Jump to content

Endwadde ya scurvy

Bisangiddwa ku Wikipedia
Scorbutic gums, a symptom of scurvy. The triangle-shaped areas between the teeth show redness of the gums.

Scurvy[[1]] ndwadde ekwata omuntu olw'obutaba na kirungo kya 'vitamin c' mu mubiri.

Obubonero bwa scurvy

[kyusa | edit source]

Obubonero obusookera ddala nga scurvy akutte omuntu, kuliko okunafuwa kw'omubiri, okweranga kw'enviiri, ssaako okuzimba emikono n'amagulu. Omulwadde bw'atajjanjabibwa mangu, yeeyongera okufuna obubonero buno wammanga: okulwala ebibuno, okuvaamu omusaayi mu lususu n'ebirala. Kyokka endwadde ya scurvy bw'esajjuka(bwe yeeyongerera ddala), omulwadde afuna amabwa agatawona, afuna enkyukakyuka mu ntegeera ye, nga n'enkomerero kwe kufa olw'endwadde eyo oba olw'okuvaamu omusaayi omungi. Endwadde ya scurvy nga bwe twagambye ejja lwa bbula lya kirungo kya vitamin c mu mubiri, kyokka kitwalayo ku myezi egiwera nga ekirungo kya vitamin c tekimala, naye nga scurvy tannalaga bubonero bwe. Endwadde eno etera kweyolekera mu bantu abatabufu b'emitwe(abalina ekikyamu ku bwongo), abo abalya ekika ky'emmere ekimu nga tebakyusaako, abanywi b'omwenge, ssaako abakadde ababeera bokka.

Abantu n'ebisolo ebimu biba byetaaga okubeera n'ekirungo kya 'vitamin c' okusobola okukuuma ekirungo ekirala ekiyitibwa collagen ekisinga okubeeramu proteins. Okujjanjaba endwadde eno kwesigamizibwa ku bubonero obulabwako, okuteeka omulwadde mu kifaananyi(x-ray), ssaako engeri omulwadde gy'agenda ng'awonamu oluvannyuma lw'okufuna obujjanjabi.Obujjanjabi bubaamu ebyo ebirimu ekirungo kya 'vitamin c', era ng'obubonero bw'okuwona butandika okweyoleka mu bbanga lya nnaku ntonotono, era omulwadde n'awonera ddala mu wiiki ntonotono. Ebimu ku bivaamu ekirungo kya 'Vitamin C' kuliko ebibala eby'emiti egiteekako ebimuli(citrus fruits) gamba nga enniimu, emicungwa n'ebirala. Mu birala ebijjanjaba scurvy mulimu ebivaavava (vegetables) ng'ennyaanya, wamu n'emmere nga lumonde.

Era osaanye okimanye nti gy'okoma okufumba emmere n'eggya nnyo, nayo gy'ekoma okuggwaamu ekirungo kya 'vitamin C'. Endwadde ya scurvy esinga kulabikira mu nsi ezikyakula obukuzi, ewali endya embi, ssaako ne mu bifo omuli ababundabunda.