Enkola z'Omulengera (the Mental processes)

Bisangiddwa ku Wikipedia

IALI NGO has been authorized by terminologist Charles Muwanga to post articles from his luganda scientific works to Luganda Wikipedia fopr public consumption.

Enkola z’Omulengera (the Mental Processes)

Okukulakulanya entabaganya kyetaagisa okukulaalanya Obwakalimagezi (Intelligence). Tumaze okulaba obwa nakasatwe bw’obulamu bw’omuntu; omubiri, omulengera, n’omwoyo. Obutafanana nsolo ndala, obulamu bw’ensolo eyitibwa omuntu, bukolebwa ebintu bisatu: omubiri, omwoyo, n’omulengera (the mind). Buli kimu ku bino kyetaagisa okukola omuntu omujjuvu. Omulengera (the human mind) mwe musibuka obwakalimagezi obw’omuntu.

Singa si bwakalimagezi bwe, omuntu teyandisobodde kufuga butonde obukaalamufu n’okubukolemu ebintu bye yetaaga, teyandibadde mutabaganyi na bantu banne, teyandisobodde kwenyigira mu byanfuna, ebyobufuzi, yadde okuba n’obusobozi okufuga embeera ze ez’obuntu enkaalamufu nga okunyiiga, obujja, obukyaayi, kyokka n’okuyiiya ebintu eby’enjawulo ebireetawo enkulaakulana eza buli kika kiva ku bwakalimagezi bwa muntu.

Kiri mu butonde bwa muntu okuzaalibwa n’obwakalimagezi obutereke. Buli muntu azaalibwa n’obwakalimagezi obutereke. Kino kiba kitegeeza nti ekitone kino eky’obwakalimagezi (intelligence) kirina okukulaakulanyizibwa okuva nga tuli bato. Okutendeka omwana okumanya ebikolwa eby’obwakalimagezi kuba kumutendeka bugunjufu kubanga kino kye kimu ku bimuyamba okwewala ebikolwa ebitali bya buntu n’obusobozi okufuga obutonde (taming nature) oba embeera enkaalamufu ze tuba nazo.


Enkozesa y’Obwongo (Enkozesa y’Omulengera).


Ensolo endala zirina obwongo obukola naye tezirina busobozi kukozesa bwongo buno. Mu nsolo zonna, omuntu y’alina obusobozi obwa waggulu okukozesa obwongo bwe olw’okuba alina obwakalimagezi (intelligence). Bw’oba omuntu atafaayo kukozesa bwongo bwo, oba weyisa nga kisolo, si nga muntu.

Kikulu nnyo okuyigiriza omwana okukozesa obwongo okutandika n’okwebuuza ku buli kintu, okuviira ddala ku butonde okudda ku bikolwa okusobola okumuyamba okukola okuvumbula amateeka ga sayansi agafuga obutonde awamu n’okukola oba okwogera ebintu eby’ekitegeevu mu bantu banne. Singa mu maaso aba yenyigidde mu amasomo agekebejja obutonde (empirical sciences), kino era kimuyamba okufuuka munnasayansi, omuvumbuzi oba omuyiiya. Ng’amaze okuyiga okwebuuza ebibuuzo eby’ekifirosoofa (philosophical questions) ku butonde na buli kintu ekigenda mu maaso, omwana yetaaga okumanya engeri y’okutuuka ku kumanya ng’akola enkakaso n’okulaga ky’avumbudde oba ky’ayize. Kino kikolebwa okuyita mu:

• Okulowooza nga yebuuza ku ky’alowozaako

• Okwekebejja obutonde oba ekintu ekirala kyonna

• Okwekenneenya

• Okwefumiitiriza

• Okulambika ebirowoozo (ensonga) bye

• Okulambulula ebirowoozo (ensonga)

• N’okusengeka ebirowoozo oba ensonga ezo. Okusengeka ensonga kwe kusengeka ebirowoozo nga obikwataganya bulungi mu ngeri etegeerekeka ate nga ejjayo obukakafu.


Engeri zino zirina ekigendererwa kimu: okutendeka asomesebwa okukozesa obwongo ng’asengeka ebirowoozo mu bwetengerevu (ng’asinziira ku fakikya (facts) oba obukakafu obulabika, okuyita mu kulambika oba okulambulula ensonga.


Okulowooza.


Okulowooza kikolwa kya mulengera (mental process), obusobozi obw’okutondeka ebirowoozo (formation of thoughts). Okufaanana n’ensolo endala, omuntu yenna alowooza ku buli kintu ky’asegeera ne sensa ze ettaano. Buli muntu alowooza ku bintu, ebisolo, abantu, ebifo, enkula, na buli kintu kyonna awatali nsonga lwaki akola kino. Kino akikola ng’ enneeyisa engerekere (instinctive behaviour) awatali kukyefumiitirizako.

Wano omuntu atondeka ekirowoozo (forms a thought) awatali fakikya (facts) oba bukakafu. Kino kitegeeza nti mu mbeera emu, okulowooza kikolwa ekyetaagisa omuntu okutondeka ekirowoozo ku mbeera eriwo nga bw’eri awatali kugyefumiitirizaako.

Guno gwe mutendera ogusooka ogwetaagisa buli muntu yenna okusoobola okukozesa obusobozi bw’omulengera gwe (fakalita ze) gwe obulala obw’enkozesa y’obwongo. Okulowooza kuno n’ebikolwa ebigerekere (instinctive acts) oba okumanya okwembagirawo (intuition) tekiri mu bantu bokka, wabula kuli ne mu nsolo ezitalina bwakalimagezi (magezi ga mutendera gwa waggulu) tebiri ku mutindo nga ogw’omuntu. Ziraba ekintu ne zikirowozaako nga bwe kiri kyokka zzo zikoma awo tezeeyongerayo kwefumiitiriza oba kukyefumiitirizaako yadde okwongera okukinoonyerezaako ne sensa endala.

