Jump to content

Ennkulakulanna eya nnamaddala

Bisangiddwa ku Wikipedia
NNYANJA NALUBAALE

Ennkulakulanna eya nnanaddala mu Uganda

[kyusa | edit source]

Ekiwandiiko ku nnkulakulanna eya nnamaddala. Ekiwandiiko kino kiyitiddwa “Ennkulakulanna eya nnamaddala” Kiwandiikiddwa Mukyala Joyce Nanjobe Kawooya

Omu ku batendeesi b’e kibiina kya WWF(World Wide Fund for Nature) LVCEEP (Lake Victoria Environment Education Program) ekissomesa okukuuma obutonde bw’ensi mu bitundu ebisangibwa ku mugga Katonga oguyyiwa mu njanja Nalubaale. Omukyala ono era y’ omu ku bakulira ekibiina ekiyitibwa ECO Partner Africa nga kisangibwa mu Masaka. Y’omu ku bakulira Essomero ly’a Kaswa Parents’ School mu Masaka. Y’akulira ekibiina ekiyibwa Concerned Women Farmers Organization (COWO Kaswa Zinda Centre) Y’omu ku bakayungirizzi b’a RCE greater Masaka on ESD ( Regional Centre of Expertise on ESD) Y’omu ku batuula ku lukiiko olukulu olwa UCSD (Uganda Coalition for Sustainable Development).

Mu 'kiwandiiko kino tuggenda kutunulira nnyo ku nsibuko y’ Ennkulakulana eya nnamaddala. Bwettujukira ebyayitta, osobola okugamba nti endowooza eno ey’ennkulakulana eya nnamaddala eviira ddala ku ssematalo owokubbiri ngayakagwa. Kyazuulibwa nti amawanga gano agaali mu ntalo zino gakosebwa nnyo obwavvu n’enjala. Kino nno kyaleetera abakungu b’A mawanga amagatte mu nsi yonna,okutuuza nekiiko ezitali zimu ,okusala amagez ku ngeri ki obuzibu bunno gyebuyinza okuvunikibwa. Watandiikibwawo ebiwayi byensi yonna ebyenjawulo okutandiika okwekkenennya n’ikuzuula engeri gyebayinza okwanganga era nokuvunuka ebizibu bino. Ebimu ku biwayi bino, mwe mwali kyebayitta International Monetary Fund(IMF) nekirala kyebayita (World Bank Group)(WBG) byonna nga bigendereera okuyamba okwanganga obuzzibu bwo’bwavvu n’ebbula lye mmere mu nsi yonna. Ate era mu Myakka gy’enkaaga waliwo Alipoota ezenjawulo ezzava mu ntuula ezenjawulo mu nsi yonna ate zzino nga zogera ku ngeri obutonde bw’e nsi gy’e bwali bwolekedde okusaannawo nga kireetebwa engeri abantu gy’ebaali bakozzessamu obubi obutonde bw’ensi nga bagenderera okwekulakulanya n’okulakulannya amawanga gabwe. Naye ate ng’ enkola eno bwegenda mu maso obutonde bwensi yonna bubba bwakugwawo, kubanga abantu ababukozesa beyongera bweyongezi ate nga bwo tebweyongerako. Mu mwaka gwa 1972 ekibiina kya’mawanga amagatte nate era kyatuuzza olukiiko taba mirukka, olwatuula mu kibuga Stockholm okuteesa ku bizibu ebikosa obutonde bw’ensi mu nsi yonna. Era mubyavva mu kuteesa kuno mwe mwali okutandiikawo ekibiina ekiyitibwa” United Nations development Program (UNDP)”kino nno nga kyabyannkulakulana mu nsi yonna.

Ate mu mwaka gwa 1977 olukiiko olulala lwatuula mu Tiblisi. Era kyassalibwao enkulakula eyungibwengako n’byenjigiriza ku buttonde bensi, awo nno wakolebwaawo ebbaggo erilambulula enkola enno lyebaayiita "Tblisi Declaration" Ebbaggo lino likatiriza ebyenjigiriza ku buttonde bwensi nti bussomesebwengako mu buli ssomo mu matendekero, buyigirizibwenga awatali kkomo mu bulamu bwomuntu,kino kino kireterenga omuntu okulowozanga ku buttonde bwensi bwanabanga y’ekulakulannya ate era kinamusobozesanga n’okugonjola ebizibu ebiggwa mu kowe eryo. Ebbaggo lino nno lijumbiddwa nnyo nga liyungibwa mu bye’njigiriza by’Amawanga gonna, ekyokulabirako wano mu Uganda watekebwawo ne kye bayita “The Uganda strategy to implementing education for sustainable development”nga mu kino nno kwe kuteeka mu nkola enjigiriza enno ate n’okuwa obuvunnanyizibwa buli abakwatibwako ebyenjigiriza ku buli mutendera , okuvira ddala mu massomero ate ne mu gavumenti era ne mu bi tongole by’enjigiriza. Mu mwaka gwa 1987 Alipoota ezakazzibwako “Bruntland Commissions final report. Our Common Future. Zzakatirizza ennkulakulanna eyannamaddala mu nsi yonna. Era zannyonnyola amakulu g’e nnkulakulanna eyannamaddala nga nabuli kati bwe tukyagitegeera nti;

