Jump to content

Ensengekera z'Ebitangattiso

Bisangiddwa ku Wikipedia

IALI NGO has been authorized by terminologist Charles Muwanga to post articles from his Luganda scientific writings to Luganda Wikipedia for free public consumption.

Innerworkings of a thylakoid


"Ensengekera z’ebitangattiso" (Photo-systems)


Molekyu ez’obutereke bwa langi (Pigment molecules) ezisengekeddwa nga ensengekera z’ekitangaala (photosystems) ze ziyingiza (zitega) ekitangaala ky’enjuba mu kololopulaasi (chloroplast). Ensengekera z’ebitangattiso (Photosystems) bulimba (clusters) bwa kitangaala obuyingiza obutereke bwa langi obw’ ekitangaala ky’enjuba nga bwegasse wamu ne molekyu nga obukonta (proton) eza vatomu eya ayodologyeni (hydrogen ion), enzayimu, enzayimu ez’awamu (coenzymes), ne sayitokiroomu (cytochromes).

Buli nsegekera ya kitangattiso (photosystem) erimu nga molekyu 200 eza pigimenti eya kiragala eyitibwa kerofiiru (chlorophyll) ne molekyu nga 50 ez’ekibinja kya ky’obutereke bwa langi (pigment) ekirala ekiyitibwa keratenoyi (carotenoids). Mu kifo ekibeeramu okutomeggana eky’ensengekera y’ekitangaala (photosystem), amasoboza ag’ekitangaala gakyusibwa ne gafuulibwa amasoboza aga kemiko (chemical energy).


Ebiramu bingi ku Nsi, omuli n’ebimera byonna ebyakiragala, byegattisa (synthesize) emmere yabyo okuva mu molekyu ennyangu ennyo nga kabonbbiri-okisayidii (carbon dioxide) n’amazzi. Kino okubaawo ekiramu kyetaaga amasoboza (energy) era amasoboza gava mu kitangaala. Mu bimera ebya kiragala, amasoboza ag’ekitangaala (Light energy) gategwa mu keropulaasi (chloroplast) ezisangibwa mu butaffaali bw’ebimera ne bukozesebwa okwegattisa (to synthesize) molekyu za ggulukoosi (glucose molecules), eziragwa nga C6H12O6. Mu kikolwa kino, okisijeni (O2) afulumizibwa nga kazambi (waste product) ava mu bimera.


Ggulukoosi ne okisijeni olwo ne bikozesebwa mu mitokyonduliya (mitochondrion) z’obutaffaali bw’ebimera n’ensolo, olwo amasoboza ne gafulumizibwa okukozesebwa mu kwegattisa (synthesis). Mu kutomeggana (in the reaction), kabonibbiri-okisayidi (C02) n’amazzi bifulumizibwa mu mitokyonduliya (mitochondrion) okuddamu okukozesebwa mu kitangattisa (photosynthesis) mu kolopulaasi (chloroplast).