Jump to content

Elly Tumwine, omuwandiisi w’ebitabo

Bisangiddwa ku Wikipedia

Generaali Elly Tumwine (12 Ogwokuna 1954–25 Ogwomunaana 2022) yali Munnayuganda munnamagye, designer, visual artist, era omusomesa. Ye yaali mu kifo kya Minisita W'ebyokwerinda mu Kakiiko akafuga Uganda, okuva mu Gwokusatu gwa 2018 okutuusa 2021.[1] Yawummula okuva mu kwenyigira ennyo mu mirmu gy'amagye mu Gwomusanvu gwa 2022.[2]

Yakola nga omuduumizi W'eggye lya National Resistance Army okuva mu 1984 ppaka mu 1987. Y'omu ku abo abaali mu bifo ebya waggulu mu ggye lya Ugandan nga gye buvuddeko, yalagira Poliisi okukuba amasasi mu beekalakaasi. Era yeeyawa bannamagye ebiragiro by'okuwamba, okusiba, nookusimba ab'oludda oluvuganya gavumenti ku kkooti z'amagye okuwozesebwa ku misango emijweteke, rra kino kyaviirako abawagizi ba Bobi Wine okuwaaba kkooti nti eddembe lyabwe lirinnyirirwa. Kino kyaleetera eggwanga lya America okugamba ku ba Generaali ba Uganda ku kutyoboola eddembe ly'abant. Ono yali Mukiise mu Paalamenti ya Uganda, nga akiikirira ekitongole ky'eggye lya Uganda ekya Uganda People's Defence Force (UPDF).[3][4]

Obuto bwe n'okusoma kwe

[kyusa | edit source]

Elly Tumwine yazaalibwa nga 12 Ogwokuna, 1954, mu Burunga, ekisangibwa mu Disitulikiti y'eMbarara. Yasomerako ku ssomero lya Burunga Primary School, Mbarara High School ne St. Henry's College Kitovu, nga tannayingira Makerere University, nga eno mu 1977, yatikkirwa nga afunye Diguli Esooka eya Ati mu Kukuba n'okusiiga wamu ne Dipulooma mu Busomesa; mu lufuutufuuti :BA (FA)/Dip. Ed. Yalondako kukasa mu By'afaayo by'okusiiga.

Oluvannyuma yasomerera okubeera munnamagye asookerwako era nga yasomera ku Tanzania Military Academy erisangibwa e Monduli. Yasoma n'essomo Ly'okubeera Omukulu mu Magye nga lino yalisomera Uganda Senior Command and Staff College erisangibwa e Kimaka, mu Jinja, Uganda, era yoomu ku bayizi abaasooka nga yatikirwa mu 2005.[5] Tumwine era yafuna neebisaanyizo ebirala okuva mu Somero ly'amagye erisangibwa e Vystry, mu Soviet Union.

Omulimu gwe ogw'amagye

[kyusa | edit source]

Mu 1978, yayingirira omulimu gwe ogw'obusomesa era ne yeeyunga ku ggye lya FRONASA eryali likulirwa Yoweri Museveni okulwanyisa okufuzi bwa Idi Amin. Mu 1981, Museveni bwe yagenda mu nsiko,okukola eggye lyaNational Resistance Army (NRA), Elly Tumwine yagenda naye. Agambibwa okuba nga yeeyakuba essasi eyasooka mu lutalo lw'eggye National Resistance Army, olwaleeta eggye lya National Resistance Army n'ekibiina kya National Resistance Movement mu buyinza Uganda mu 1986.[6] Mu kulwanagana kuno wakati wa NRA eya Museveni ne UNLAeya Amin, Tumwine yafuna ebisago ku maaso era eriiso erimi lyafa.[7] Mu 1984, Tumwine yafuulibwa Omuduumizi W'eggye,era ekifokino yakirimu okutuusa mu 1987, bwe yasikirwa General Salim Saleh. Okumala emyaka egyawera, yaweerereza mu bifo omwali:

  • Minisita W'ebyokwerinda mu1989.
  • Dayirekita Omukulu Ow'ekitongole Ky'ebyokwerinda Okw'ebweru okuva mu 1994 okutuusa mu 1996.
  • Omuwabuzi wa W'omukulembeze W'eggwanga okuva mu 1996 okutuusa mu 1998
  • Ssentebe W'akakiiko Akajulirwamu Ak'awaggulu okuva mu 1986 okutuusa mu 1999.

