Embeera y'obudde mu uganda

Bisangiddwa ku Wikipedia

EMBEERA Y'OBUDDE MU UGANDA[kyusa | edit source]

Ensi Uganda Katonda ya gituwesa ddembe kubanga ebeera y'obudde nga etweyagazza kubanga bwotambula mu nsi endala balina embera y'obudde enzibu kubanga bweba nkuba ebayisa bubi ate bwe guba musana ete guyaka nnyo mubutufu n'olaba nga ddala Uganda yagituweesa ddembe.

Wano mu Uganda omuntu omulimi akeera kumakya nakwata enkubi nagenda asimba emeere mu ttaka mu butufu emere nekula nga omulimi tatawannye na kufukirira era mwatu nekula bulingi bwatyo naffuna mu emmere oba akasente.

Ffe mu Uaganda tulina sizoni biri era zino tuzetegekera bwetutyo netulima awatali kwelalikirira kwona.

Wabula enaku zinno embera y'obudde egenda ekyuuka kubanga enkuba enaku zinno tekyategerekeka nolwekyo omulimi mu Uganda alina okwetegereza kino kubanaga olulima olusenbyeyo tufiridwa nnyo ebirime okusingira ddala kasooli, ensujju, entula nebirara.