Jump to content

Enketteso z'Omubiri (the Body senses)

Bisangiddwa ku Wikipedia
Five senses

Enketteso z'omubiri(the Body senses) okusinziira ku Charles Muwanga!

Okusegeera (sense perception) kutandikira mu nketteso z’omubiri ettaano ne kuggweera mu bwongo, olwo omulengera ne guleetera omuntu okumanya ekyo ky’asegedde (ekisensedde omubiri gwe). Okusegeera kulimu obusobozi bw’omubiri okuketta okuyita mu sensa ettaano:


• Okusenserwa (feeling) =kuva mu enketteso y’okukwatako

• Okuwunyiriza =okuva mu enketteso y’enyindo

• Okulega =enketteso lwe lulimi(okukombako)

• Okuwulira =enketteso g’amatu

• Okulaba =enketteso g’amaaso

Omuntu singa teyalina nketteso ya kusenserwa (sense of feeling) yandibadde alinnya ku liggwa oba n’ayokyebwa omuliro n’atafuna kusenserwa kwonna, ekintu ekyanditadde obulamu bwe mu katyabaga k’okufa ebiwundu.

Ate era singa yali tawulira, tawunyiriza, talaba, yadde okulega teyandisobodde kuwuliziganya na muntu munne (okuyiga), okusikirizibwa okulya oba okulaba ekintu kyonna. 

Okusegeera kikolebwa obusimu bw’omubiri obuketta oba obubega ne buweereza ku bwongo obukola okutaputa n’osobola okulaba, okuwunyiriza, okuwulira, okusenserwa ky’okutteko, oba okulega ky’okombyeko.