Yamala ebbanga nga akiikirira eggye ly'eggwanga erya UPDF mu Paalamenti ya Uganda okuva mu 1986.[8]

Mu Gwomwenda gwa 2005, yakuzibwa nadda ku ddaala lya generaali UPDF era naweebwa obuyinza okutandika okukulira Kkooti ya UPDF nga Generaali waayo Omukulu.[9]

Ku Mmande 16 Ogwokutaano, 2022, Tumwiine yali omu ku baa generaali 34 abaali bawumudde okuva mu ggye lya UPDF.[10]

Eddembe Ly'obuntu

[kyusa | edit source]

Elly Tumwine yali ayogerwako nnyo ku nsonga ezeekuusa ku bukambwe obwalagibwa bannaYuganda. Oluvannyuma lw'okukwata Bobi Wine nga 18 Ogwekkuminoogumu, 2020 e Luuka, okwekalakaasa kwabalukawo nga baabukakkanya noobukambwe obususe.[11]

Okukola Ebifaananyi

[kyusa | edit source]

Mu bwangu nga yaakamala okutikkirwa e Makerere University mu 1977, Elly Tumwine essira yalissa ku mulimu gwa kusomesa mu masomero ag'enjawulo mu Uganda, nga asomesa ssomo lino ery'okukuba ebifaananyi. Oluvannyuma lw'eibiina kya National Resistance Movement okuwanguka mu 1986, yeeyongerayo n'emirimu gye egy'okuba ebifaananyi nga eno bwaweereza nga omuduumizi W'eggye lya NRA, yakola era naayiiya bendera nhe designed the bendera, n'ekifaananyi ekibeera mu bendera wamu n'engoye z'eggye naazikola nga za kiragala neezo ezifaanana n'ekifo omuntu waaba yeeekwese nga zifaanagana. Yalondebwa Okubeera Ssentebe Ku kakiiko akakulira ekifo awalagibwa ebikwata ku nnono z'eggwanga ekya National Cultural Centre. Mu 1992, yatongoza kkampuni ye,eya The Creations Limited, okusobola okutumbula oludda lw'eggwanga eby'emikono, nga okukubiriza enkola z'obuyiiya mu kukuba ebifaananyi n'okubisiiga. Eno kkampuni erimu bitongole mu Ugandan omuli;

  • Ekibiina ekigatta abakola ebintu mu Uganda
  • Ekibiina ekigatta amakolero amatono mu Uganda
  • Ekibiina ekigatta amakolero agakolagana n'amaliba mu Uganda

Okufa kwe

[kyusa | edit source]

Tumwine yatabukira ku mukolo gw'ambaga era naddusibwa ku Ddwaliro ly'eNakasero mu Kampala, mu Gwomusanvu gwa 2022. Embeera bwe yatabuka, yaddusibwa ku ddwaliro lya Aga Khan University Hospital, Nairobi. Eno gyeyafiira nga 25 Ogwomunaana gwa 2022. Yalina emyaka 68.[12]

Ebijuliziddwa

[kyusa | edit source]
  1. https://en.wikipedia.org/wiki/The_Independent_(Uganda)
  2. https://www.theafricareport.com/104489/uganda-museveni-retires-bush-war-comrades-promotes-son/
  3. "Archive copy". Archived from the original on 2024-04-02. Retrieved 2024-09-08.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  4. https://web.archive.org/web/20140514110940/http://www.thelondoneveningpost.com/gen-tumwine-urges-parliament-to-declare-sejusas-seat-vacant/
  5. https://web.archive.org/web/20140514201424/http://www.newvision.co.ug/D/8/13/454461
  6. https://en.wikipedia.org/wiki/The_Independent_(Uganda)
  7. https://web.archive.org/web/20140514184812/http://www.newvision.co.ug/D/8/13/757173
  8. http://www.parliament.go.ug/mpdata/mps.hei?p=f&n=t&details=t&j=271.000000&const=Updf+Represantive&dist_id=73.000000&distname=Updf
  9. https://web.archive.org/web/20140514185036/http://www.newvision.co.ug/D/8/12/451738
  10. https://softpower.ug/sejusa-tumwine-gutti-kayanja-on-list-of-generals-retiring-from-army-next-week/
  11. https://www.hrw.org/news/2021/01/21/uganda-elections-marred-violence
  12. https://chimpreports.com/gen-elly-tumwine-68-dies-at-nairobi-hospital/

Ebiyungo by'ebweru

[kyusa | edit source]

Template:S-start Template:S-mil Template:S-bef Template:S-ttl Template:S-aft Template:End