Buli muntu asobola okulowooza naye abantu abamu bakoma ku kulowooza, tebeyongerayo kwefumiitiriza, balowooza bulowooza awatali kwefumiitiriza. Bakkiririza mu fakikya (facts) oba ebiriwo awatali ku byekebejja na kwekenneenya. Fakikya zino oba ebiriwo nga bw’aba abisegedde, yee abitwala ng’amazima era tafaayo kubyekebejja na kubyekenneenya kusingako awo.


Okwefumiitiriza (Critical thinking).


Kuno kuli mu bantu bokka. Kulimu bino wammanga:

• Okwebuuza ku kintu kyosegedde ne sensa zo

• Okuteebereza (rationalising) ku kiri munda oba emabega waakyo

• “Okwekenneenya” (analysis) ekintu oba omulamwa. Wano omuntu era akozesa “sensa” ze ettaano omuli okulaba, okuwunyirza, okuwulira, okukwatako, oba okulegako mu kukinoonyerezaako, n’alyooka asengeka ebirowoozo okusinziira ku ki ky’afunye. Oluusi ayinza okukyabuluzaamu amanye ebiri mu buziba bwakyo.

• Okugereesa (abstraction/ theorising).

• Okugerageranya

• okunoonyereza n’okugezesa ku butonde

• okutuuka ku kuvumbula

• okuyiiya tekinologia

Mu butuufu omuntu alowooza obulowooza ku kintu ky’asegedde ne sensa ze kyokka n’ateyongerayo kukyekebejja oba okukyekenneenya era n’atakyefumiitirizaako aba ng’ekisolo obusolo.

Okwefumiitiriza kwetaagisa nnyo mu bulamu bw’omuntu obwa bulijjo oba mu ntabaganya kyokka ate kye kifuula abantu abamu okuba bakakensa abakozesa “enkola ya sayansi” (scientific method) oba bassekalowooleza n’okuteekawo tekinologia ow’omugaso ennyo mu kutondeka ebyettunzi.

Okwefumiitiriza (critical thinking) kitegeeza “kulowooza ku kulowooza”. Kino kitegeeza nti okwefumiitiriza kulowooza okuyingira mu buziba bw’ekintu oba embeera nga tonnasalawo oba nga tonnakola kintu kyonna.

Okwefumiitiriza bwe kweyunirwa, omulengera (the mind) guwa ekyagaanya enjuyi zonna nga tannawa ndowooza. Omuntu eyefumiitiriza yekenneenya omulamwa ne kalonda yenna ku mulamwa oba embeera eba eriwo.

Omuntu eyefumiitririza aba yebuuza nga tanakola yadde okwogera ekintu kyona. Omwefumiitiriza yebuuza ku mulengera we nga akozesa obubuuza (interrogatives): ani, kiki, wa, kitya, atya, ne ddi mu mbeera yonna.

Okwefumiitiriza kyetaagisa okwebuuza, okwekebejja n’okwekenneenya, n’ebiseera biwanvuko okusinga okulowooza obulowooza. Omuntu atali mwefumiitiriza nga omuteeredde ebitereke bya sente bisatu awo, ekitono, ekinenene, n’ekinene ddala n’omugamba alondeko, ayinza okutwala ekisinga obunene nga alowooza nti kye kirimu ensimbi ennyingi okusinga ebirala. Omuntu omwefumiitiriza asooka kwagala kusumululako alabe ekiri munda kubanga yebuuza nti ye abaaye sente ze zirimu? Ye ezirimu za miwendo minene oba mitono.

Omuntu omw’efumiitiriza bw’asoma ekitabo ka tugambe ekya “Zinunula Omunaku”, asooka n’asoma emiko egisooka, n’asoma ku muwandiisi, n’alyooka asalawo oba asome ekitabo kino kyonna.

Abantu abeefumiitirza batera obuteesiba ku ndowooza emu oba ku kintu kimu kuba baba bakimanyi nti wayinza okubeerawo engeri oba ekkubo eddala. Batera okuba abannyonnyofu era abatabuukira kintu kyonna kumala gasalawo mangu.

Okwefumiitiriza kitegeeza, obusobozi bw’abalowooza okuba nga bafuga okulowooza kwabwe oba endowooza zaabwe era ne balowooza ku kye balowoozako. Omuntu akozesa obwongo nga yefumiitiriza:


• Asobola okwawula wakati wa fakikya (fact) n’endowooza y’omuntu kinnoomu (opinion).

• yebuuza ku buli ky’alaba, ky’awulira, kyasoma ne ky’akola

• anoonya okunnyonnyoka buli mulamwa

• abuuza ebibuuzo ebirina ekigendererwa

• asengejja mu byogerwa oba ebiteesebwako

• Talemera ku nsonga nga fakikya oba embeera zikyuse.

• N’olwekyo akkiriza nti yakoze ekintu olw’obutamanya oba nti yabadde tamanyi.

• Ayaayaanira okumanya.

• anoonya okulaba engeri ey’okukolamu ebintu esaanidde

• Awuliriza abalala n’obwegendereza ate n’awa okuddamu kwe gye bali (feed back).

• Ayongezaayo okusalawo okutuuka nga fakikya zonna zikung’aanyiziddwa ne zekenneenyezebwa.

• Anoonya obukakafu

• takolera ku ngambo

• Aba mugobansonga ng’anoonya enjawulo eri mu bifaanagana n’obumu bw’ebitafaanagana era buli kintu akyekenneenya okuva ku njuyi n’ensonda zonna, ku ngulu ne mu buziba bwakyo.


Okulambika ebirowoozo (Okulambika ensonga)

Okulambika ensonga oba okulowooza nga olambika ensonga mu lungereza kiba “inductive reasoning”. Okuyita mu kukozesa obwongo ng’olambika ensonga, omuntu kalimagezi:

 Alambika ebirowoozo bye okuva wansi okudda waggulu.

 Atuuka ku kuvumbula oba okumanya ebipya.

 Kimusobozesa okuyigiriza abalala okwevumbulira oba okwezuulira okumanya okupya.

 Okulambika ensonga kitendeka omulengera (the mind) n’okukulaakulanya enkola z’omulengera (mental processes) mu bato nga bayiga okwevumbulira ebipya.

