Jump to content

Ennyanja Nyabihoko

Bisangiddwa ku Wikipedia
Ennyanja eno eri mu kyalo Kyafola mu Disitulikiti ye Ntungamo. Kiteberezebwa nti mu kusooka yali kimu n'Ennyanja Kyafola, naye oluvannyuma nebyawukana .

Ennyanja Nyabihoko nnyanja esinganibwa mu Disitulikiti y'e Ntungamo, nga eriko obuwanvu bwa kiromita 372 mu bukiika kkono bwa Kampala, Uganda. Egabanibwa amagombolola okuli Nyabihoko, Bwongyera, nga gombi gali mu Ssaza lya Kajara, ate Rubaare mu Ssaza lya Rushenyi. Ennyanja eriko obugazi bwa sikweeya mayiro bbiri n'obuntu 31.[1][2]

Engero n'engeri gyeyatondebwawo

[kyusa | edit source]

Okusinziira ku ngero z'omukitundu, Engeri Ennyanja Nyabihoko gyeyatandikawo yeekuusa ku bikujuko eby'enjawulo Mutuumo, Omuhima omututumuvu nga yali mulunzi wante. Kigambibwa nti Mutuumo yali alina akayana agaalina amaanyi gw'obuwanga ng'era nga kano kalina laangi eziwerako, nga eno bakatonda baali baamulabula obutagirya, wadde nga ng'efudde mungeri etategerekeka. Wabul bweyali agenze mu zimu kungendo zze e Rwanda, akayana kano kaafa, nga abamu ku bakozi ba Mutuumo abaali abayala, nga yagaana okusaba kwa mukyala we, yasalawo okulya akayana kano. Kino kyatabangula okulayira kwa famire era nekunyiiza ne bakatonda.

Kino kyavirako ba katonda okubonereza Mutuumo ne famire ye nga batonyesa enkuba eyali tekya okumala enaku 28. Amataba agavaamu gaakyusa ettaka, nga muno mwemuli ne nimiro za Mutuumo, okutuuka ookufuuka kati eyitibwa Ennyanja Nyabihoko. Wadde nga Mutuumo yawonna, mukyala we, muwala we abakozi bbe wamu n'obuggaga bwe byonna byasaanawo. Wabula mutabani we eyali talina buyinza era nga tebamulabawo nga yali abeera mu bakozi, ye n'awona.[1][2]

Ky'eraga ku by'obuwanga

[kyusa | edit source]

Ennyanja Nyabihoko erina kinene nnyo ky'eraga ku by'obuwanga n'ebyafaayo by'ekitundu kino. Olwaleero, ennyanja eno g'emaka g'ekifo ekiyitibwa Mutuumo Island Resort, nga kino kirina kijukiza eri omusajja oyo atwalibwa okubeera omuzira. Ku kazinga kano ebyasigalira by'ennyumba eyali ey'amaka amakadde ag'Abanyankole gy'ogasingaana, ekiwa abalambuzi okwelolera ebimu ku by'obuwangwa by'ekifo kino ebigagga.[3]

Obulambuzi n'emirimu egikolebwaayo

[kyusa | edit source]

Ennyanja Nyabihoko esikiriza abalambuzi abalina okwagala eri obulungi bw'obutonde wamu n'ekifo okubeera nga kikakamu era nga tewali birekaana nabiyinza kubamalako mirembe. Abalambuzi basobola okupangisa amaato oba amaato agabulijo okusobola okulambula ennyanja, ekibawa akakisa k'okulaba ku butonde nadala obw'ebisolo n'ebinyonyi ebibeera mu kitundu kino. Ebimu ku binyonyi ebisinganibwa mu kifo kino ye ngaali erina engule ey'ekikuusikuusi, kamunye evuba eby'enyanja n'ekinyonyi ekyakula nga embaata z'okumazzi.[2]

Okusoomozebwa n'okulabirira ekifo

[kyusa | edit source]

Ennyanja Nyabihoko fesingaana okusoomozebwa nga, okukendeera kw'eby'enyanja nga kiba ku kusaanawo kw'entobaza ez'etoloddewo ekiva ku kulimirawo okwabuli kiseera. Emirimu gy'okulaba nga enkola y'obutonde bw'ennyanja eno wamu n'okutumbuula engeri y'okuvubamu kyamugaso nnyo eri endabirira y'ekifo kino okumala akaseera.[3]

Ebire n'ebimera ebisinganibwa okwetoloola Ennyanja Nyabihok

Okutuukawo

[kyusa | edit source]

Okutuuka ku Nnyanja Nyabihoko, abatambuze basobola okukozesa baasi oba emmotoka ez'obwa nnanyini okutuuka e mu tawuni y'e Ntungamo, oluvannyuma ne bagoboera oluguudo olugenda e Rwashamaire. Okuva awo, kikutwalira olugendo lwa kiromita10 okutuuka ku nnyanha eno.[1]

Laba ne bino

[kyusa | edit source]

Ebujjuliziddwaamu

[kyusa | edit source]