Jump to content

Engerekera

Bisangiddwa ku Wikipedia
Engerekera

Gakuweebwa Charles Muwanga !!Omuntu akozesa atya obwakalimagezi ku "bikolwa ebigerekere"(instinctive acts)?

Obugunjufu era kitegeeza kuba waggulu wa bikolwa ebigerekere(instinctive acts). Omuntu obutafaanana na nsolo ndala alina okufuga engerekera z’obutonde (the natural instincts) mu bulamu bwe.

Enjala bw’ekuluma ofuna  okwagala okulya. Tomala kukirowozaako enjala okukuluma .Endegeya ng’ezimba enyumba yayo temala kulowooza naye ekikola awatali kukirowoozako. Bino bye bimu ku bikolwa ebigerekere. Ani eyabigerekera ensolo? Namugereka ddunda!!

Ebikolwa ebigerekere (instinctive acts) bikolebwa ensolo awatali kumala kutendekebwa yadde okulowooza. Ekyokulabirako, ensolo oluzaalibwa eyaayanira okufuna eky’okulya oba okuyonka.

Ebikolwa ebigerekere oba engerekera (instincts) bye bikolwa ebitali byeyagalire ate nga si biyigirize, mu nsolo zonna okutwalira awamu, ebireetawo enneeyisa ezitakyuka. Enneeyisa engerekere (instinctive behaviour) ze zisobozesa sipiisa (ebikula) z’ensolo obutasaanawo.

Buli kikolwa ekigerekere kirina kasikirizi(ekintu ekikisikiriza) oba ekikisitimula (stimulus). Okutwalira awamu, ebikolwa ebigerekere mulimu bino:

         Ekikolwa ekigerekere		Ekikisikiriza (Ekikisitimula)

• Ssekaloopera(reflex) kusegeera(okusaka obukessi ne sensa)

• Okukozesa obwongo kusegeera(sensa okusaka obukessi)

• Okwerwanako kulumbibwa

• Okulya njala

• Okukola omukwano bwetaavu, kutabagana, kwegomba

• Okwegadanga kwegomba , kufuna bwagazi

• Okuzaala kukola mukwano/kwegadanga

• Okuva mu mbeera kukyankalanyizibwa, kunyigirizibwa, kusanyuka

• Okusinza Katonda kwewunya ekibalo ky’obutonde

• Okwetoowoloza lubuto okukola ku mmere omuntu gyalidde

• Okukwata obukusu okuwuliriza

• Okufa kulwala

Ebyo waggulu bye bimu ku bikolwa ebyengerekera (za Katonda) era ebiyitibwa ebikolwa by’omuntu ebigerekere oba ebikolwa ebigerekere (instincts).

Okufa n’okuzaalibwa kyatutonderwa era bye bimu ku bibaawo mu bulamu bwaffe kyokka nga si bikolwa byaffe wabula bya butonde kubanga tewali muntu akola kikolwa kya kufa oba akola ekikolwa ekyokuzaalibwa kwe; okufa n’okuzaalibwa bikolwa bya buttonde ebyatugerekerwa oba ebyatutonderwa. Engerekera era yeyolekera nyo mu kulwana n’okwegadanga kyokka engerekera esinga okweyoleka embagirawo eba “ssekalopera” (reflex).

Ne mu buttonde bw’ebisolo waliwo ebikolwa ebigerekere, ebimu nga bijjirawo mbagirawo, buli kisolo bye kikola mu ngeri “etali ya kyeyagalire” (involuntary), bino byonna nga bigerekeddwa Katonda mu butonde, gamba nga okulya, okwegadanga, okwetaasa okuva mu kabi, okukwata obukusu ,nebirala ; kyokka ebisolo ebimu ng’embwa nga bitendekeddwa okukola ekintu , bikola ekintu ekyo bulungi okuyita mu kukwata obukusu oba okumanyiizibwa (conditioning).

“Okukwata obukusu” oba okumanyiiza kiva mu kikolwa ekigerekere eky’ekinyonyi ekiyitibwa enkusu eky’okukoppa amaloboozi g’abantu ge kigegeegenya, si lwa kuba nti kikozesa bwongo okuba nga kitegeera kye kikola.

Ebikolwa ebigerekere eby’okwerwanako, okulya, okuzaala n’okuva mu mbeera biri mu nsolo zonna (ekitegeeza mu bantu ne mu bisolo) naye “ekikolwa eky’okukozesa obwongo” n’eky’okusinza Katonda kirabika nga kiri mu kikula kya muntu kyokka.

Ate era mu butonde ensolo zonna nga n’omuntu mw’omutwalidde zikola ebintu ebigerekere kyokka omuntu akozesa obwongo okusalawo okwenjawulo ku ky’okukola.

Omuntu alina obusobozi okulondamu oba okusalawo ku kikolwa ekigerekere nga akozesa obwongo. Ekyokulabirako, kikolwa kigerekere ensolo okulya naye ekisolo olulaba ekyokulya kiryabuli kyokka omuntu ye ayinza okusalawo okukirya oluvannyuma oba obutakirya olw’ensonga emu oba endala, gamba ng’okuba nga kiddugala, kyetaaga kwozebwako oba okuba nga ya kamala okulya.