 Kimwetaagisa okukozesa ensonda ez’enjawulo

Okulambika ensonga oba okukozesa obwongo ng’olambika ebirowoozo (inductive reasoning) kiringa kutema kkubo awatali kkubo kubanga otandika tolina ky’omanyi wabula n’okozesa okwekebejja, okwekenneenya, n’okwefumiitiriza okutuuka ku kipya.

Engeri y’okusomesa oba okuyiga ng’olambika ensonga kiringa kutema kkubo awatali kkubo okutuuka ku kigendererwa (okuzuula ekituufu). Mu kutema ekkubo awatali kkubo mulimu okuyita ku busozi n’ebikko ate awo n’okyusaamu okufuna aw’okuyita awatuufu ate nga buli w’otema ogenda olambawo (olambikawo). Okusomesa okulambika ensonga kiyamba nnyo mu baana abato okukulaakulanya enkozesa z’obwongo bwabwe, naddala okwefumiitiriza n’okwetuukira ku kituufu ku bwabwe.

Okulambika ebirowoozo kitegeeza kuyamba muyizi kwetemera mpenda zituuka ku kumanya ekituufu kwekyo kyonoonyerezaako, ng’okozesa obwongo mu kifo ky’omuntu omulala okukubuulira ye ky’amanyi.

Ekituufu kiri nti abato basinga kuganyulwa mu kubayamba okulambika ensonga, omuli okubayigiriza okwezuulira ekituufu mu kifo ky’okubagamba obugambi nti kino oba kiri kye kituufu kubanga obwongo bwabwe buba bukyaalina obusobozi bwa maanyi.

Mu yinginiyologia kyetaagisa okusoma n’onnyonnyoka amateeka ga sayansi ez’ensibo (natural sciences). Obutafaanana na kulambulula, okulambika kikolwa kya kwevumbululira (okukwekula) na kukozesa mateeka ga sayansi okuyiiya tekinologia omupya nga okola okunoonyereza eno nga bw’ogenda olambika buli mutendera gw’oyitamu naddaala okukola ennongoosereza mu tekinologiya aliwo oba okuvumbula tekinologiya omupya.  


Okulambulula ebirowoozo (Okulambulula ensonga)


Olw’okuba “Ekipimo ky’Obwakalimagezi”/EkkyO (IQ) mu bantu si kye kimu, abamu banguyirwa okuyiga nga balambululirwa ensonga ate abo abalina obwongo obwogi bbo ne banguyirwa okuyiga nga bayambibwa okulambika ensonga era bano baba n’obusobozi okuvumbula ebipya.

Okulambulula ensonga oba okulambulula ebirowoozo mu lungereza kiyite “deductive reasoning: Okulambika n’okulambulula ensonga bigeraageranye n’ekikolwa eky’okusiba n’okusumulula oba okulanga n’okulangulula omugwa. Okulangulula omugwa kiba kyangu okusinga okugulanga kuba okugulanga oteekamu okwefumiitiriza n’amagezi mangi ddala.

Obutafaanana na kulambika nsonga, okulambulula ensonga kitegeeza kunnyonyola ekyo ekiwedde okukola (ekimanyiddwa) okudda wansi ku ntandikwa. Okulambulula ensonga”:

 Tekuleetawo kumanya kupya, wabula kulaga ekkubo eryayitiddwamu okutuuka ku mulamwa (ekituufu), ku nsonga, oba katugambe okulaga ekkubo omuyiiya oba omuvumbizi lye yayitamu okutuuka ku tekinologiya aliwo.

 Nkola ya kulaga bukakafu

 Kukozesebwa okulaga enkola oba engeri ebintu ebimanyiddwa gye bikolamu, gye bikolebwamu oba gyebyavumbulwamu.

 Kintu ekyanguwa kubanga oyo alambulula ekintu aba akimanyi bulungi nga tali mu kunoonya kukimanyaako kupya oba kunoonya kuvumbula.


Omulamwa gw’okulambulula gweyambisibwa mu ngeri nnya:


(i) Mu kwogera okwa bulijjo okulambulula ebirowoozo kuba kunnyonnyola ekintu nga bw’okiwulidde, nga bw’okisomye, oba okulaga ekintu nga bw’okitegedde nga bw’okinnyonnyose.

(ii) Mu sessomo ly’ekibalangulo (mathematics) ekigambo “kulambulula” kyeyambisibwa okukola omulamwa gw’okulambulula namba (factorization of numbers) awamu n’okulaga namba ennambulukufu oba namba ezerambulula (composite numbers) ne namba ezitali nambulukufu oba eziterambulula (prime numbers).

(iii) Mu sayansi ez’ensibo “okulambulula tekinologia” oba “yinginiyologia alambulula tekinologia” mulamwa oguli mu matendekero ga yinginiyologia n’amakolero mu mawanga agavuganya mu nkulaakulana. Omulamwa gw’okulambulula tekinologia (reverse engineering) gugwata ku kukoppa tekinologia ekitongole oba eggwanga ery’ebweru gwe lyeyambisa okuyiiya, okubaga n’okuzimba masiini oba ekyuma kyonna. Wano okiraba nti ekigambo kulambulula kirimu okukoppulula tekinologiya nga sumulula masiini okunnyonnyoka engeri gye yazimbibwamu

Okutwalira awamu okulambulula okigeraageranya n’ekigambo “okulambika” era okukitegeera obulungi wekenneenye ebigambo okusiba n’okusumulula, okutugga n’okutaggulula okutunga n’okutungulula.

Okukoppulula ekintu si ggwe oba wakiyiiya n’okitondekawo naye oyita mu kwekenneenya, n’okyekebejja wakati mu kwefumiitiriza okutuuka okuzuula engeri gye kyatuukibwako oba gye kyakolebwamu. Kino kirimu okukozesa obwongo nga onnyonnyola ekkubo eriwedde okukubibwa okuva gye likoma okutuuka we litandikira. Kino kitegeeza nti tewabaddewo kwevumbulira naye olaga nti onnyonnyose ekintu omulala kye yavumbula era n’okiraga bulungi nga omuvumbuzi wakyo bwe yakituukako. 

