Jump to content

Ennyanja George mu Uganda.

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Ennyanja George oba Ennyanja Katunguru nnyanja esinganibwa mu Uganda. Erina obunene bwa sikweeya kiromita 250, nga zino za mayiro 97 era nga kitundu ku zimu era nga y'emu ku nnyanja ezisinga okuba ez'amanaayi ku semazinga wa Afrika, nga wadde tebagitwala kubeera ezimu ku zisinga okubeera ez'amaanyi era ezisinga. Nga ennyanja endala mu kitundu kino, baddamu okugituuma erinya oluavnnyuma lw'omu kubaali mu famire y'obwakabaka bwa Bungereza, mungeri eno Omulangira George, eyafuuka Kabaka George V. Ennyanja George evva mu bukiika kkono bwa bugwanguja ng'egenda mu Nnyanja Edward okuyita mu mukutu gwa Kazinga Channel.

Ebitundu eby'etolodde ennyanja kuliko abantu aby'enjawulo nga Abatooro, Abasongora, Abanyampaka n'Abanyankore, ssaako n'abalala. Amawanga gano gonna kumpi googera enimi zeezimu era ezifanagana nga batera okuziyita Orunyakitara. Ekigambo Akatunguru kitegeera akatungulu ng'era kikozesebwa abantu bano bonna ab'enjawulo. Ng'era kino kyavirako ennyanja eno okubeera nga eyitubwa Katunguru olw'okubeera nga yakula nga akatungulu mundabika yaayo.

Omulambuzi okuva mu ggwanga lya Wales Henry Morton Stanley yeeyali omuva Bulaaya eyasooka okulaba ennyanja eno mu 1875, oluvannyuma lw'okugoberera entambula y'omuga Katonga okuva mu Nnyanja Nalubaale ku lugendero lwe lweyaliko olw'okutabaala semazinga wa Afrika. Mu kusooka yali alowooza nti kyali kitundu ku Nnyanja Albert, yagituuma Beatrice Gulf.[1] Entegeka z'okulambula zaasazibwaamu olw'okubeera nga waliwo okutiisibwa tiisibwa kw'olutalo olwali luva mu lubiri lwa Bunyoro. Mukulambula kwe okwali okw'okubiri mu kitundu kino, mu 1888 mu biseera by'olugendo lwa Emin Pasha lweyaliko olw'okulaba enkula y'ebitundu, Stanley yazuula Ennyanja Edward, era bweyakizuula nti zino zaali nnyanja bbiri ezaali zaawukana, n'atuuma Ennyanja George erinya lyayo ly'erina kati.

Emiga n'ennyanja za Uganda. George ye nnyanja esinga obutono nga etunudde mu bukiika ddyo bwa buvanjuba bw'Ennyanja Edward

Ebijuliziddwamu[kyusa | edit source]

  1. Newman, James L.(2004) Imperial Footprints, Potomac Books, Template:ISBN, p. 121