Emily Nakalema

Bisangiddwa ku Wikipedia

  Emily Nakalema eyazaalibwa ng'amannyikiddwa nga Emily Kyomugisha, yazaalibwa mu mwaka gwa 1994 nga munayuganda omukazi ng'akuba bikonde oba eyeenyigira mumuzannyo gw'ebikonde[1]avuganya mu kibinja ky'abakyakayiga mu buzito bwa welterweight.[2] Okutuuka mu mwezi ogw'omusanvu, mu mwaka gwa 2019, yeeyali kapiteeni oba eyali akulembera ttiimu ya Uganda ey'abakazi ey'ebikonde,eyitibwa ''She Bombers''.[3] Alina n'omudaali ogw'ekikomo gwetawangula mu mizannyo egyali egy'okusunsula abaali bagenda mu olympics mu mwaka gwa 2020.

Ebimukwatako n'eby'enjigiriza bye[kyusa | edit source]

Emily Nakalema ng'amannyikiddwa nga Emily Kyomugisha, nga kitaawe ye Samuel ne Teopista Kyomugisha mu Mbarara in Mbarara[4], nga ye mwana ow'okusatu mu famire ey'abataano. Yasomera ku Kulumba Primary School, gyeyava oluvannyuma n'agenda ku Allied Secondary School, mu mwaka gwe ogwali gusooka ogwa sekondale oba siniya.Oluvannyuma yaweebwa ekifo ku Citizen High School, ey'e Mbarara nga yali agenda kusomera ku bweereere olw'okubeera nga yali amannyi eby'emizannyo, wabula oluvannyuma teyamalako nakusoma n'avaayo mu mwaka gwa 2016[4] , n'agenda mu kibuga ky'e Kampala.

Okwenyigira mu by'emizannyo[kyusa | edit source]

Emily Nakalema yatandika eby'emizannyo, ng'asamba mupiira [5] ng'era yasambirako kiraabu ya Mbarara United FC mu mpaka z'okulambula ebitundu eby'enjawulo, nga tanaba kugenda mu Kampala, kutandika kwenyigira mu muzannyo gw'ebikonde mu mwaka gwa 2018.[4]

Ebikonde abikubira mu kiraabu y'ekyalo eyitibwa, Katwe Boxing Club[6][7] ng'era akiikiridde Uganda mu mpaka z'emitendera gy'ebitundu wamu n'egy'okusemazinga .

By'awangudde[kyusa | edit source]

  1. {{cite web}}: Empty citation (help)http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1515966/women-day-celebrating-women-achievers-sports
  2. {{cite web}}: Empty citation (help)https://saltmedia.ug/en/sports/2147-boxing-nakaleme-brings-hope-to-uganda%E2%80%99s-camp-in-dakar.html
  3. {{cite web}}: Empty citation (help)https://africa.unwomen.org/en/news-and-events/stories/2019/07/un-women-engages-with-the-boxing-fraternity-in-uganda
  4. 4.0 4.1 4.2 {{cite news}}: Empty citation (help)https://www.monitor.co.ug/Magazines/Score/Nakalema-pitch--ring-Kasaawe-Katwe-Kyomugisha-opponents/689854-5490576-2nfqooz/index.html
  5. {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.olympicchannel.com/en/video/detail/uganda-school-prefect-star-boxer/
  6. {{cite web}}: Empty citation (help)https://kawowo.com/2019/02/03/epic-climax-expected-at-the-2019-national-boxing-open-championship/
  7. {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.swiftsportsug.com/blog/boxing-60-bombers-summoned-for-national-teams-preparations/
  8. {{cite web}}: Empty citation (help)"Nakalema: From pitch to ring". Daily Monitor. Retrieved March 26, 2020.