Jump to content

Ensengekera y'ekiremesandwadde(the immune system)

Bisangiddwa ku Wikipedia
Primary immune response

Ensengekera ey’ekiremesandwadde

    (the Immune System)

Okusinziira ku Muwanga , ensengekera ey’ekiremesandwadde oba ensengekera ey'ekiziiyizandwadde oba ensengekera ea kirwanyisandwadde (the immune system) ekugira omubiri obutamala kosebwa buwuka buleeta ndwadde nga bakitiiriya ne vayiraasi. Ensengekera ya kiremesandwadde erimu obuzimbo bw’ensanjabavu(lymph nodes) n’obutaffaali obulala obw’enjawulo obulawuna ebitundu by’omubiri gwo okulwanyisa obuwuka obuyinza okuleeta endwadde nga bubadde bulumbywe.

Obutaffaali obw’ekiremesandwadde(immune cells) butondeka ebizimbamubiri(proteins) eby’enjawulo ebiyamba okukuuma omubiri nga gubadde gulumbiddwa obuwuka obuleeta endwadde.