Jump to content

Endwadde z'Ekikaba

Bisangiddwa ku Wikipedia
Hepatitis A
Hepatitis-B virions

Endwadde z'Ekikaba

Obulwadde bw’ekikaba osobola era okubuyita obulwadde omuntu bw’afuna ng’ayita mu kwegatta oba endwadde ezifunibwa oluvannyuma lw’omuntu okwegatta n’omuntu alina obulwadde obw'ekikaba. Obulwadde buno businga kusasaanyizibwa na kwegatta nga buyita mu bitundu nga; mu bukyala, emabega oba mu kamwa. Olw’okuba ng’obulwadde buno tebweyolekerawo, kino kyongeza ku mikisa gy’okubutambuza okuva ku muntu omu okudda ku mulala. Obubonero kw’osobola okulabira obulwadde buno kuliko: okuvaamu amazzi amabi mu bitundu eby’ekyama nga kino kibeera mu bakazi n’abasajja, okufuna amabwa ku ngulu oba okwetoloola ebitundu eby’ekyama n’okufuna obulumi mu lubuto wansi. Obulwadde bw’ekikaba obufuniddwa ng’omukyala ali lubuto oba ng’azaala bubeera bwa bulabe eri omwana atannazaalibwa. Obulwadde obumu obw’ekikaba buleeta n’obuzibu mu kufuna olubuto.

Obuwuka obusobola okuleeta endwadde ez’ekikaba busoba mu makumi asatu era nga buleeta obulwadde nga; obuleetebwa akawuka ka bacteria okuli; enziku, kabootongo n’endwadde endala. Obuleetebwa akawuka ka virus okuli; mukenenya, amabwa mu bitundu eby’ekyama n’endala. Newankubadde nga obulwadde buno businga kusasaanyizibwa na kwegatta, naye era waliwo n’engeri endala ezisobola okuyitamu obulwadde buno okugeza; omuntu okussibwamu omusaayi ogulimu obulwadde, okuyonsa ne mu kaseera ak’okuzaala. Ensi ezaakula edda zirina obusobozi bw’okukebera obulwadde buno wabula nga mu nsi ezikyakula oluusi kiba kizibu.

Engeri esinga gye tusobola okuziyizaamu endwadde z’ekikaba kwe kwewala okwegatta. Endwadde ezimu zisobola okugemebwa okugeza hepatitis B n’ebika by’endwadde ebirala okugeza HPV. Okwegatta mu ngeri ey’obuvunaanyizibwa okugeza okukozesa obupiira bukalimpitawa, okubeera n’abantu be weegatta nabo nga batono n’okubeera mu mbeera nga buli muntu alina omuntu omu yekka gwe yeegatta naye kisobola okukendeeza ku bulwadde buno. Okutayirirwa mu basajja kiyambako okukendeeza ku mikisa gy’okukwatibwa endwadde ezimu. Endwadde ezisinga ez’ekikaba zisoboka okujjanjabibwa era ne buwona, wabula ng’obulwadde nga mukenenya, Hepatitis B zo zijjanjabibwa naye nga teziwona.

Mu mwaka gwa 2008, kyateeberezebwa nti abantu obukadde bitaano be baalina obulwadde bwa kaboootongo, enziku oba endwadde z’ekikaba endala. Endwadde z’ekikaba ng’oggyeeko akawuka ka mukenenya z’atta abantu abawerera ddala 142,000 mu mwaka gwa 2013. Mu mwaka gwa 2010, mu nsi ya Amerika wazuulibwayo abantu obukadde kkumi na mwenda abaali balina endwadde ez’ekikaba. Endwadde zino zigambibwa okuba nga zaaliwo ne mu biseera ebikadde mu myaka 1550 nga Yesu kristo tannazaalibwa ne mu biseera eby’endagaano enkadde. Abantu abafunye endwadde zino ez’ekikaba bafuna ensonyi n’okwesosola mu bantu abalala.

Obubonero

Si buli ndwadde ya kikaba nti eraga obubonero era nga n’obwo obulabika tebujjirawo mu bwangu ng’omuntu afunye obulwadde buno. Endwadde zino ez’ekikaba ezimu zireetera omuntu okuba omugumba, obulumi obw’olukonvuba oluuusi n’okufa wabula nga kisinziira ku kika kya bulwadde. Singa omwana afuna obulwadde bw’ekikaba nga tebannatuuka mu myaka gya buvubuka kimuleetera okwegandanga nga bukyali.