Engeri y’okukozesa obwongo ng’olambulula ensonga nayo yamugaso, naddala nga waliwo obwetaavu bw’okukoppa oba okukoppulula ekintu ekikoleddwa omuntu omulala kyokka singa ekozesebwa yokka tewa muntu kyagaanya kwezuulira oba kwevumbulira kipya.

Entabaganya zaffe ezikyetaaga okukulaakulana mu tekinologia wa yindasitule zetaaga nnyo abakugu mu yinginiyologia abasobola okukozesa yinginiyologia ow’okulambulula tekinologia (reverse engineering) okukoppa tekinologia ensi endala gwe zikozesa okutondekawo ebikole eby’enjawulo mu yindasitule, eby’entambula, n’amatabi ga yindasitule ge twetaaga okukulaakulanya eby’enfuna byaffe.

Mu Nsi eya sayansi, yinginiyologia ow’okulambulula tekinologia (reverse engineering) akola kinene okukulaakulanya amawanga era obuwangwa oba amawanga agatateekawo nkola yakukoppa tekinologia w’ensi endala gasigalira mabega. Kino kirimu nnyo okwekebejja, okwekenneenya, n’okwefumiitiriza.

Singa ettendekero lya yinginiyologia terisobola kufuna biwandiiko bikwata ku kyuma oba masiini yonna, liba lirina kulambulula tekinlologia wakyo. Ekyokulabirako, eky’okukola kwe kusomesa abayizi “yinginiyologia ono alambulula tekinologia” w’ekyuma kyonna kye baagala okukoppa, bakyusemu bakole ekyabwe.

Omuntu omukujjukujju oba ekitongole nga ekitendeka yinginiyologia kiyinza okwagala okulambulula tekinologia eyakozesebwa okukola, ka tugambe, ekkolero lya motoka, obusimu bwo mu ngalo, leedio, tulakita, oba erya sukaali, olw’ensonga ez’enjawulo nga okwagala obwagazi okuyiga, okutondeka ekitondeke eky’efaananyirizaako ekyo ekyekebejjebwa, oba okwagala obwagazi entabaganya ye nayo esajjakule era yetengerere mu sayansi, tekinologia, ne yindasitule.

Yinginologia alambulula tekinologia (reverse engineering) yatandika okukozesebwa mu biseera bya sematalo ll, nga ensi ezaali mu lutalo buli emu etaddewo ekitongole kya yiginiyologia okukoppa tekinologia okuva ku byuma ebyali biwambiddwa okuva ku mulabe.

Wano baalambululanga tekinologia w’ ebyokulwanyisa na buli kyuma kyonna kye baabanga bawambye mu lutalo okusobola okulaba nga bwe kikola n’engeri ensi eyo bw’eyinza okukitondekawo ku bwayo n’okulongoosa mu tekinologia wakyo omulabe gwe yakozesa nga akitondeka.

Ku mulembe guno amatendekero oba ebitongole bya sayansi mu mawanga agalina enteekateeka ennambulukufu mu kutondeka ebikole, biteekawo obukiiko bw’abakugu obukessi “okulambulula tekinologia” (to reverse engineer) w’ebyuma bya kampuni oba amawanga amalala. Kino kye kiyambye amawanga ne ebitongole okuteekawo tekinologia owabyo, kasita baba nga tebakubisaamu ebyo byennyini ebifaana ne bye baba bakoppye wabula bo ne bakozesa tekinologia ono okukola ebyuma ebibagiddwa mu ngeri eyawukana ku by’ekitongole kye bakesseeko tekinologia ono.

Kyokka eggwanga oba ekitongole kiyinza n’okusaba olukusa okuva mu kitongole ekikwatibwako mu ggwanga eddala awatali kubbirira ne kiweebwa olukusa olutongole okulambulula tekinologia w’ekyuma (masiini) ekyo. Naye kino oluusi kibaamu emisoso mingi n’okufulumya ensimbi. Amawanga gatera nnyo okwettanira okuketta n’okukoppa tekinologia awatali lukusa kyokka ne gabaga ekyuma ekitafaanana na kiri kye bakoppoloddemu tekinologiya.


Okusegeera n’okutegeera


Ekisitimula okusegeera (what stimulates sense perception) kiva mu emu ku sensa zo ettaano oba okusingawo ate okutegeera kuva mu kukozesa sensa zo ezisigadde zonna ennya kw’ekyo ky’osegedde nga okiwunyirizaako, okitunulako okukiraba, okiregako, n’okikwatako ate n’okozesa obwongo bwo okukefumiitirizaako, okukyekebejja, okukyekenneenya n’okuvumbula ebipya.

Okusegeera kwe kumanya kw’ebintu okuyita mu sensa y’okulaba, sensa y’okuwulira, sensa y’okukwatako, eyokuwunyiriza oba eyokulegako kyokka “okutegeera” kiva mu kukiteekako sensa ezo zonna wakati mu kwefumiitririza, okwekebejje, n’okwekenneenya. Wano oba okiraba nti ensolo nazo zisegeera kuba zirina sense ng’ez’omuntu omuli amaaso, amatu, n’endala zonna okumalayo ettaano naye obuzibu buli nti zo yadde zirina obwongo naye tezirina mulengera oba ka tugambe nti tezirina busobozi bwa mulengera (mental faculties).

Sensa ey’okulaba esibuka mu maaso, ey’okuwulira mu matu, ey’okukwatako ku lususu, ey’okuwunyiriza mu nnyindo, n’eyokulegako ku lulimi. N’olwekyo okusegeera kuleetebwawo sensa zino ettaano. Okusegeera ky’ekikolwa ekisobozesa ebimu ku bikolwa ebigerekere ng’okulaba, okulya, okuwulira obulumi n’ okunyumirwa.

Mu kwogera okwa bulijjo, okusegeera kitegeeza okumanya okujjawo okuyita mu kulaba, okuwulira, okulega, okusenserwa ky’okutteko awatali ku kulowooza ku ky’olowozaako. Okulowooza ku kintu ky’osegedde omulundi ogw’okubiri y’entandikwa y’okwefumiitiriza, okwekebejja, n’okwekenneenya.