Okukola omukwano nakyo kikolwa kigerekere era ekisolo ekisajja olulaba ekikazi nga kikirinyira lwa mpaka yadde mu kifo eky’olukale. Omuntu alina amagezi amala kukkaanya, takwata lwa mpaka era takikola mu lujjudde nga bisolo.

Yadde ng’omuntu akolera ku bikolwa ebigerekere, ebiteeketeeke mu buttonde, alina amagezi aga waggulu agamuyamba okukozesa obwongo bwe okusalawo ddi lw’aba akola ekintu oba obutakola kintu ekimu oba ekirala.

Mu butuufu ensolo endala ebintu bye zikola tezimala kubyefumiitirzaako wabula zesanga zirina okukola ekyo olw’obutonde , gamba ng’enkoko okubiika amagi n’egamaamira ate bw’emala okugaalula n’ebeera n’obukoko bwayo okutuuka lwe bukula. Enkoko eno temala kwefumitiriza kukola kino wabula yesanga ekoze ekyo. Yadde omuntu naye kyamugerekerwa okuzaala, ye akozesa amagezi okusalawo okuzaala nga mweteefuteefu n’abaana bameka b’asobola okulabirira okusinziira ku busobozi bw’alina. Omuntu azaala abaana b’ateetegekedde aba si mugunjufu kubanga aba yeyisizza nga kisolo ekizaala obuzaazi , Ensi ekikulize .

Ekisolo obudde olukya kitandikirawo okulya kasita ebyokulya bibeerawo, tekikola kwefumiitiriza ku kikolwa kino , ensonga lwaki ne bwe kikkuta kigenda mu maaso n’okulya ppaka ng’obudde buzibye. Ate era ne bwe kiba nga eky’okulya kiri ku kasasiro oba embeera ey’obujama yonna kyo kirya buli. Omuntu alya ebijama aba yeyisizza nga nsolo era taba mugunjufu , oluusi aba mulalu, aliko ekikyamu ku bwongo.

Emiramwa gw’ekikolwa ekigerekere ne “sekaloopera atali wa kyeyagalire”(involuntary reflex) gifaanagana. Omulamwa gwa ebikolwa ebigerekere gutera okulaga sekaloopera ow’ekintabuli atali wa kyeyagalire ow’enjawulo; gamba nga okulya, okwerwanako, okwegadanga, so si sekaloopera atali mweyagalire ow’engeri ennyangu nga okutemya, okunyiza, n’okukolola.

Buli kikolwa ekigerekere kirina olujegere lw’ebintu bye kireetawo. Okusinziira ku kino tuyinza okwawula ebikolwa eby’engerekera bwe tuti :

a. Engerekera y’Okulya:- y’eviirako olujegere lw’okukung’anyiriza emmere, okutoola emmere, okutereka emmere, n’ebirala.

b. Engerekera y’okwekuuma:- y’eviirako olujegere olulimu okudduka, okwemulula, okwekweka, n’okwang’anga ng’ensolo ekozesa ammannyo, enjala, amayembe , amagulu ,emikono , n’ebirala.

c. Engerekera y’okwegadanga:- yeviirako olujegere lw’okukola omukwano, okuzannyiikiriza, okuyimba, amazina, okuwubira , okugenda mu kifo ekyekusifu n’ebirala.

d. Engerekera y’Obuzadde:- yeviirako olujegere lw’okuzimba aw’okukuliza ebito,okutereka emmere y’ebito, okuliisa ebito, n’okutendeka ebito okwekuuma ,okuyigga , n’ebirala. Mu bantu mulimu okuyigiriza abato okufuga embeera zabwe ez’obuntu , empisa,okukola emirimu , n’okubasomesa mu matendekero.

e. Engerekera z’okubeera awamu (group instincts):- muno mulimu olujegere oluliko enkolagana oba okutabagana mu bantu oba mu bisolo ebyeyolekera mu kwekuuma okwa wamu , okuzimba, n’ebirala.

Manya: Obugunjufu kitegeeza kubeera waggulu wa ngerekera za buttonde (natural instincts) oba obusobozi okufuga ebikolwa ebigerekere. Eky’okulabirako omuntu okufaanana n’ensolo kyamugerekerwa okukola omukwano oba okwegadanga n’okulya kyokka omuntu kalimagezi teyegadangira mu lujjudde yadde okukwata olw’empaka nga ebisolo, era omuntu tabeera awo nga buli bbanga aba mu kulya oba kunywa yadde nga eby’okunywa n’okulya biri mu bungi oba nga biri mu mbeera ey’obujama wabula alya mu biseera ebigere ate nga emmere gy’alya nnyonnjo.

N’okuzaala nakyo kikolwa ekyatugerekerwa okufaananako n’ensolo endala naye omuntu kalimagezi tasobola kumala gazaala baana b’atasobole kulabirira. Obutafaanana na nsolo ndala, omuntu ye asooka kwetaakateeka n’alyooka akola ezzadde okusobola okulirabirira obulungi.

Obugunjufu bwetaagisa okukozesa amagezi ku bikolwa ebyatugerekerwa Katonda, obutaba nga nsolo ezitakozesa magezi.

N’okuva mu mbeera nakyo kikolwa kigerekere(instinctive) mu bantu , n’ensolo endala, kyokka, obutafaanana nsolo ndala, omuntu aba n’obusobozi okufuga embeera ze ez’obuntu nga okunyiiga , okwegomba, n’endala , olw’amagezi g’alina.