Jump to content

Emmunyeenye

Bisangiddwa ku Wikipedia

Emmunyeenye (kisigalirayo mu bungi), kintu kya mu bwengula ekikolebwa ebintu nkuyanja ebiri mu ngeri y'ekire, nga kikwasibwa wamu n'amaanyi gaakyo ag'obutonde. Emmunyeenye esinga okuba okumpi n'ensi y'Enjuba.

Munyeenye

Endala nkuyanja zirabwa n'amaaso mu biro, wabula olw'okubanga zibeera wala okuva ku nsi, ziba ng'enfo z'ebitangaala ezitajjulukuka. Emmunyeenye ezisinga, zaagabanyizibwamu ebitundu omuli Ezirabika n'Ezitalabika,[1] wabula ezo ezikira ku ndala mu kwaka ziba n'amannya ageetongodde. Abakugu mu by'emmunyeenye bazze bakuŋŋaanya ebiwandiiko ku mmunyeenye eziba zivumbuddwa awamu n'okuzituuma amannya.

Obungi bwazo

[kyusa | edit source]

Obwengula obulabikako bulimu mmunyeenye eziteeberezebwa okuba eyo mu buse, gamba, 1022 ku 1024 (ennamba za waggulu zooleka emiwendo gya zeero ezongerezebwa ku 10). Emmunyeenye nga 4,000 ze zisobola okulabibwa n'amaaso, nga ziri mu kibinja ki Milky Way kyokka.[2]

Engeri gye zeetonda

[kyusa | edit source]

Obulamu bw'emmunyeenye butandika singa wabaawo okukendeera kw'amaanyi g'obutonde mu kire ekirimu emikka gi Kitondekamazzi ne Helium; nga mwetabiseemu n'ebintu ebizitozito. Obuzito bw'ekire bwe busalawo okukyukakyuka kw'emmunyeenye n'enneeyisa yaayo mu dda. Emmunyeeye eba eyaka mu biseera w'ebeerera ennamu olw'okwabika kw'obuziba bwa Kitondekamazzi, obukola Helium munda mwayo.[3] Kigireetera okufulumya amaanyi (g'ebbugumu n'ekitangaala) agagibaamu, ne gasaasaana mu bbanga.

Enfa yaazo

[kyusa | edit source]

Nga enkomerero y'obulamu bw'emmunyeenye, kungulu kwayo kufuuka ekintu ekikalirire: ekikka ekyeru, omutali maanyi gamala — oba bwe gabaamu, gakola Ekinnya Ekiddugavu. Enkolagana y'obuziba bw'emmunyeenye n'ebisigalira byazo, kyenkana bifuuka ebipooli by'obutonde ebizito okukira ku Lithium.

Okufiirwa obuzito, oba okwabika kw'emmunyeenye; kuzzaawo ebintu ebijjudde ebirungo nga bwe biba byali okusooka.[4] Bino bisunsulwa nate, ne bifuuka emmunyeenye empya. Abakugu basobola okuzuula ebikwata ku mmunyeenye — obuzito, emyaka, ebirungo, enkyuka, obuwanvu bw'eyo gy'eba, n'etambula yaayo okuyita mu bbanga nga beetegereza ekitangaala ekigivaamu, entangalijja, n'okuseetuka kwayo mu kifo w'eba yabeeranga.

Enkolagana n'ebirala

[kyusa | edit source]

Emmunyeenye zisobola okussaawo enkola y'okwetooloolerwannganwaako n'ebintu by'omu bwengula ebirala, ng'era bwe kiri ku zissenngendo n'emmunyeenye endala, eziba n'enkola eno emirundi ebbiri oba okusingawo.[5] Emmunyeenye bbiri bwe ziba n'enkola ezo nga ziriraanaganye, enkwatagana mu maanyi gaazo ag'obutonde eyinza okukosa enkyukakyuka zaazo eziddirira. Zisobola okukola ekibangirizi ky'amaanyi g'obutonde, okugeza, ekibinja ekinene oba ekkunngaaniro lyazo.

Omuwandiisi: Ibraheem Ahmad Ntakambi

  1. "Ancient Greek Astronomy and Cosmology". Digital Collections. The Library of Congress. n.d. Retrieved 28 February 2022.
  2. Grego, Peter; Mannion, David (September 9, 2010). Galileo and 400 Years of Telescopic Astronomy. Springer New York. ISBN 9781441955920.
  3. Carroll, Bradley W.; Ostlie, Dale A. (7 September 2017). "Chapter 11". An Introduction to Modern Astrophysics (Second ed.). Cambridge, United Kingdom. ISBN 9781108422161.
  4. Elmegreen, B. G.; Lada, C. J. (1977). "Sequential formation of subgroups in OB associations". Astrophysical Journal, Part 1. 214: 725–741. Bibcode:1977ApJ...214..725E. doi:10.1086/155302.
  5. M Caspar, Kepler (1959, Abelard-Schuman), at pp.131–140; A Koyré, The Astronomical Revolution: Copernicus, Kepler, Borelli (1973, Methuen), pp. 277–279