Ekisobozesa omuntu okufuna okumanya okuyita mu sense kiva mu sekaloopera (reflex) wakati w’obwongo bwo ne sensa yo gye kikwatako; sensa eroopera obwongo, obwongo ne bukola okutaputa, olwo mulengera (mind) n’akutegeeza obwongo kye bufunye. Buli sensa erina ekyagigerekerwa; sensa ey’okutunula kyagikerekerwa kulaba.

Omuntu kyasegedde (what one perceives with the senses) kiba n’ekikisikiriza oba ekikisitimula (stimulus). Ekisikiriza/ekisitimula okulaba kutunula, okuwunyiriza kuwunya, okuwuliriza bivuga oba kwogera, okusenserwa (feeling) buba bunnyogovu, kwokya, obulumi oba okukwatako.

Okulowooza okusegeevu (Concrete thinking) n’okulowooza okugereefu (abstract thinking). Omuntu alowooza mu busegeevu atunuulira essinzizo nga ekizimbe obuzimbe naye oyo alowooza mu bugereefu atunuulira essinzizo nga ekifo ekiraga obutonde bw’omuntu kalimagezi alaba Sabagezi, Namugereka, Katonda mu kibalo ne sayansi ali emabega w’obutonde n’obwengula.

Katonda oyo ali emabega wa sayansi n’ekibalangulo ekiri emabega w’obutonde agereesebwa okuba ow’ekyewuunyo, asaanidde okutenderezebwa mu kifo eky’enjawulo ekiyitibwa essinzizo.

Kino kitegeeza nti okulowooza okukoma ku kusegeera, kukoma kw’ekyo ky’olabako n’amaaso go, ky’owunyiriza n’enyindo zo, ekisensera olususu lwo nga okikutteko, ky’owulira n’amatu go; ezo ze fakikya (facts). Yadde nga okulowooza okusegeevu nakwo kulimu enkola za mulegera, kukoma ku fakikya eziba zisegeddwa sensa.

Okulowooza okugereefu (abstract thinking) kwetaagisa okukozesa obwongo oba omulengera gwo okusobola okufuna amakulu amakusike agali mu fakikya z’osegedde ne sensa zo. Abasegeevu (concrete thinkers) bafuna ekifaananyi kimu mu kintu ekiri awamu ate abalowooza abagereefu (abstract thinkers) balina ebifaananyi bya njawulo ebiri emabega w’ekintu ekiri awamu. Okulowooza okugereefu kwekuusuza ku kutaputa makulu ag’enjawulo g’ojja mu fakikya z’osegedde n’ennyindo, amaaso, olulimi, okukwatako oba okulegako. Okulowooza okugereefu bwe kuba nga kwekuusiza ku birowoozo, okulowooza okusegeevu kwekuusiza ku fakikya zokka nga bw’oba ozisegedde oba ka tugambe nga bwe ziba ziketteddwa sensa z’omubiri.


Ensengeka y’Ebirowoozo (Ebirowoozo ebisengeke)


Ensengeka y’ebirowoozo (logic) kuba kusengeka nsonga n’ozirambika oba n’ozirambulula mu ngeri ekwatagana era etegeerekeka. Okukozesa obwongo nga olambika oba nga olambulula ensonga byombi byeyambisa ebirowoozo ebisengeke (logic). Waliwo akakwaate akatasattululwa wakati w‘obwakalimagezi n’ebirowoozo ebisengeke. Mu butuufu “ekipimo ky’obwakalimagezi” (EkkyO) kisinziira ku ngeri omuntu gy’alaga obusobozi bw’alina okusengeka ebirowoozo bye nga alambulula oba ng’alambika ensonga ez’enjawulo.

Ssessomo ly’ekibalangulo (mathematics discipline) liyamba nnyo okukulaakulanya obusobozi bw’okusengeka ebirowoozo. Omuntu atalina busobozi bwa kusengeka na kukwataganya birowoozo tasobola kubeera omubalanguzi (mathematician). Okutwalira awamu, ekifuula omuntu ensolo ya sayansi bwe busobozi bw’okusengeka ebirowoozo bye wakati mu kwekebejja obutonde ne yekenneenya ekintu mu kwefumiitiriza ng’akozesa omulengera gwe.


Okwetegeera


Omuntu kalimagezi alina engerekera y’okwetegeera (the instinct self - consciousness) ng’omuntu aliwo olw’okuba omulengera gwe (obwongo bwe) gulina obusobozi okumumanyisa nti w’ali era mulamu.

Obutafaanana bisolo, omuntu alina obutonde obw’okwetegeera era yeebuuza ku kubaawo kwe, gye yava, ne gy’alaga, ensonga lwaki yefaako okutumbula embeera y’obulamu bwe n’okumanya oba okuteebereza ekigendererwa kya Katonda gyali.

Okwetegeera era kitegeeza okumanya embeera z’obuntu ennungi n’ezitali nungi. Mu mbeera embi omuntu z’ayinza okubeeramu mulimu obutayagala kugambwako, enge, empiiga, okunyiiga okunyigirizibwa, okwekubagiza, obutayagala kubuulirirwa, obusunguwavu, obutasaasira, obutasonyiwa, obutujju, okwagala ennyo ebyamasanyu, okwerowozaako wekka n’endala. Okwetegeera kitegeeza kubeera waggulu wa mbeera zo ez’obuntu nga ozifuga mu kifo kya zzo okukufuga.

Okwetegeera n’olwekyo kitegeeza kumanya nti:

• W’oli, oli mulamu, oli mu ntabaganya era olina entabaganyo mwe wesanga, n’olwekyo olina okwefaako n’okufa ku bantu banno.

• wetaaga okuyambibwa, nawe yamba abalala,

• wetaaga okwagalwa, nawe laga abalala okwagala n’okufiibwaako

• wetaaga obulamu naawe kuuma obulamu bw’abalala

• toyagala kulumizibwa nawe tolumya balala

• tewetaaga kunyigirizibwa naawe tonyigiriza balala,

• Tewetaaga kutulugunyizibwa nawe totulugunya balala,

• Wetaaga okukulaakulana nawe yamba abalala okukulaakulana.