”E nnkulakulanna eyannamaddala y’ nnkulakulanna esobozesa abantu abensangi zinno okukola ku byetaago byabwe naye ate nga tebatatagannyiza buttonde bwansi kino kisobozese nabalija mu myaka egirija mu maso nabo okubusangawo nabo nebasobola okukola ku byetaago byabwe.”

E nnkulakulanna eyannamaddala buvvunnannyizibwa bwa buli muntu mu nsi yonna nga mwemuli abakyala n’baami, abantu bonna mu nzikiriza nobuwangwa bwabwe okulaba nti ate enkulakulana enno tekossa buttonde bwa nsi. Nti a te era nebwewabaawo ennkulakulanna mu byenfuna z’bantu, obutonde bwensi, embeera zabantu abagirimu, birowoozwbwengak o nnyo kisobozese n’abantu bennyini okutwala obuvvunnannyizibwa okulwanirira obutonde bwe’nsi nga bekulakulannya. E nnkulakulanna enno yayawulwamu emittindo esatu. Omutindo ogukwatta ku byennfunna, Omutindo ogukwatta ku’mbeera z’abantu,gamba eby’obulamu n’ebyenjigiriza ate n’ Omutindo ogukwatta ku buttonde bw’ensi. Mu kinno nga baalaga nti tewali nnkulakulanna esobola kubaawo nga emitindo egyo esatu egiragiddwa tegitambulidde wamu Wano nno bwotunulira ebyogeddwako engeri gyebirambikiddwa,olaba nga byonna biggwa mu bya bufuzi. Era nti singa kigobererwa emitindo gino ne gitambulira wamu wabeerawo okussa ekitibwa mu buttonde bw’ensi, emigga, enyanja, nembalama zazo nebyo byanna ebisangibwamu biba bikumibwa bulungi . Wabeerawo enkulakulana mu by’enfuna byegwanga ate era wabeerawo enkulakulana ne mu bantu benyinni, nti ate era wabeerawo n’obufuzi obwo bwenkannya. Mu mwaka gwa 1992 nate era olukunganna ttabamiruka olw’Amawanga Amagatte lwatuula, luno lwamaannyika nnyo nga Earth Summit era lwatuula mu Rio de Janeiro. Lwafulumya ebbaggo elyatikirivu lyebaayitta Agenda 21 enno nga yenteekateeka ye’nnkulakulanna eyannamaddala. Mwalimu ebintu bibiri ebyaali ebyenjawulo okuvva ku nkiiko zonna ezaali zibeerawo. Ekisooka olutuula lunno lwetabwamu Amawanga manji nnyo, ekyokubbiri nti enteekateeka eyateesebwaako etekebwe mu nkola nga etuuka ku buli mutendeera gwe by’obufuzi okuvvira ddala wansi okutuuka ku nsi yonna. Era mu bbaggo lino ekitundu kyalyo ekya 36 kiragga nti ebyenjigirizza nabyo bisimbibweko nnyo essiira. Eby’Enjigiriza bikulu nnyo mu nnkulakulanna eyannamaddala ate ne mu kutumbula abantu okwanganga ebyekuusa ku buttonde bwe’nsi ne’ nnkulakulanna. Wano ng’otwalidemu ebyenjigiriza mu massomero ate n’ebyenjigiriza mu bantu okusobola okukyusa endowooza zabwe nti bebalina okwanganga ebintu byonna ebikwaatagana ne’ nnkulakulanna eyannamaddala. Nti ate era kikulu nnyo okusasannya ebyogerwa ku nnkulakulanna eyannamaddala, emigaso, endowooza, enkozea ne neyisa kisobozese abantu bonna okwetaba mu nnkulakulanna eyannamaddala nga basobola n’okugikubagannyako ebirowoozo. Awo nno mu mwaka gwa 2000 ne’wateekbwaawo enkola ezzokugobererwa mu nnkulakulanna mu nsi yonna zebayiitta The United Nations Millenium Goals Enkola enno yalambika ebigendererwa okutukibwako mu nnkulakulanna n’ebiseera byabyo.Mwalimu emitindo munnanna egykugobererwa, omwaali okukendeeza ku obwaavu, okukendeeza ku kufa kwa’baana mu ssannya, okukendeeza ku mukennya, okukendeeza okusasannyaomusujja gw’Ensiri ate nokutekawo ennkulakulanna eyannamaddala mu banga lya mya;kakumi,awo kiraga nti okutuuka mu mwaka 2015.