Enkoloboze ezigendagana(parallel lines)
Appearance
Gakuweebwa Charles Muwanga !! Enkoloboze ezigendagana (parallel lines).Zino oyinza okuziyita:
(i)emisisittale egigendagana
(ii)Layini ezigendagana
Abantu abagendana oba ebintu ebigendana by'ebyo nga kumpi buli ekimu kye kikola n'ekirala kye kikola. Bwe baba bakubi ba bikonde baba bagenkanya.
Nga tweyambisa akaodyo ako'okuzimba emiramwa nga tugaziya amakulu(semantic extension),bwe twogera ku nkoloboze ezigendagana, tuba tutegeeza nti enkoloboze zino ziri obuwanvu bwe bumu buli lumu okuva mu buufu bw'olulala ekitegeeza nti tezirisisinkana.