Enkyusabuzuba (Chemicals, Pure susbstances)

Bisangiddwa ku Wikipedia

Gakuweebwa CHarles Muwanga !!! Enkyusabuziba (Pure substances, chemical substances)!

Obuzimbe bw’ennnabuzimbe(the structure of matter) buva mu nzimba ennyangu okudda mu nzimba enzibuwavu (Complex) .

Mu nzimba enzibuwavu , obutinniinya obusingayo obutini bwekwasawaza okukola obutoffali obuddako obutono ate obutoffali ne bwekwasawaza(bond chemically) okukola molekyo eziddako mu butono ate molekyo nezekwasawaza okukola ebipooli (compounds).


Okwekwasawaza(to bond chemically) kitegeeza kwegatta okugenda mu maaso mu buziba bwa atomu ne kiviirako enkyukakyuuka ez’obuziba(Chemical changes) mu nabuzimbe (sabusitansi) ez’enjawulo. Ekigenda mu maaso mu buziba bwa atomu emu n’endala kye njise ekikyusabuziba = ekikolwa ekikyusa obuziba (chemical reaction).

Ekikyusabuziba kigenda mu maaso mu buziba oba mu atomu emu n’endala ne kiviirako endagakintu  ez’enjawulo okuva mu mbeera. “Okuva mu mbeera”, n’olwekyo kikozesebwa mu essomabirowoozo (psychology) okutegeeza “becoming emotional” ne mu essomabuziba okutegeeza “ekikyusabuzibaa” (chemical reaction).

Enkyukakyuka ez’obuziba ezijjawo wakati w'akaziba akamu n'akalala (atomu emu n'endala) zireetawo endagakintu(element) ezikwatibwako okuva mu mbeera ne kivaamu ekintu kijja. Embeera endagakintu(element) mwe zibadde nga ekikyusabuziba tekinnabawwo eba evuddewo.

Bw’oba okyayagala okwefumiitiriza ku kino kye nkugamba kuba ekifaananyi eky’omulengera (mental picture) ku butiniinya bw'akaziba(atomu). Waliwo obutinniinya bw'akaziba, obusirikitu ennyo Katonda bwe yakozesa okukola ebitundu bya atomu so ng’ate ne atomu(akaziba) eno nako kasirikitu aketaagisa enzimbulukusa okulaba.

Obutiniinya obusatu buno, akakontanyo, nampawengwa, n’akasannyalazo olwo bwonsatule ne busengekebwa okukola atomu ng’ebirimba n’ebirimba bya atomu ey’ekika ekimu bye bikola buli erementi okugyawula ku ndala. Waliwo erementi 118 ezisobola okusangibwa mu molekyo ze tumanyi. Molekyo entiniko ziyinza okukolera awamu ne zitondekawo molekyo ennene (macromolecules). Mu butuufu buli ky’olaba kizimbiddwa okuva mu kitono.

Bwe tutandika n’obutiniinya obutini ddala, tuyinza okukiraga mu mitendera okuva ku gusembayo wansi okweyongerayo waggulu. Gino gye mitendera gy’obuzimbe bwa nabuzimbe(structure of matter). Obutoffaali = obutundutundu obuzimba nabuzimbe(the building blocks of matter). Buno bulimu :


• Obutinniinya=Obutoffaali obutini ennyo (elementary particles)

• Obutonniinya =Obutoffaali obutono ennyo(subatomic particles)

• Molekyo (Molecule)

• Ebirimba bya Molekyo (macromolecules)

• Ensengekera y’obutaffaali (cell organelles)

• Obutaffaali (Cells)

• Emiwuula (tissues)

• Ebitundu by’omubiri (organs)

• Ensengekera (systems)

• Ebiramu (organisms)

• Ebibinja by’ebiramu (populations)

• Ensengekera z’embeera z’ebitonde (ecosystems)

• Entababiramu (biomes)

• Enkulungo (enjuba)

• Ensengekera z’enjuba n’enkulungo zazo

• Ebisinde (galaxies)

• Obwengula (Universe) ……n’okweyongerayo

Sabusitansi (Matiiriyo) yonna ey’ekikemiko eyitibwa sabusitansi etali ya mugattiko (pure substance). Sabusitansi zibaamu endagakintu n’ebipooli (elements and compounds). Kizibu nnyo okwawula mu sabusitansi etali ya mugattiko ebirungo byayo eby’enjawulo awatali kweyambisa “bukodyo bwa kikemiko obuzibuwavu” (complex chemical techniques)