Empimo oba Empima(Dimensions)

Bisangiddwa ku Wikipedia
Mu Luganda olubalanguzi, empimo oba empima kigambo ekivvuunula "dimension" eky'Olungereza.

Enkula ezekibalangulo zirina empimo za njawulo. Manya: (i) Enkula ez'ekitendero(Plane shapes) zino zirina empimo emu(one dimension shapes):

   (a) Olukoloboze/Omusittale(line)
   (b)Ekisittale/Ekikoloboze(Line segment)
    (c)Omugendo(ray)

(ii) Enkula ez'ekitendero zino zirina mpimo bbiri:

   (a)Mpuyinnya nga kyesimba, kyebiriga , kyebiriggula, kyegendaganya. Zino zirina empimo y'obuwanvu(length) n'obukiika(width)
   (b) Enkula ennetoloovu=Entoloovu(Circle). Enkula ennetoloovu n'eripuso zirina empimo y'obwetoloovu(circumference)n'olusekkati(diameter)

(iii) Enkula ez'enkalubo(Solid figures) oba enkula ez'ekibangirizo(Space figures)nga ebigulimiro(prisms) oba bwenyibungi(polyhedron), ekinu(cylinders) n'ensoggo(cones) zirina empimo satu:

  (a) Empimo y'Obuwanvu obweyoleka nga obwetoloovu(the dimension of length or circumference)
  (b) Empimo y'obukiika(length obweyoleka nga olusekkati (the dimension of width or diameter)
   (c)Empimo y'bwesimbo oba obusimba  oba obugulumivu(the dimension of height/altitude)

Ekimu ku binnyonnyozo by'enkula ez'ekibalo z'empimo(dimensions) era okubalangula obwagagavu(area), obubangirivu(volume), n'obwetoloovu circumfrence, n'obwebulungirivu(perimeter) kitwetaagisa okumanya empimo za buli nkula,kuba empimo zino ze zitutuusa ku kibalo ekiba kyetaagisa.

Bivudde eri Muwanga Charles