Jump to content

Elizabeth Beikiriize Karungi

Bisangiddwa ku Wikipedia
Karungi, Elizabeth.jpg

 

Elizabeth Beikiriize Karungi, amanyikiddwa nga Elizabeth Karungi NRM (yazaalibwa nga 5 Ogwekkuminebiri 1976),[1] Munnayuganda era mukyala munnabyabufuzi aweereza ng'omukyala owaDisitulikiti y'e Kanungumu Paalamenti ya Uganda ey'ekkumi, ekifo ky'abaddemu okuva mu 2011. Munnamateeka omukugu era mmemba mu kibiina ky'ebyobufuzi ekya National Resistance Movement (NRM), ekibiina ekiri mu bukulembeze bwa Uganda.

Obuto bwe n'emisomo gye

[kyusa | edit source]

Karungi yakola ebigezo bye eby'akamalirizo ebya Primary Leaving Examinations mu 1990 ku ssomero lya Kayonza Primary School. Emisomo gye egy'okumutendera gwa O Levels (UCE) yagimaliririza ku Bishop Comboni College mu 1994 era n'egya A Levels (UACE) yagimaliririza mu ssomero ly'elimu mu 1999. Yatkkirwa Dipuloma mu mateeka eya Diploma in Law okuva mu ttendekero ly'abannamateeka erya Law Development Centre, Kampala 2001. Bweyava eyo, yeyongerayo mu Uganda Christian University, Mukono ku Diguli ye ey'okubiri mu mateeka eya Bachelor of Laws nga yatikkirwa mu 2006. Yaddayo ku ttendekero ly'abannamateeka erya Law Development Centre mu 2007 okufuna Dipuloma mu kukuguka amateeka eya diploma in legal practice.

Emirimu gye

[kyusa | edit source]

Karungi munnamateeka omutendeke era y'aliko munnamateeka atuukiridde mu kibiina ky'abannamateeka ekya Bwenye and Ndyomugabe Advocates wakati wa 2008 ne 2011.[2] Oluvanyuma yayingira eby'obufuzi era abadde Mubaka omukyala owa Disitulikiti y'e Kanungumu Paalamenti okuva mu 2011.

Ebimukwatako eby'omunda

[kyusa | edit source]

Elizabeth Karungi mufumbo eri Allan Kamugisha.

Ebitakwatagana

[kyusa | edit source]

Okugoberera alipoota eyafulumizibwa ku nsimbi ez'asaasanyizibwa ku ntambula z'ababaka ba Paalamenti eya 2011, Elizabeth Karungi y'emulugunya ku mitendera egy'ayitibwamu okulonda ba mmemba ab'atambula.[3]

Alipoota ya 2017 ey'obuli bw'enguzi okuva mu sekita ya Uganda ekwasaganya okusima eby'obugagga eby'omuttaka eya Global Witness[4] y'anokolayo Elizabeth Karungi ng'omu ku baali baganyurwa mu layisensi[5] ekyamusobozesa okusima n'okuvumbula eby'obugagga eby'omuttaka[6] mu kibira kya Bwindi newankubadde kyali ky'atekebwaawo ng'ekumiro ly'ebisolo ebyali byawuddwa obutattibwa bisolo birala eby'omunsiko. Alipoota yasaba kaliisoliiso wa Gavumenti ya Uganda okumunoonyerezaako.[7]

Mu Gwekkumi 2018, ky'awandiikibwa nti Ababaka ba Paalamenti ya Uganda ey'ekkumi balemererwa okukubaganya ebirowoozo ku lipoota eyali eleteddwa akakiiko k'abakozi ba Gavumenti ne Gavumenti eyawakati ku tteeka eryali ligoba abasuubuzi, ab'emmotoka ezipangisibwa saako ne bannanyini taxi okugobebwa mu paaka y'e Mukono.[8] Kino ky'abaawo olw'obutabaawo bwe ne sentebe w'akakiiko okwajula lipooti yaabwe.[9]

Mu Gwekkuminogumu 2018, kyawandikibwa nti Elizabeth Karungi yali ayitiddwa okulabikako mu Kkooti ku byali bigambibwa nti yagengezaako okuwa omunnamawulire wa Paalamenti obutwa.[10][11][12] Mu nkyukira, yavunaana munnamawulire n'olupapula lw'amawulire ng'aluvunaana okuwa omukozi w'alwo "omwagaanya okufulumya emboozi etaali ntuufu n'okugezaako okuvumaganya ye ne Famire ye."[13]

Obukiiko bw'abaddemu

[kyusa | edit source]

Laba na bino

[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu

[kyusa | edit source]
  1. "Archive copy". Archived from the original on 2021-04-28. Retrieved 2023-03-21.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  2. "Archive copy". Archived from the original on 2021-04-28. Retrieved 2023-03-21.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  3. "Archive copy". Archived from the original on 2023-03-21. Retrieved 2023-03-21.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  4. https://www.monitor.co.ug/News/National/-Corruption-plagues-Uganda-s-mining-sector-/688334-3957178-142frmu/index.html
  5. https://kampalapost.com/content/special-reports/how-corruption-stifling-ugandas-mining-sector-report
  6. https://www.independent.co.ug/analysis-messing-ugandas-minerals/2/
  7. https://kampalapost.com/content/special-reports/how-corruption-stifling-ugandas-mining-sector-report
  8. https://webcache.googleusercontent.com/search?q=cache:1uZu_W-GEo4J:https://www.parliament.go.ug/cmis/views/380052d2-657e-400f-9151-b468e48c7b20%25253B1.0+&cd=4&hl=lg&ct=clnk&gl=ug
  9. https://kampalapost.com/content/news/how-mps-perpetual-absenteeism-stifling-parliament-business
  10. https://www.monitor.co.ug/News/National/Court-summons-MP-Karungi-poison-attack/688334-4838548-rfwcg1/index.html
  11. https://www.softpower.ug/kanungu-woman-mp-dragged-to-court-for-poisoning-parliament-staffer/
  12. http://www.spyuganda.com/kanungu-woman-mp-abuses-poison-victim-live-on-radio/
  13. http://thecrime24.com/features/scandal/kanungu-woman-mp-now-sues-parliament-staff-in-alleged-poisoning-attempt/
  14. http://parliamentwatch.ug/committee/committee-on-government-assurances/
  15. "Archive copy". Archived from the original on 2021-04-18. Retrieved 2023-03-21.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  16. https://mobile.monitor.co.ug/News/NRM-fires-rewards-MPs-over-age-limit/2466686-4679926-i3el8lz/index.html

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya

[kyusa | edit source]