Emma Naluyima
Emma Naluyima yazaalibwa mu myaka gya 1980 nga munayuganda ajanjaba ebisolo, ng'era mulimi mu kibuga, omukyala munabyabizineenzi, asomesa mu masomero agatandikibwako oba aga nasale, ssaako n'okubeera omuyigiriza ku bikwatagana ku by'okulunda ebisolo n'okulima.[1][2] Kibalirirwa nti yafuna sente eziri mu doola za Amerika 100,000, buli mwaka okuva mu nimiro ye ebalimwamu yiika 1.0 (0.40 ha),mu Bwerenga, mu disitulikiti y'e Wakiso, mu Uganda.[3]
Obulamu bwe, n'eby'enjigiriza
[kyusa | edit source]Naluyima yazaalibwa mu mwaka gwa 1980 mu Entebbe, Uganda. Kitaawe Chris Kikwabanga, yali muvuzi wa nnyonyi, ng'ate maama we, Margaret Nanziri, yali akola mu baanka.[2] Naluyima yasomera ku Stella Maris Primary School mu Nkokonjeru,mu disitulikiti y'e Buikwe. S.4 ye ne S.6 yabituulira ku Maryhill High School imu kibuga ky'e Mbarara. Yaweebwa ekifo ku setendekero ya yunivasite y'e Makerere yunivasite ya gavumenti esinga obukadde n'obunene mu Uganda, ng'eno gyeyatikirwa ne diguli mu by'okujanjaba ebisolo. Oluvannyuma yaweebwa engule y'okubeera omunoonyereza ku by'obulamu n'okubiweereza mu by'okujanjaba ebisolo okuva ku setendekero lya yunivasite y'e Makerere.[2]
Emirimu gye
[kyusa | edit source]Naluyima yatikirwa ne diguli mu by'okujanjaba ebisolo, nga muno mwemwali okulowooza okw'enkalakalira, ssaako n'okutegeka abayizi eri okuyiga n'okukula okw'abakenkufu ng'eno yagifuna mu mwaka gwa 2004, ekitongole ky'ekikula ky'ebisolo mu ggwanga ekivunaanyizibwa n'okutereka ebibikwatako ekya ''National Animal Genetic Resources Centre and Databank'' (Nagric), ekisinkani bwa Entebbe, kyamuwa omulimu ogujjudde,nga kuliko n'enyumba eya gavumenti. Oluvannyuma lw'emyaka 2, ng'akolera ku kitongole kino ekya Nagric, yalekulira omuli guno gwebaalu bamusasula omwezi , mu mwezi ogw'omunaana mu mwaka gwa 2006 n'agenda n'atandikawo eduundiro ly'e mbizi, ku poloti ya famire yabwe eyali entono, ng'akoze 2,000,000 mu ssente za Uganda, nga ze doola za ssente za Amerika 1,000 zeyali yeewoze. Eduundiro ly'embizi eyo yauyamba okusasulira diguli ye ey'okubiri. Mu mwaka gwa 2010, yafumbirwa Ssalongo Washington Mugerwa, eyali omusomesa w'esomero. Bano baagula etaka eryaliko yiika 6 n'ekitundu, nga Naluyima gyeyatwala embizi zze 10 mu maka gaabwe amapya.[2]
Byebasizeemu ensiimbi
[kyusa | edit source]Ebintu by'ataddemu ensiimbi kwekuli;
(a) enimiro y'amatooke n'emboga, okuli, enyanya, doodo, emyungu, lumonde, ne nakati.[2] (b) eduundiro ly'embizi eziwera 30 nadala ez'ekika eziva mu kugata ebika eby'enjawulo oba eby'emirundi ebbiri .[4] (c) Ekifo Entebbe, webalabiririra ebisolo oba okubifaako, n'okubijanjaba.[4] (d) Esomero ly'abaana pulayimale nga lirina abayizi abawera 300, ssaako n'abasomesa 20.[2] (e) Eduundiro ly'amakovu, ng'eno gaamu okuva ku makovu gano bamuguza abakozi oba amakolero agakola ebizigo.[2] (f) Alina n'ente eziwera 12 nga zino bazikamamu mata, alina w'alundira enkono, n'akadiba mw'alundira eby'enyanja nga kali mu pulasitiika, nga kalimu engege ne semutundu.[5] (g) Okulambula enimiro te olina kusooka kusasula 100,000/-eza ssente za Uganda, nga zino ze doola za ssente za Amerika 28 buli omu.[2] Enimi ye agiyita One Acre Limited.[5]
By'awangudde
[kyusa | edit source]Mu mwezi ogw'omwenda, mu mwaka gwa 2019, Emma Naluyima yawangula engule mu mwaka gwa 2019 gyeyagabana ne Baba Dioum okuva mu Senegal ey'ekirabo ky'emere ya semazinga wa Afrika, kyebaali bayita Yara Prize. Ababiri bano baagabana 100,000 egya ssente za doola za Ameriak.[3]
Famire
[kyusa | edit source]Emma Naluyima yafumbirwa Ssalongo Washington Mugerwa, nga bo,bi balina abaana bana, nga muno mwaku=imu omugogo gw'abalongo, abaazalibwa mu mwaka gwa 2011.[2]
Laba ne
[kyusa | edit source]- ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://www.monitor.co.ug/Magazines/Farming/After-sharing-her-story--Naluyima-now-sells-40-more-piglets-/689860-1996376-j4s9cm/index.html - ↑ 2.0 2.1 2.2 2.3 2.4 2.5 2.6 2.7 2.8
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://observer.ug/lifestyle/66116-at-40-dr-emma-naluyima-s-triumphs-are-enviable - ↑ 3.0 3.1
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://www.monitor.co.ug/Magazines/Farming/Dr--Emma-Naluyima--Baba-Dioum-win-US-100-000/689860-5260790-y0whjk/index.html - ↑ 4.0 4.1
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://www.monitor.co.ug/Magazines/Farming/Camborough-Pigs--A-breed-that-is-worth-the-cost/689860-1613278-15lwmqaz/index.html - ↑ 5.0 5.1
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://news.ilri.org/2018/03/07/ugandan-emma-naluyima-describes-her-thriving-pigcrop-farm-at-the-global-forum-for-food-and-agriculture/