Emirandira gy'ebimera
Appearance
IALI NGO has beena authorised by terminologist Charles Muwanga to post articles from his scientific writings on Luganda Wikipedia for free public consumption.
"Emirandira"(roots)
Ebimera biba n’emirandira egy’obuswanso (fibrous roots) oba egy’omusoggo (taproot system).Mu mirandira gino gyombi, emigaso gye gimu; kutambuza mazzi na biriisa ebyetaagisa ekimera okukula.
Emirandira giyamba okuwanirira ekimera nga gikisimba mu ttaka ate era ne giyingiza mu kimera amazzi n’ebiriisa okuva mu ttaka. Emirandila era gisobola okutereka ebireetamanyi (carbohydrates) ekimera bye kikozesa okukola ebintu eby’enjawulo. Omulandira ogw’omusoggo gwe mulandira ogutalina matabi mangi kyokka nga mukwafu nnyo ate nga muzimbulukufu.