwo, kimanye nti amaanyi ga Katonda ge gakubezaawo. Ebintu Katonda bye yatonda, omuli enjuba na buli ekiri ku nsi, ebiramu n’ebitali biramu, bye bibezaawo obulamu bwo. Eno y’ensonga lwaki buli muntu kimwetaagisaokukuuma obuwangaaliro bwaffe (to protect our environment), obutonde bw’ensi kwe tuwangaalira

Ng’ojjeeko Katonda okuyitamu Yesu akola eby’amagero, mu Matayo 11:5 tusoma nti:

“Abazibe b’amaaso baalaba, abalema baatambula, abagende baawona ne balongooka, bakiggala baawulira, n’abafu baazuukizibwa”

Ago gonna maanyi ga Katonda. Ate era Bayibuli egamba nti: “Oyo akooye amuwa amaanyi” era n’egamba nti:”Abo abateeka essuubi lyabwe mu Katonda bajja kuddamu okufuna amaanyi”. Mu Yisaaya 40:29, 31, tusoma nti Katonda asobola okutuwa amaanyi agasinga ku gabulijjo ne tusobola okugumira ebizibu bye tufuna mu bulamu.

Okiraba nti ekyo kituleetera okusemberera Katonda akozesa amaanyi ge agataggwawo tusobole okuyambibwa.


Amagezi ga Katonda agataliiko kkomo

“Ayi Katonda, ng’otonze ebintu eby’enjawulo ebiwuniikiriza! Obikoze mu magezi agatasangika byonna. Ensi ejjudde ebitonde byo”. (Zabbuli 104:24) Gye tukoma okuyiga ku bintu Katonda bye yatonda, gye tukoma okuwuniikirira olw’amagezi ge amangi.

Mu butuufu bannassayansi bakoppa sayansi ali mu bintu Katonda bye yatonda, ebiramu n’ebitali biramu, ne basobola okukola/okutondeka (okutondawo ebikoleka).

Era nga bakoppa ebintu katonda bye yatonda basobola okulongoosereza ebintu ng’ennyangiyirizi (machines) ez’enjawulo n’okukola okulongoosereza mu biramu onga “emmere ennongoosereze mu ndagabuzaale” (genetically modified foods) oba “ensolo ennongoosereze mu ndagabuzaale (genetically modified animals).

Amagezi ga Katonda gasinga kweyolekera mu ngeri omuntu gye yamutondamu n’engerekera ey’okwezaarusa (reproduction).

Mu kikolwa eky’okwegatta kw’omusajja n’omukazi, empakiso (sperm) y’omusajja n’eggi ly’omukazi byegatta ne bivaamu akataffaali kamu kokka akalimu endagabuzaale (gene) ewa endagabutonde (DNA) ebiragiro okukola buli ekigenda mu maaso mu mubiri.

Ebiragiro bino biweerezebwa mu ndgabutonde okuva mu ndagabuzaale era eyitibwa endagabiragiro (genes), mu essomabuzaale (genetics), lino nga ly’essomo elikwata ku buzaale bw’ebiramu n’engeri gye bisikiramu enkula okuva ku bizadde byabyo.

Mu kiseera ekigere, akataffaali ako kegabanyaamu obutaffaali obulala bungi obufaanagana, obutaffaaliobwo ne buvaamu obutaffaali obulala obukola omubiri gwonna, gamba ng’obutaffaali bw’omusaayi (blood cells), n’obw’amagumba. Oluvannyuma ebitundu by’omubiri ebirala bitandika okutondebwawo olw’okukola emirimu gyabyo egy’enjawulo.

MU myezi mwenda gyokka, akataffaali kamu kokka akasooka mu kaseera ekikazi we kiwakisibwa ekisajja, kavaamu omubiri gwonna ogulimu obuwumbi n’obuwumbi bw’obutaffaali.

Mu butuufu, nzikiriziganya n’omutontomi (Psalmist) mu Zabbuli 139:14 bw’agamba nti: “Nkutendereza kubanga nnakolebwa mu ngeri eyeewuunyisa era ey’ekitalo”.