Jump to content

Engula ey'ekipangiso(Hire purchase)

Bisangiddwa ku Wikipedia
Hire purchase

Muwanga agamba nti okupangisa kwe kukozesa ekintu ky'omuntu nga omusasudde naye ne kitafuukira ddala kikyo.

Bw'osasula ekintu n'okitwala naye nga osasuddeko kitundu oba ng'akipangisizza okutuusa nga nga omazeeyo ensimbi zonna z'olina okukisasulira.

KIno ky'ekiyitibwa "okugula ekipangiso" oba "engula ey'ekipangiso"(hire purchase).Ebigulibwa ekipangiso mulimu ebintu nga:

(a) Ebyokuzimbisa

(b)Ebidduka

(c)Ebikozesewa awaka nga ebinnyogozeso (fridge) ,Ttivvi, n'ebirala

Mu kugula ekipangiso , omuntu asooka n'akola ekisasulo ekisooka(down payment) mu buliwo n'alyoka asasula ezibulayo mu bitundu ebyenkanankana buli mwezi okumala emyezi egiba gikkaanyiziddwako.

Okusasula okusooka (first payment) ky'ekiyitibwa |ekisasulo ekisooka (deposit. down payment). Ekyo ky'ailna okusasula buli mwezi kiyitibwa "ekisasulo ekya buli mwezi (monthly payment).

Okugula ekipangiso kuva ku kubaawo nkola ey'okutunda mu bisasulo eby'ebitundu(paying in instalments). Soma ekitabo ekitabo kya Charles Muwanga :Luganda mathwords: An etymologies handbook for mathematical terms in Luganda