Ennima ey'obutonde

Bisangiddwa ku Wikipedia

Ennima ey'obutonde[kyusa | edit source]

Ennima ey'obutonde ekwata ku kulima okutaliimu kukozesa ddagala erikolebwa okutta ebiwuka ebitawaanya ebirime oba ebigimusa ebikoleddwa obukolebwa. Ekigendererwa ekikulu ky'ekyomulimi okuwa obutonde ekyo kyaggyira ddala obutereevu my butonde. Omulimi akkiririza mu kukozesa obutonde ng'abweyambisiza wamu n'ebyo ebiva mu ttaka, entambuza y'amazzi wamu n'abantu abetoolodde ennimiro. Omulimi akolera mu butonde okukolerera obutonde nga yeeyambisa obutonde, ng'assa ekitiibwa mu buli kintu ekiburimu mu nnima ey'obutonde. Ekigendererwa ekikulu mu nnima eno kwe kuwa obutonde ekyo kyonna kye bwetaaga awatali kukyusaamu.

Ebintu bitonotono ebirina okutwalibwa nga bya mugaso mu nnima ey'obutonde. Ekisooka ly'ettaka wamu n'ebiriisa byalyo ebiva mu bintu by'obutonde. Omulimi alina okussaayo omwoyo kw’ebyo by’aba ateesezza okukola mu bulambulukufu bwabyo wamu n'okufaayo okulabirira ettaka.

Kya mugaso okussa ebigimusa eby'obutonde mu ttaka buli lunaku obutayosa era nga kyangu okukola. Omulimi kye yetaaga kwe kutunuulira obutonde ibumwetoolodde omuli ebitundu ebisaawe, ennimiro wamu n'effumbiro. Omuddo ogusaayiddwa, ebisaaniiko ebivunze ebiva ku bimera n'emiti, ebisaaniiko ebiva mu ffumbiro byonna bisobola okutabulwa awamu okusobola okukola ebiriisa eby'obutonde ebyetaagibwa mu nnimiro. Okusobola okufuna amakungula agasinga obulungi, ettaka lyo ligattemu ebintu ebyo ebiva mu butonde.

Ekintu ekirala ekikulu ennyo ekirina okufiibwako mu nnima ey'obutonde bye bimera n'emiti ebinaakungulwamu. Kigambibwa okuba nti kya mugaso okusiga ensigo oba okusimba emiti emito egyo eginaatukana n'embeera y’obudde wamu n'ekika kyettaka. Kino kijja kukekkereza obudde nga tojja kwetaaga kuteeka nnyo birowoozo ku nkula yaabyo olw'ensonga nti obutonde nga bwo bujja kubiyamba okukula mu ngeri eyeeyagaza.

Ebibala n'enva endiirwa ebiva mu kukozesa ebintu eby'obutonde kigambibwa okuba nga bibeera biwoomu era nga n'ebiriisa ebifumbekeddemu bingi ddala. Kookolo azuuliddwa nga bukyali ebiriisa bino bisobola okuyamba okumuziyiza olw'ensonga nti emmere erimiddwa n'ebintu eby'obutonde emalawo omukisa gw'okuliiranga ebintu eby'obulabe ng'eddagala ly'ebirime, n’ebigimusa ebiyamba ebirime okukula amangu; nga bwe kiri nti mu nnima ey'obutonde temuba kukozesa ddagala ttabule. Eno y'emu ku ngeri ezisinga obulungi okusobola okubeera ng'omubiri gukola bulungi, gweyagaza era nga mulamu.

Ebirungi ebiri mu nnima ey'obutonde[kyusa | edit source]

Ennima y'obutonde y'enkola esobozesa okuggyawo obulabe obw'okulumbibwa sukaali, endwadde z'omutima wamu n’endwadde endala era ng'ekuwa bulungi omukisa gw’obubeera ng'oli kumpi n'obutonde wamu n'okufuna mu bujjuvu obulamu obuggya okuva mu butonde mwe nnyini. Eno engeri era ekekkereza ensimbi ezissibwa mu bulimi. Ennima y'obutonde eyamba okukuuma amazzi olwobutakozesa biragala, eyamba okuziyisa ekiriisa ekya Nitrogen obutaggwa mu ttaka. Efuula ettaka okubeera nga ddamu bulungi era nga lirimu ebiriisa, okufuna ebibala ebituukana n'omutindo gw'eggwanga. Ebimera ebitaliibwa nga ppamba era asobola okulimibwa oobulungi mu nnima ey'obutonde.

Ennima ey'obutonde erina emigaso emikulu ebiri:[kyusa | edit source]

Ogusooka ekukkiriza wamu n'aboomu makaago okukendeeza ku bungi bw'eddagala eririirwa mu mmere buli lunaku. Okulya ebibala n'enva endiirwa ebituukiridde kikendeeza ku bungi bw'eddagala ery'obutwa lye tulya mu bulamu bwaffe obwa bulijjo.

