Ennetoloola ya Kaboni (the Carbon Cycle)
Gakuweebwa Muwanga !! Kebera omulamwa "Kaboni"(carbon)
Kaboni ye nnabuzimbe(elementi) esangibwa buli wamu mu butonde bw’ensi, mu biramu n’ebitali biramu mwe yetoloolera. Kaboni asangibwa mu njazi, mu ttaka, mu semayanja oba mu mazzi ne mu buli kiramu. Bino wansi omuntu ow’omulembe guno byalina okumanya okukakasa nti Katonda buli kye yatonda yamala kukibaza era yakozesa ekibalo ekya waggulu , ekitasobola kubawo mu butanwa: (i) Kaboni ayingizibwa ebimera okuva mu nampewo. Mu nampewo kaboni aba yetabise mu ggaasi eyitibwa kabwokisaidi (carbon dioxide ) . Okuyita mu kiyitibwa kitangattika (photosynthesis) , kabwokisaidi asikibwa okuva mu mpewo wakati mu kitangaala ky’omusana okukola emmere y’ebimera okuva mu kaboni (carbon).
(ii) Kaboni ava mu bimera ate nadda mu nsolo . Okuyita mu kajegere w’emmere (food chains), kaboni aba ali mu bimera adda mu nsolo ezirya ebimera bino. Kyokka ensolo ezirya nsolo zinnaazo nazo ziyingiza kaboni ono okuva mu nsolo ze zirya kubanga ensolo ezo ziba zirya omuddo (ebimera) .
(iii) Kaboni ava mu bimera n’ensolo n’ayingira mu ttaka. Ebimera n’ensolo bwe bifa, emibiri gyabyo , emiti, n’ebikoola bivunda nebiteeka kaboni mu ttaka . Ebimu ku bino biziikibwa mairo ne mairo wansi mu ttaka oluvannyuma lw’ekiseera ekiwanvu ennyo (myaka bukadde na bukadde) ne bifuuka amafuta ga nakavundira(fossil fuels). (iv) Kaboni ava mu biramu n’ayingira nampewo. Buli lw’ofulumya omukka (exhale), oba ofulumya ggaasi ya kabwokisaidi (KW2) mu nampewo . Ensolo n’ebimera bifulumya kabwokisaidi okuyita mu kifulumya (respiration)
(v) Kaboni era ava mu mafuta ga nakavundira okudda mu nampewo amafuta gano buli lwe gokyebwa. Abantu bwe bookya amafuta ga nakavundira (fossil fuels) mu makolero, amabibiro g’amasannyalaze, emotoka, loole ne masiini endala , kaboni asinga ayingira nampewo mu bwangu nga ggaasi ya kabwokisaidi . Buli mwaka , obuwumbi bwa ttani za kaboni bufulumizibwa okuyita mu kwokya amafuta ga nakavundira. Ku bungi bwa kaboni obuyingizibwa okuva mu mafuta agookyebwa , ekitundu kiyingira mu nampewo ate kaboni asigadde n’amerungukira mu mazzi g’ennyanja.
(vi) Kaboni ava mu nampewo n’adda mu ssemayanja . Semayanja n’ebikko ebirimu amazzi (water bodies) ebirala , biyingiza kaboni omu okuva mu nampewo.