Ebika ebikulu

Enziku: buno bulwadde obuleetebwa akawuka ka bacteria akabeera ku bususu obugonvu era nga biseerera okugeza; mu mukutu gw’omusulo, mu bukyala, emabega, mu kamwa, mu mumiro ne mu maaso. Obulwadde buno busobola okusaasaana nga buyita mu kwegatta, mu kamwa oba emabega. Obubonero bw’enziku butandika okulabika oluvannyuma lw’ennaku 2-5 oluvannyuma lw’okwegatta n’omuntu alina obulwadde buno, newankubadde nga mu basajja abamu obubonero busobola obuteeyoleka okutuusa ng’omwezi mulamba gumaze okuyitawo. Obubonero obulabikira mu basajja kuliko; okubabuukirirwa n’okuwulira obulumi nga bafuuyisa omusulo, okwagala okufuuyisa buli kiseera, okuvaamu amasira mu busajja, okuzimba akawago, okuzimba ensigo, amabwa mu mumiro n’obubonero obulala. Mu bakyala obubonero nga; okuvaamu amasira mu bitundu eby’ekyama, okulumwa oba okusiiyibwa ng’afuuyisa omusulo, okufuna obulumi ng’ali mu kikolwa eky’okwegatta, okufuna obulumi obuyitiridde wansi w’olubuto n’omusujja busobola okulabika newankubadde nga mu bakyala abamu obubonero buno buyinza obutalabikirako ddala. Waliwo endwadde ezimu ezigaana okuwona n’eddagala erijjanjaba endwadde ezireetebwa akawuka ka bacteria wabula ng’ezisinga ziwonyezebwa n’eddagala lino.

Kabootongo: buno nabwo bulwadde obuleetebwa akawuka ka bacteria. Singa omuntu tafuna bujjanjabi obulwadde buno busobola okumuviiramu obuzibu mu bulamu n’okufa. . Obubonero bwa kabootongo kuliko; amabwa mu mukutu gw’omusulo, mu kamwa oba emabega ewayita obubi. Singa abeera tajjanjabiddwa obubonero buno busbola okweyongera okuba mu mbeera embi ennyo. Obulwadde buno busangibwa nnyo mu nsi z’ Africa nga; Cameroon, Cambodia ne Guinea era nga kigambibwa okuba nga bweyongera buli kiseera mu nsi eya America.

Akawuka ka mukenenya

Buno bulwadde obunafuya abasirikale b’omubiri kino ne kiguleetera okubeera nga tegukyasobola kulwanyisa ndwadde ezigulumbagana. Akawuka kano katta obutoffaali bw’omusaayi obuyamba okulwanyisa endwadde ezireetebwa akawuka aka virus. Mukenenya atambulira mu mazzi agava mu mubiri era ng’okusinga kibaawo mu kiseera eky’okwegatta. Asobola era okutambuzibwa mu musaayi omulwadde singa gwegatta mu gw’omuntu omulamu, okuyonsa, mu kuzaala n’okuva mu maama okudda u mwana ng’omukyala ali lubuto. Obulwadde bwa mukenenya buyita mu mitendera okuli; omutendera ogusooka, we butalabikira, we bulabkira n’omutendera we bufuukira omuziziko eri obulamu bw’omuntu ekimuviirako okufa. Ku mutendera ogusooka omuntu afuna obubonero ng’obwobulwadde bwa ssennyiga okugeza okulumwa omutwe, okuwulira obukoowu, omusujja, n’okulumwa mu nnyingo nga kino kibaawo okumala essande ebbiri. Mu mutendera ogw’okubiri obubonero bwonna bubula era omuntu n’abeerawo nga talina ky’alaba okumala emyaka. Akawuka kano bwe katuuka ku mutendera mwe keeyolekera, omubiri gunafuwa nga tegukyasobola kulwanyisa ndwadde zigulumba era n’obutoffaali bw’omusaayi bukendeerera ddala. Mukenenya bwafuuka kiremya eri obulamu afuula omuntu amulina okubeera ng’ayanguwa okulumbibwa endwadde ez’enjawulo ekivaamu okufa. Obulwadde buno nga bwakazuulibwa mu myaka gya 1980, abo abaabulina baali tebasobola kuwangaala bbanga nabwo kumala yadde emyaka emitono wabula nga kati waliwo eddagala eriweweeza ku bulwadde buno nga lijjanjaba obulwadde obulumbagana abalwadde b’akawuka ka mukenenya kino ne kibayamba okuwangaalako ekiseera n’okubeera n’obulamu obweyagazaamu. Newankubadde ng’akawuka kabeera kakendedde olw’okumira eddagala lino, wabula era omulwadde wa mukenenya abeera akyasobola okukasiiga omuntu omulala.

Okuziyiza

Okwewala okufuna obulwadde bw’ekikaba y’engeri esingayo obukulu okusobola okusalira endwadde ezitawona amagezi. Obulwaliro obuluamya abantu ku ngeri y’okwegattamu n’obuvunaanyizibwa bukubiriza abantu okukozesa obupiira n’okubutuusa ku bantu abali mu katyabaga k’okufuna obulwadde bw’ekikaba.

Engeri esinga okuba ennungi okuziyiza endwadde ez’ekikaba kwe kwewala okusisinkanya omubiri n’amazzi agaguvaamu n’omuntu omulwadde. Si buli nkola za kwegatta nti zisobola okuleetawo okukwatagana kw’emibiri. Enkozesa y’obupiira (condom) eyambako mu kuziyiza okuwaanyisiganya amazzi g’omubiri, newankubadde ng’endwadde ezimu zisobola okukwata omuntu wadde ng’akozesezza akapiira. Abaagalana bonna babeera balina okukeberebwa nga tebannaba kwenyigira mu kikolwa kya kwegatta, oba ng’omu ku bo yeegattako n’omuntu omulala. Endwadde nnyingi ziba nzibu za kulabirawo oluvannyuma lw’okuzifuna era ng’ekiseera ekimala kiba kirina okuyitawo okusobola okufuna ebiva mu kukebera ebituufu.