Ogw'okubiri ekuyamba okukola omulimu gwo mu kukuuma obutonde bw'ensi eri eddagala ery'obutwa. Ennima ey'obutonde kitegeeza nti tojja kubeera ng'okozesa eddagala eritta ebiwuka wamu n'ebigimusa ebitundibwa mu katale ebiyamba okwongera ku bulamu bw'ebirime. Mu kifo kya bino ojja kuba ng'okozesa ebintu ebirala eby'enjawulo okukuuma ebirime nga biramu era n'okuziyiza ebiwuka okusaasaanira ku bimera ebirala.

Otandikawo otya ennima ey'obutonde ng’oyita mu mitendera emyangu?[kyusa | edit source]

Waliwo emitendera mitono era emyangu gy'osobola okweyambisa okutandikawo ennima eyiyo ey'obutonde.

Sooka okebere ettaka lyojja okubeera ng'okozesa mu nnima ey'obutonde. Ettaka eddungi ate nga ddamu terijja kukuuma bukuumi bimera byo nga biramu kye kyokka wabula era lijja kuliikiriza n'ebiriisa eby'enjawulo. Osobola okugula ebikozesebwa ebibyo awaka by'osobola okukozesa okukebera ettaka lyo mu budde obukwanguyira. Ekirala osobola okusindika ekitundu ku ttaka lyo eri wofiisi etwala eby'obulimi mu kitundu kyo okusobola okulikebera.

Eky'okubiri kola enteekateeka y'ennimiro yo, nsigo ki na miti ki emito gy'osobola okusimba. Ku kino yongerako ne ku mutindo gw'ettaka lyo ng'ozuula bimera ki ebituukana n'ekika ky'ettaka lyo. Londa ebimera ebisobola okugumira embeera y'obudde, ettaka, amazzi wamu n'ekitangaala. Gezaako okugula endokwa ezisobola okulimibwa nga tokozesezza bigimusa oba ddagala lya birime. Kino kijja ku kuyamba okufuna emmere etaliimu ddagala lya butwa.

Eky'okusatu, tegeka ebintu okuva mu butonde ne nnakavundira eby'okukozesa mu nnimiro ey'obutonde ng'okuaanya eebisaniiko by’oggye mu nnimiro ne mu ffumbiro. Kino kijja kuyamba obutonde bw'ensi nga kikendeeza ku kuziika ebintu ebitalina mugaso mu ttaka, nga n'ekyokubiri kya bwereere ekiteetaagisa kussaamu nsimbi yonna okukikola.

Ekiddako, kola enteekateeka ku ngeri y'okufukiriramu ebirime ng'osinziira ku mbeera y'obudde n'ekiseera nga bwe kiri mu mwaka. Kiba kiirungi okufukirira ebirime mu budde obw'okumakya okusinga ekiro olw'ensonga nti embuyaga eba ekunta mpola ku makya era nga n'omukisa gw'ebimera okuvaamu amazzi nga gambuka mu bbanga guba guli wansi nnyo. Ekirala gezaako okufukirira emirandira okusinga ebimera.

Ekiddako, gulayo ebigimusa by'obutonde olwokuba nti ebirime ssi byonna nti bibeera byetaaga ebigimusa; ebiwuka ebirungi ebigasa ettaka bisobola okukuyambako mu nnima ey'obutonde. Mu kaseera kano weetaaga okugula ebintu ebikozesebwa okugeza ebitiiyo, giraavu, ebifukirira n'ebirala. Osobola era n’okwewola ebintu bino bikuyambeko mu nnima ey'obutonde.

Ekiddako, tandika okugula ensigo oba osobola okuggya mu nva endiirwa oba ebibala by'olina n'otandika okubisimba nga bwe wateekateeka era nga n'ennimiro ewedde.

Ekiddako, tandika okukoola. Guno gwe mulimu ogusingayo obwangu. Osobola okuyambibwako abaana bo bw'oba obalina oba n'oyita abaana okuva ku mulirwano okukuyambako mu kino.

Ekiddako osobola okutegeka okubikka ennimiro yo ng'okozesa omuddo omusale, ebiti ebitemeeteme, ebitiititi ebivudde ku bimera n'ebirala. Kya migaso nnyo okutegekera ennimiro yo ekisiikirize ekirungi ate era n'okutegeka engeri ennungi ey'okusobozesaamu ebimera okufuna omusana ogumala.

Ekisembayo nga buli kimu kiwedde, kibeera kiseera kya kulabirira wamu n'okukuuma ennimiro buli lunaku olukya. Osigaza obuvunaanyizibwa obw'okukutulako obutabi n'ebikoola ebiteetaagisa ku bimera, okubirambula okulaba oba nga tewali biwuka oba bisolo bya mu ttaka bibirumba era n'okuggyamu omuddo mu nnimiro yo obulungi ennyo. Njagala nnyo okukozesa ebimu ku bintu ebiri ku muko guno okwanguya ennima ya buli lunaku. Kya nkizo okwagala ennima ey'obutonde okusobola okufunamu ebibala ebirungi era ebijjudde ebiriisa. Beera musanyufu era weeyongere okulima.