• Si ggwe weetonda; manya era osinzenga Katonda wo.


Okwetegeera kitegeeza kumanya enjawulo eriwo wakati w’embeera ez’obuntu ennungi n’embi ozikakkanye zituukane n’ezo ezetaaga okukusobozesa okutabagana obulungi n’abalala.


Obuzibu bw’okusegeera

Okusegeera kutuwa okumanya ebikwata ku mbeera eri wabweeru w’emibiri gyaffe nga bw’eri. Kyokka olwa ensonga emu oba endala, oluusi wajjawo obuzibu okuba ng’ebitundu by’emibiri gyaffe ebikwatibwako ku kusegeera okw’enjawulo bifuna okubuzibwabuzibwa okuva mu bwongo ebintu ne tubisegeera kifuulanenge. Okusegeerakifuulannenge (illusion) buzibu bwa kusegeera mu kulaba era omuntu akitegeererawo nti olw’ensonga emu oba endala ekintu akirabye kifuulannenge. Ekintu ekirabika kifuulannenge kiba kyekyo kye nnyini naye ne kirabika mu ngeri ya njawulo. Ekyokulabirako:

• Ekisenge ekyeeru mu ttaala eya kyenvu kirabika ng’ekya kyenvu. Oyo kifuulannenge wa langi.

• Eky’okunywa ekiwoomerera kiyinza okuba ng’ekikaawa mu kamwa singa oli aba yakamala okulya ekintu ekiwoomerera okusingawo. Oyo kifuulanenge wa kulega.

• Ekivuga eky’empolampola kiyinza okuwulikika ng’ekireekana singa kiba kumpi nnyo n’omuntu. Oyo kifuulannenge wa kuwulira.


Ate ekirabampewo (hallucination) buba buzibu buva ku bwongo omuntu n’aba nga atunula naye nga ky’agamba nti kyalaba mu butuufu si kye kiriwo. Omuntu asegedde ekintu kifuulannenge atera okutegeera nti ekyo kyalabye si bwekirina okubeera olw’obumanyirivu kyokka oyo alaba empewo tamanya nti kyalabye tekiriiwo. Abanywi b’enjaga ne balujuuju batera nnyo okufuna obuzibu bw’ekirabampewo. Ekirabampewo tekitegeeza nti olaba mpewo naye kitegeeza nti obwongo bwo bukulaga ekintu ekitaliiwo olw’okukyankalanyizibwa omwenge, enjaga, oba obulwadde.

Okulaba empewo tekiba kulaba muzimu wabula kiva ku kukyankalana kwa bwongo bwa muntu olw’ensonga z’okukyankalana kw’ensegekera y’obwongo oba olw’okukyakankalana kwa mutereezabulamu (metabolism).

Omuntu omugunjufu n’olwekyo si kirungi buli kintu kukiyita mizimu oba misambwa kubanga oluusi kiva mu kukyankalana kwa bwongo mu kukola okutaputa ekisegeddwa (ekisakiddwa) sensa ze ez’omubiri.


Engerekera (Instincts)


Ebikolwa Ebigerekere n’Obwakalimagezi

Obwakalimagezi kye kiyamba omuntu okuba waggulu w’ebikolwa ebigerekere (instinctive acts). Omuntu obutafaanana na nsolo ndala alina okufuga engerekera z’obutonde (natural instincts) mu bulamu bwe.

Enjala bw’ekuluma ofuna okwagala okulya. Tomala kukirowozaako enjala okukuluma. Endegeya ng’ezimba enyumba yayo temala kulowooza naye ekikola awatali kukirowoozako. Bino bye bimu ku bikolwa ebigerekere. Ani eyabigerekera ensolo? Namugereka ddunda!!

Ebikolwa ebigerekere (instinctive acts) bikolebwa ensolo awatali kumala kutendekebwa yadde okulowooza. Ekyokulabirako, ensolo oluzaalibwa eyaayanira okufuna eky’okulya oba okuyonka.

Ebikolwa ebigerekere oba engerekera (instincts) bye bikolwa ebitali byeyagalire ate nga si biyigirize, mu nsolo zonna okutwalira awamu, ebireetawo enneeyisa ezitakyuka. Enneeyisa engerekere (instinctive behaviour) ze zisobozesa sipiisa (ebikula) z’ensolo obutasaanawo.

Buli kikolwa ekigerekere kirina kasikirizi (ekintu ekikisikiriza) oba ekikisitimula (stimulus). Okutwalira awamu, ebikolwa ebigerekere mulimu bino:

         Ekikolwa ekigerekere		Ekikisikiriza (Ekikisitimula)

• Ssekaloopera (reflex) Kusegeera (okusaka obukessi ne sensa)

• Okukozesa obwongo Kusegeera (sensa okusaka obukessi)

• Okwerwanako Kulumbibwa

• Okulya Njala

• Okukola omukwano Bwetaavu, kutabagana, kwegomba

• Okwegadanga Kwegomba, kufuna bwagazi

• Okuzaala Kukola mukwano/kwegadanga

• Okuva mu mbeera Kukyankalanyizibwa, kunyigirizibwa, kusanyuka

• Okusinza Katonda Kwewunya ekibalo ky’obutonde

• Okwetoowoloza Lubuto okukola ku mmere omuntu gyalidde

• Okukwata obukusu Okuwuliriza

• Okufa Kulwala

Ebyo waggulu bye bimu ku bikolwa ebyengerekera (za Katonda) era ebiyitibwa ebikolwa by’omuntu ebigerekere oba ebikolwa ebigerekere (instincts).

Okufa n’okuzaalibwa kyatutonderwa era bye bimu ku bibaawo mu bulamu bwaffe kyokka nga si bikolwa byaffe wabula bya butonde kubanga tewali muntu akola kikolwa kya kufa oba akola ekikolwa ekyokuzaalibwa kwe; okufa n’okuzaalibwa bikolwa bya buttonde ebyatugerekerwa oba ebyatutonderwa. Engerekera era yeyolekera nyo mu kulwana n’okwegadanga kyokka engerekera esinga okweyoleka embagirawo eba “ssekalopera” (reflex).

