Jump to content

Ennyanja Nkugute

Bisangiddwa ku Wikipedia
Ennyanja Nkugute

Ennyanja Nkugute, nga erinya lyayo eddala eyitibwa Ennyanja Rutoto, nnyanja esinganibwa mu Disitulikiti ya Rubirizi, mu Uganda. Esinganibwa mu kibangirizi ekyatandikibwawo omuliri ogwali guva mu nsozi mu Bunyaruguru, kiteberezebwa nti ennyanja eno yakolebwa emyaka kumpi 12,000egiyise nga kino kyali kiva ku muliro ogwali guva munsozi. Kino kyafuuka kifo ekikolebwamu enzikiriza z'ebintu ebitategerekeka wamu ne nono z'obuwangwa bw'abantu, nga basinziira kungero ezetolodde okutandikibwawo kwayo wamu neneeyisa.[1][2]

Endabika yaayo n'ekikula[kyusa | edit source]

Ennyanja Nkugute eteberezebwa okubeera nga obuwanvu bwayo okudda wagulu erina fuuti 4645. Engeri gyeyakulamu yayagala okwefanannyiriza ennkula ya semaziga wa Afrika, nga kino kyavirako ne banaansi abasinga okugiyita ''Ennyanja Afrika". Ensalo salo z'ennyanja eno osobola okuziraba nga oyimiridde ku busozi obugiriraanye.[3]

Okutandika kw'ennyanja eno kwekuusa ku muliro ogwali guva mu nsozi mu kibangirizi kya Bunyaruguru, nga guno gwalekawo ekinya, nga kino kyajuzibwa amazzi g'enkuba oluvannyuma lw'emyaka enkumi n'enkumi.[4]

Engero n'enono z'obuwangwa[kyusa | edit source]

Ennyanja Nkugute kibadde kifo ekikolebwamu enoeo z'obugwanga n'okunyumizibwako engero ezitategerekeka nga zigabanibwa abantu b'omubitundu eby'etolodde mu byaalo ebiriraanyewo. Okusinziira ku zimu ku nnono z'obuwangwa, erinya '' Nkugute'' mu lulimi Orunyaruguru, kitegeeza ''kumira'', ekiraga obutabanguko bw'ekikula ny'ennyanja ennyanja eno n'okubeera ng'erina omululu gw'okumira abantu.[2]

Engero zigamba nti ennyanja eno yali esobola okumira omwaka omulenzi n'omuwala buli mwaka, ng'era kino yakikola ng'abantu tebeetegese kuba ky'abagwako nga buwi. Embeera eno yagwa ngawo mu kaseera abaana webaali banyumirwa ng'okuwugira mu nnyanja eno, nga beesingana nga tewali abayamba, nga bali mukulekaana era nebabamira oluvannyuma lw'okubira mu mazzi. Kuba n'abo abaali bagezaako okubataasa abo abaali babira, nga nabo entuuko y'emu ebatukao. Engero zino ziretedde ekifannanyi ky'ennyanja eno okubeera ekiso ekitategerekeka era eky'obulabe.[5][1]

Obulambuzi n'abantu abagyetolodde[kyusa | edit source]

Ennyanja Nkugute efuuse ekimu ku bifo ebyetanirwa abalambuzi, nga wadde abantu abeetoloddewo ekintu kino tebafunamu nnyo mu kisaawe ky'obulambuzi. Abalambuzi batera okukyalira ennyanja eno okusobola okufuna enkula yaayo wabula n'ebintu eby'etoloddewo. Wabula olw'okubeera nga tewali bisulo nga woteeri mu kitundu kino, kiremeseza abantu abagyetolodde okusobola okufuna mubujuvu mu bulambuzi buno.[2]

Emirimu gikoleddwa okusobola okukuuma obuyonjo bw'ennyanja eno wamu n'okukuuma eby'obugagga byaayo. Ab'obuyinza mu kitundu kino baawera emirimu egy'enjawulo okukolebwa ku nnyanja eno gamba nga okwolezaawo engoye, emmotoka okukuuma amazzi nga mayonjo. Okuvuba tekukolebwawo nnyo olw'okuba tewali by'enyanja.[1]

Abatuuze ba Bunyaruguru, nadala eggwanga lya Banyaruguru, batwala Ennyanja Nkugute okubeera ekintu eky'omugaso eri obuwangwa bwawe. Abantu okuva mu ggwanga lya Banyaruguru balina enkolagana ey'amaanyi n'abantu okuva mu ggwanga ly'Abaganda, wamu neneeyisa yaabwe ey'obuwangwa ssaako n'ebikolwa bisikiriza obuwangwa bw'Abaganda n'Ab'eKinyankole.[6][1]

Laba nebino[kyusa | edit source]

Ebijjuliziddwamu[kyusa | edit source]