Endwadde nnyingi zifuuka obulwadde obw’olubeerera ne zimaamira mu mubiri ne gulemererwa okulwanyisa endwadde endala ezijja okugulumba mu bwangu. Abasirikale b’omubiri baba basobola okulwanyisa akawuka singa omuwendo gw’obuwuka mu musaayi gubeera nga guli wansi, wabula singa omubiri gubeera nga guli mu kulwanyisa obuwuka obulala awo ne mukenenya w’afunira omukisa okusimba amakanda mu mubiri. Enkola ez’enjawulo ziteereddwawo okusobozesa abantu okwongera okwekebeza akawuka ka mukenenya n’endwadde z’ekikaba endala. Mu zino mulimu okuwa abantu ebyo ebikozesebwa okukebera endwaade zino ebisobola okukozesebwa nga bali awaka. Obuyambi obulala bwe bw’okukubiriza abo abalwadde okukomangawo mu ddwaliro basobole okulaba oba ng’obulwadde bukendedde. Enkola ey’okujjukizanga abalwadde okudda mu ddwaliro okukeberebwa kubadde kukozesanga bubaka bwa ku ssimu oba email. Enkola ezo ennaku zino zikozesebwa nga zongerezebwako okukuba essimu n’amabaluwa.

Okugema

Eddagala erigema omuntu okukwatibwa endwadde z’ekikaba ezimu gye liri okugeza Hepatitis A, Hepatitis B n’ebika ebirala ebya HPV. Abantu baweebwa amagezi okusooka okugemebwa nga tebannaba kwegatta okusobola okwekakasa obukuumi bwabwe. Okussaawo eddagala erisobola okugema obulwadde bw’enziku kukyakolebwako.

Obupiira bu kalimpitawa

Obupiira bw’abasajja n’abakazi buwa obukuumi singa bubeera bukozeseddwa mu ngeri entuufu, wabula ng’ebitundu ebitabikkiddwa biba bikyalina omukisa okubeera nga biyitamu obulwadde bw’ekikaba obw’enjawulo. • Ko akawuka ka mukenenya kasinga kuyita mu bitundu bya kyama era nga bwe katasobola kuyita mu lususu lubikke, kiba kitegeeza nti singa obusajja bubeera nga bwambaziddwa bulungi akapiira, akawuka kaba tekaggya kutambuzibwa. Singa amazzi amalwadde gasanga olususu olunuubule akawuka kaba katambula butereevu okutuuka mu mubiri gw’omuntu omulala. Kino kitegeeza nti omuntu talina kugenda mu kikolwa kya kwegatta singa abeera ng’alina ebiwundu.

Enkozesa entuufu ey’akapiira ka kalimpitawa ak’abasajja ebeeramu: • Obutateeka kapiira waggulu ku mutwe gw’obusajja • Okukanyweza ku nkomerero n’okulekayo ebbanga lya buwanvu bwa 1.5 cm oba ¾ waggulu ku mutwe gwako okulekayo ebbanga omugenda amazzi agava mu musajja. • Okwewala okwambusanga akapiira ng’omuntu amaze okukambala ng’amaze oba nga tannaba kutuuka ku ntikko. • Singa omuntu agenda okukozesa akapiira n’akyesanga nga akambalidde ku ludda olukyamu aba alina okukasuula n’akozesa akalala. • Okubeera omwegendereza ng’oyambala akapiira singa omuntu abeera n’enjala enkulu. • Okwewala okukozesa ebintu ebiseereza ng’ebizigo oba butto kubanga biyinza okuleetamu ebituli. • obupiira obuteereddwamu obuwoowo tebulina kukozesebwa kubanga kiyinza okuvaamu obulwadde bw’entiko mu bitundu eby’ekyama. Okusobola okwekuuma n’okukuuma muganzi wo eri endwadde z’ekikaba, omuntu abeera alina okukitwala nti obupiira obukadde/obwayitako bubeeramu obulwadde. Noolwekyo obupiira obukadde bulina okusuulibwa. Buli mulundi, omuntu aba alina okukozesa akapiira akapya, buli lw’oyongera okweyambisa akapiira emirundi egisukka mu gumu, emikisa gy’akapiira okuyulika gyeyongera ne kikendeeza amaanyi gaako okuziyiza endwadde.

Omuntu w’abeerera n’emikisa emingi egy’okukwatibwa obulwadde obw’ekikaba okugeza singa omukyala abeera ng’akakiddwa omukwano, waliwo eddagala erimuweebwa okusobola okuziyiza okukwatibwa akawuka okugeza azithromycin, cefixime, oba metronidazole.