Jump to content

Elly Sabiiti

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Elly Sabiiti Munnayuganda, yaweerezaako mu Ofiisi nga Pulofeesa w'ebyobulimi mu Dipaatimenti ekwasaganya eby'obulimi bw'ebibala n'enva endiirwa eya Department of Horticulture and Crop Science (HCS), ku ssomero ly'ebyobulimi n'obutonde bw'ensi erya College of Agricultural and Environmental Sciences, Makerere Yunivasite.[1] Ye yali akulira Dipaatimenti eno era nga y'avunanyizibwa ku by'enjigiriza mu ssomero lino.[1] Mmemba omulonde owa The World Academy of Sciences, Amyuka Pulezidenti wa, East Africa of African Academy of Sciences era yafuna omukisa okuweereza mu Dipaatimenti ya U.S. State Department's distinguished Fulbright Fellowship.[2][1][3]

Emisomo gye[kyusa | edit source]

Elly Sabiiti yafuna Digui ye esooka n'ey'okubiri mu by'obulimi eza Bachelor of Science and Masters of science in Agricultural Science okuva ku Ssettendekero wa Makerere. Yegatta ku University of New Brunswick, Canada gye yafunira PhD ye mu 1985.

Ebibiina by'alimu nga Mmemba[kyusa | edit source]

Mu 2001, yalondebwa nga mmemba mu The World Academy of Sciences era mu 2006 yafuuka mmemba mu African Academy of Sciences. Mu kaseera kano, ye mumyuka wa Pulezidenti wa African Academy of Sciences East Africa

Emirimu gye egy'okunoonyereza[kyusa | edit source]

Aweereza mu by'obulimi ng'ayita mu kunoonyereza era nga ebisinga byafulumizibwa mu mikutu gy'ensi yonna egy'amaanyi. Mu mirimu gye mulimu gino wammanga; okweyambisa ebisigalira mu birime okusobola okulima emmere n'okukuuma obutonde.[4] Fire and acacia seeds: A hypothesis of Colonization Success. Okunoonyereza kuno kwaleetawo enkola y'okulima n'okugimusa ebimera eya germination success of A. sieberiana.[5] Status of Waste Management in the East African Cities: Understanding the Drivers of Waste Generation, Collection and Disposal and Their Impacts on Kampala City’s Sustainability. Okunoonyereza kuno kw'aviirako abavuzi b'emmotoka ezitambuza obubi, okubukungaanya, n'awa gyatekeebwa n'engeli gy'ekwasaganyizibwa mu Kampala okugerageranya ku East African Community (EAC).[6] Utilization of market crop wastes as animal feed in urban and peri-Urban livestock production in Uganda. Okunonyereza kuno kwazuula nti emiwendo gy'embyentambula, obujama n'obutamanya obutaba bya bwerere n'abyo bivaako okusomooza kw'amaanyi.[7] A framework for assessing the Ecological Sustainability of Waste Disposal Sites (EcoSWaD). This article defined ecological sustainability for WDS and developed a framework for its assessment.[8] Adaptation of EVIAVE methodology to landfill environmental impact assessment in Uganda :A case study of Kiteezi landfill. Okunonyereza kuno kwalaga obuzibu obuva ku kasasiro ateekebwa e Kiteezi eri amazzi agaliraanyewo, ettaka, obutonde, ebisolo n'empewo essibwa era n'ebyo ebiyinza okukolebwa okusobola okumalawo obusibu obwo.[9] Understanding the impacts of waste disposal site closure on the livelihood of local communities in africa: A case study of the kiteezi landfill in Kampala, Uganda. Ekiwandiiko kino ky'alimu okunonyereza ku Kiteezi awateekebwa kasasiro n'omugaso gw'ekifo ekyo mu kukyusa obulamu obulamu bw'abantu n'ebyo ebinavaamu ssinga ekifo ekyo kibeera kigaddwa.[10] The impact of waste disposal sites on the local water resources: okunoonyereza okwakolebwa ku kifo awateekebwa kasasiro ekya Kiteezi landfill, Uganda. Ekiwandiiko kino kyalaga bii ebiva mu kukenenula n'okusunsula kasassiro ono n'okukyafuwaza amazzi ebiva mu kukenenula kasassiro ono.[11] Effects of inclusion levels of banana (Musa spp.) peelings on feed degradability and rumen environment of cattle fed basal elephant grass. Okunoonyereza kuno kwalaga nti ebikuta ebiwatibwa ku matooke kisingako okubisanyawo n'okusinga EG wabula BP bwasukka asobola okukosa ebisolo ebirya ebikuta ebyoa okugeza ente.[12] The role of fire in pasture and rangeland management.[13] Effects of calving month, pasture conditions and management on the growth of Holstein-Friesian × Ankole crossbred calves in a semi-arid rangeland. Okunonyereza kuno kwazuula nti okuyonsa kugasa nnyo ente ennyana mu bifo ebitalina muddo bulungi n'addala mu bifo omuddo mwegutatera kumera.[14] Role of credit in the uptake and productivity of improved dairy technologies in Uganda.[15] Some important browse species as feed for livestock in East Africa.[16] Parkia Biglobosa: A potential multipurpose fodder tree legume in West Africa.[17] Fire behaviour and the invasion of Acacia sieberiana into savanna grassland openings. Okunonyereza kuno kwagezesebwa buterevu okuzuula obulabe obuli mu muliro nga bakozesa amafuta ku A. sieberiana seedling and sapling regeneration.[18] Ecological studies on Macroptilium atropurpureum Urb. in Rwenzori National Park, Uganda. I. Effects of pre-treating seeds with concentrated sulphuric acid, scarification, boiling and burning on germination[19]

Ebijuliziddwamu[kyusa | edit source]

  1. 1.0 1.1 1.2 "Archive copy". Archived from the original on 2019-10-26. Retrieved 2024-05-24.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  2. https://twas.org/directory/sabiiti-elly-nyambobo
  3. https://ipa.osu.edu/news/department-horticulture-and-crop-science-welcomes-fulbright-scholar-uganda
  4. https://www.ajol.info/index.php/ajfand/article/view/72668
  5. https://www.jstor.org/stable/2260305
  6. https://doi.org/10.3390%2Fsu11195523
  7. https://doi.org/10.1080/10440046.2011.554318
  8. https://www.sciencedirect.com/science/article/pii/S0956053X21001136
  9. https://ui.adsabs.harvard.edu/abs/2021JAfES.18304310A
  10. https://www.sciencedirect.com/science/article/pii/S2452292921001077
  11. https://www.sciencedirect.com/science/article/pii/S1642359322000817
  12. https://doi.org/10.1007/s11250-016-0999-4
  13. https://www.jstor.org/stable/43123378
  14. https://doi.org/10.1007/s11250-015-0786-7
  15. https://scholar.google.com/scholar_lookup?title=Role+of+credit+in+the+uptake+and+productivity+of+improved+dairy+technologies+in+Uganda&author=Mbuza%2C+F.M.B.+%28Ministry+of+Agriculture%2C+Uganda%29&publication_year=1998
  16. https://www.taylorfrancis.com/chapters/edit/10.4324/9781315828909-20/important-browse-species-feed-livestock-east-africa-sabiiti
  17. https://doi.org/10.1080/01435698.1992.9752911
  18. https://onlinelibrary.wiley.com/doi/10.1111/j.1365-2028.1988.tb00982.x
  19. https://onlinelibrary.wiley.com/doi/10.1111/j.1365-2028.1983.tb00327.x