Ne mu buttonde bw’ebisolo waliwo ebikolwa ebigerekere, ebimu nga bijjirawo mbagirawo, buli kisolo bye kikola mu ngeri “etali ya kyeyagalire” (involuntary), bino byonna nga bigerekeddwa Katonda mu butonde, gamba nga okulya, okwegadanga, okwetaasa okuva mu kabi, okukwata obukusu, nebirala; kyokka ebisolo ebimu ng’embwa nga bitendekeddwa okukola ekintu , bikola ekintu ekyo bulungi okuyita mu kukwata obukusu oba okumanyiizibwa (conditioning).

“Okukwata obukusu” oba okumanyiiza kiva mu kikolwa ekigerekere eky’ekinyonyi ekiyitibwa enkusu eky’okukoppa amaloboozi g’abantu ge kigegeegenya, si lwa kuba nti kikozesa bwongo okuba nga kitegeera kye kikola.

Ebikolwa ebigerekere eby’okwerwanako, okulya, okuzaala n’okuva mu mbeera biri mu nsolo zonna (ekitegeeza mu bantu ne mu bisolo) naye “ekikolwa eky’okukozesa obwongo” n’eky’okusinza Katonda kirabika nga kiri mu kikula kya muntu kyokka.

Ate era mu butonde ensolo zonna nga n’omuntu mw’omutwalidde zikola ebintu ebigerekere kyokka omuntu akozesa obwongo okusalawo okwenjawulo ku ky’okukola.

Omuntu alina obusobozi okulondamu oba okusalawo ku kikolwa ekigerekere nga akozesa obwongo. Ekyokulabirako, kikolwa kigerekere ensolo okulya naye ekisolo olulaba ekyokulya kiryabuli kyokka omuntu ye ayinza okusalawo okukirya oluvannyuma oba obutakirya olw’ensonga emu oba endala, gamba ng’okuba nga kiddugala, kyetaaga kwozebwako oba okuba nga ya kamala okulya.

Okukola omukwano nakyo kikolwa kigerekere era ekisolo ekisajja olulaba ekikazi nga kikirinyira lwa mpaka yadde mu kifo eky’olukale. Omuntu alina amagezi amala kukkaanya, takwata lwa mpaka era takikola mu lujjudde nga bisolo.

Yadde ng’omuntu akolera ku bikolwa ebigerekere, ebiteeketeeke mu buttonde, alina amagezi aga waggulu agamuyamba okukozesa obwongo bwe okusalawo ddi lw’aba akola ekintu oba obutakola kintu ekimu oba ekirala.

Mu butuufu ensolo endala ebintu bye zikola tezimala kubyefumiitirzaako wabula zesanga zirina okukola ekyo olw’obutonde, gamba ng’enkoko okubiika amagi n’egamaamira ate bw’emala okugaalula n’ebeera n’obukoko bwayo okutuuka lwe bukula. Enkoko eno temala kwefumitiriza kukola kino wabula yesanga ekoze ekyo. Yadde omuntu naye kyamugerekerwa okuzaala, ye akozesa amagezi okusalawo okuzaala nga mweteefuteefu n’abaana bameka b’asobola okulabirira okusinziira ku busobozi bw’alina. Omuntu azaala abaana b’ateetegekedde aba si mugunjufu kubanga aba yeyisizza nga kisolo ekizaala obuzaazi, Ensi ekikulize.

Ekisolo obudde olukya kitandikirawo okulya kasita ebyokulya bibeerawo, tekikola kwefumiitiriza ku kikolwa kino, ensonga lwaki ne bwe kikkuta kigenda mu maaso n’okulya ppaka ng’obudde buzibye. Ate era ne bwe kiba nga eky’okulya kiri ku kasasiro oba embeera ey’obujama yonna kyo kirya buli. Omuntu alya ebijama aba yeyisizza nga nsolo era taba mugunjufu, oluusi aba mulalu, aliko ekikyamu ku bwongo.

Emiramwa gw’ekikolwa ekigerekere ne “sekaloopera atali wa kyeyagalire” (involuntary reflex) gifaanagana. Omulamwa gwa ebikolwa ebigerekere gutera okulaga sekaloopera ow’ekintabuli atali wa kyeyagalire ow’enjawulo; gamba nga okulya, okwerwanako, okwegadanga, so si sekaloopera atali mweyagalire ow’engeri ennyangu nga okutemya, okunyiza, n’okukolola.

Buli kikolwa ekigerekere kirina olujegere lw’ebintu bye kireetawo. Okusinziira ku kino tuyinza okwawula ebikolwa eby’engerekera bwe tuti:

a. Engerekera y’Okulya:- y’eviirako olujegere lw’okukung’anyiriza emmere, okutoola emmere, okutereka emmere, n’ebirala.

b. Engerekera y’okwekuuma:- y’eviirako olujegere olulimu okudduka, okwemulula, okwekweka, n’okwang’anga ng’ensolo ekozesa ammannyo, enjala, amayembe, amagulu, emikono, n’ebirala.

c. Engerekera y’okwegadanga:- yeviirako olujegere lw’okukola omukwano, okuzannyiikiriza, okuyimba, amazina, okuwubira, okugenda mu kifo ekyekusifu n’ebirala.

d. Engerekera y’Obuzadde:- yeviirako olujegere lw’okuzimba aw’okukuliza ebito, okutereka emmere y’ebito, okuliisa ebito, n’okutendeka ebito okwekuuma, okuyigga, n’ebirala. Mu bantu mulimu okuyigiriza abato okufuga embeera zabwe ez’obuntu, empisa, okukola emirimu, n’okubasomesa mu matendekero.

e. Engerekera z’okubeera awamu (group instincts):- muno mulimu olujegere oluliko enkolagana oba okutabagana mu bantu oba mu bisolo ebyeyolekera mu kwekuuma okwa wamu, okuzimba, n’ebirala.

