Enkulaakulana eyannamaddala
Enkulaakulana eyannamaddala y'enkwajja y'okutuukiriza ebiruubirirwa bw'abantu wamu n'okukuuma ebintu by'obutonde okusobola okutumbula mu by'enfuna wamu n'embeera z'abantu. Ekimiimo "enkulaakulana " kyaggibwa mu "Brundtlant report" eya 1987 ekwata Ku kukuuma ebibira. Endowooza eno bwe yakulaakulanyizibwa n'eryoka ekyusa obwa nga olwo essira ne liteekebwa Ku nkulaakulana mu by'enfuna ne mu bantu z'okukuuma obwebulungulule olw'emigigi egijja.
Ebyafaayo
[kyusa | edit source]Enkulaakulana ey’ensibo kiyinza okunnyonnyolwa ng’ekikolwa ky'okukuuma ebintu by'omuwendo eby'obutonde oba ebikolebwa abantu nga tusikiza ebintu by'obutonde ebiba bikozeseddwa n’ebyo bwe byenkanya omuwendo oba okusingawo awatali kwonoona butonde.[1] "Enkulaakulana eya nnamaddala" yasibukira ku mugendo gwa kaweefube w’Enkwata n’endabirira y’ebibira eyakulaakulanyizibwa ku ssemazinga wa Bulaaya mu kyasa ky'omusanvu n'ekyomunaana nga basinziira ku ngeri okusala embaawo gye kwali kusaanyaawo obutonde. John Evelyn yakinogaanya nti, Okusimba emiti kitwalibwe nga ekintu eky'obuwaze mu nsi yonna okusobola okukendeeza ku ngeri obutonde bw'ensi gye bwali busaanyizibwawo. Oluvannyuma lwa Rachel Carson okufulumya ekiwandiiko mu 1962 ekya "The developing environmental movement", yayogera nnyo ku nkwatagana wakati w'enkulaakulana mu by'enfuna n'engeri obutonde gye bwali busaanyizibwawo. Ebbanga bwe lyagenda liyitawo, Ekitongole ky’Amawanga amagatte mu nsi yonna ekikola ku nsonga z’obwebungulule n’enkulaakulana, kya yateekawo engeri ttaano ez'okukuuma obutonde era omuntu ataazitambulirangako yali wa kuvunaanibwa. Mu 1992, "The united Nations conference on environment and development" kyafulumya " the Earth chater" ekyannyonnyola engeri z'okukuumamu ebintu by'obutonde n'emirembe mu nsi yonna mu kyasa ky'abiri mu ekimu. Mu nteekateeka yaabwe wansi w'akawaayiro ak'abiri mu akamu wansi w'omutwe "Enkulaakulana eya nnamaddala", bannyonnyola nti enkulaakulana eno yalimu okukyusa okuva ku nkola enkadde mu by'enfuna okudda ku nkola empya mu nga kizingiramu okukozesa ebintu ebiri mu bwebulungulule okutuukiriza ebyetaago by'abantu okusobola okufuuka ku nkulaakulana eno. Bwe batyo waaliwo okukkaanya okulaba engeri obutonde gye buyinza okukozesebwamu obulungi okutuuka ku nkulaakulana eno. Ebbanga bwe lizze liyitawo, waliwo kaweefube agenze akolebwa okulaba nga buli kintu ekikolebwa mu nsi kikolebwa mu ngeri etadiibuuda buttoned ate ng’ereetawo enkulaakulana.