Jump to content

Eliezah Foundation Initiative Uganda

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Eliezah Foundation Initiative kitongole ekitakola magaba ekisangibwa mu Disitulikiti y'e Wakiso, Uganda.[1] Ekitongole kino kiwagira era kivujjirira (okutuukiriza enkola "y'omwenkanonkano") mu bakyala n'ebyobusuubuzi nga bayita mu nkola yaabwe ey'okutuukirira abakyala bonna, era n'okuyita mu nkolagana wamu n'obuvujjirizi okuva mu bitongole ebirala eby'omugaso eri enkulakulana y'abakyala. Kiteekawo omwagaanya eri abakyala okusisinkana wamu n'abalala (mu nkola y'abwe "ey'okwetaba n'abantu babulijjo") nga bayita mu kuwagira emikolo omuli ebiteeso eby'akaseera ebitegekebwa ku kikula ky'abantu nga zikolebwa ku ddaala ly'abantu ba bulijjo, enkugaana n'emisomo gy'okusomesa abantu. Era kikwasganya kakuyege w'abannamawulire ( mu nkola "y'okutuusa enkola zonna mu bantu ba bulijjo") okumanyisa abakyala wamu n'okwetaba mu nkola ez'okukomekkereza okutulugunya abantu ng'abayita pulojekiti ez'enjawulo nga Emergency GBV Services and HIV partnerships wamu n'ebitongole ebirala by'ebakolagana n'abyo okuva mu mawanga ebweru omuli ViiV Healthcare, abakulembeze b'ennono okuva mu bwakabaka bwa Buganda, Bunyoro, ne Busoga, emikutu gy'amawulire egya bulijjo, Gavumenti ey'awakati mu Uganda, ne Dipatimenti za Gavumenti. Omutandisi w'akyo ye Eliezah Titus Busonga nga mu kaseera kano aweereza nga omukulembeze wa Real Health Uganda.[2]

Ebyafaayo

[kyusa | edit source]

Eliezah Titus yatondawo ekitogole kino mu 2005 ng'akitongole ky'abavubuka kyeyatuuma Young Peoples organization okulwanyisa n'okulwanirira eddembe ly'obuntu n'eddembe ly'abakyala mu kitundu kye Maganjo (nga kaakano ye Municipaale ye Nansana).[3] Mu 2009 Eliezah ekitongole kye y'akiwandiisa n'aba Gavumenti eyawakati era n'aggulawo offiisi era ng'emirimu gy'ekitongole kino w'egikakkalabizibwa kaakano. Mu 2018, ekitongole kya Eliezah ky'awandiisa 501 (c) mu Uganda. [4] Mu Gwomusanvu 2020, Janet Nansamba yalondebwa nga CEO omupya ow'ekitongole kya Eliezah. Yali y'akaweereza nga omukyala akuupiriza abakyala ku Disitulikiti y'e Masaka era ng'akulira ekitongole kya Eliezah.[5]

Ebijuliziddwamu

[kyusa | edit source]
  1. "Archive copy". Archived from the original on 2022-05-19. Retrieved 2023-05-26.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  2. "Archive copy". Archived from the original on 2021-02-04. Retrieved 2023-05-26.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  3. https://wakiso.go.ug/unit/nansana-municipality/
  4. https://opencorporates.com/companies/ug/80020001420797/
  5. http://efiug.org/news/index.php/2020/07/1/Janet-named-new-CEO-of-Eliezah-Foundation/

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya

[kyusa | edit source]