Manya: Obugunjufu kitegeeza kubeera waggulu wa ngerekera za buttonde (natural instincts) oba obusobozi okufuga ebikolwa ebigerekere. Eky’okulabirako omuntu okufaanana n’ensolo kyamugerekerwa okukola omukwano oba okwegadanga n’okulya kyokka omuntu kalimagezi teyegadangira mu lujjudde yadde okukwata olw’empaka nga ebisolo, era omuntu tabeera awo nga buli bbanga aba mu kulya oba kunywa yadde nga eby’okunywa n’okulya biri mu bungi oba nga biri mu mbeera ey’obujama wabula alya mu biseera ebigere ate nga emmere gy’alya nnyonnjo.

N’okuzaala nakyo kikolwa ekyatugerekerwa okufaananako n’ensolo endala naye omuntu kalimagezi tasobola kumala gazaala baana b’atasobole kulabirira. Obutafaanana na nsolo ndala, omuntu ye asooka kwetaakateeka n’alyooka akola ezzadde okusobola okulirabirira obulungi.

Obugunjufu bwetaagisa okukozesa amagezi ku bikolwa ebyatugerekerwa Katonda, obutaba nga nsolo ezitakozesa magezi. N’okuva mu mbeera nakyo kikolwa kigerekere (instinctive) mu bantu, n’ensolo endala, kyokka, obutafaanana nsolo ndala, omuntu aba n’obusobozi okufuga embeera ze ez’obuntu nga okunyiiga, okwegomba, n’endala, olw’amagezi g’alina.


Okumanya okw’Embagirawo (Intuition) 


Okumanya oba okutegeera okw’embagirawo kuyamba nnyo omuntu okukozesesa “amagezi aga bulijjo/amagezi agajjirawo” (common sense), naddala mu kumanya nti waliwo ekikyaamu ku muntu omulala era yetaaga kuyambibwa mangu ddala oba okumanya nti wakyayinza okubaawo obuvune. Kino tekiba kyebikiro naye ekyebikiro nakyo kiyinza okuba okumanya okwembagirawo.

Mu kumanya okwembagirawo, okufaanana ng’ebikolwa ebigerekere, tewali kusooka kulowooza wabula okutegeera kujjirawo. Okumanya okwembagirawo tekukontana na kikolwa kya kwefumiitiriza oba okwebuuza, kuba nakyo kikolwa kya bwakalimagezi ekiva mu magezi agawaggulu omuntu g’alina.

Ssinga obadde otambula ekiro nga waliwo ensolo oba omuntu omukyamu ali mu maaso gy’olaga “okwatibwa ensisi” oba “enviiri okukuva ku mutwe”, ekintu ekikulabula nti gy’ogenda mu maaso waliwo ekikyamu. Kuno kuba kumanya kwa mbagirawo, awatali kukirowoozaako oba okukiteekako ebirowoozo.

Omuzadde oba omuntu omulala yenna bw’asanga omwana nga yebase mu musana afuna okumanya okwembagirawo nti kirabika omwana ono mulwadde. Ate era bw’osanga omuntu atunula nga munakuwavu oba alabika ng’ali mu birowoozo ofuna okumanya okwembagirawo nti omuntu ono alabika alina ekizibu ekimujje mu mbeera ez’obuntu.

Ate ssinga oba ovuga emmotoka n’otuuka mu kkoona ofuna okumanya okwembagirawo nti eyo mu maaso oyinza okusanga ekikwekiise mu kkubo n’okendeeza emisinde n’obwegendereza. Okumanya okw’embagirawo kuno kukuyamba okukendeeza sipiidi ng’otuuse mu koona w’otolabira mu maaso gy’olaga.

Omuzadde oba omukuza asaanye ayambe omwana okukulaakulanya engerekera y’okumanya okw’embagirawo naddala:


• Okwewala obubenje

• Okwekuuma embeera ez’obulabe

Okumanya okwembagirawo kiraga nti waliwo ensibuko y’okumanya eya waggulu oluusi eteetaaga na kusooka kulowooza ku kintu. Bw’oba otambula n’osanga omukka ogunyooka mu nju ofuna okumanya okwembagirawo nti enju egenda kukwata muliro. Ssinga osanga omuntu ng’ayagala kubuuka okuva ku balukoni ku kalina ey’emyaliiro abiri ofuna okutegeera okwembagirawo nti aliko ekikyaamu ku bwongo kubanga ekikolwa ekyo kiyinza okuteeka obulamu bwe mu katyabaga.

Mu kumanya okwembagirawo mulimu n’olulimi lw’omubiri oba enjogezamubiri eyogerera mu bikolwa. Omwana omugunjufu ateekwa okuba n’obusobozi okumanya enjogezamubuli (body language). Ssinga osanga omuntu ng’akutte ku ttama, ofuna okutegeera okwembagirawo nti waliwo ekizibu ekiguddewo.

Singa osanga omuntuatakumanyi n’akugamba akutwareko mu motokayo, bw’oba omugunjufu wekengera era n’omuddamu n’obuntubulamu nga omwebaza kyokka okyalina gw’olinzeeko.

Okumanya okwembagirawo kusobozesa omuntu okuba omwegendereza n’okwekengera okusinziira ku ki kyalabye. Ssinga omusajja atali mufumbo asendasenda omukazi oba omuwala agende amukyalireko ewuwe olw’ensonga emu oba endala, omukazi omugunjufu afuna okumanya okwembagirawo ne yekengera nti oba oli awo omusajja oyo ayagala kumusobyako; wano omukazi oba omuwala ono ky’akola butagendayo oba kugendayo nga waliwo amuwerekeddeko.

Singa omusamize omusajja ayagala okufera omukyala oba omuwala amutuukiridde nga alina obuzibu n’amugamba yeyambule omwambulule ebibamba, omukyala ono, okujjako nga aliko ekikyaamu ku bwongo, aba afuna okumanya okw’embagirawo neyekengeraera mu kifo ekyo n’avaamu mangu nga bwe kisoboka oba okulaba engeri endala ey’okwetasa.