Ensengekera z'entabaganyi(Social systems)
Ensengekera kiggwayo “ensengeka eyemalirira” (a self sustaining arrangement). “Abamakisi” balambulula ebika by’entabaganya okusinziira ku byafaayo era bagamba enkulaakulana y’entabaganya kintu kya byafaayo olw’okuba embeera z’ebyenfuna ezibaddewo ze zireetawo enkyukakyuka. Ebyafaayo by’entabaganya bizze byeyolekera mu mitendera gino:
• Entabaganyo Eyasooka oba entabaganyo ey’ababisi • Entabaganyo y’Obufuzi bw’Obuddu • Entabaganyo y‘Obufuzi bw’abamataka • Entabaganya ya Bassitakange • Entabaganya ya Bannakalyakani
Ensengekera y’entabaganya (social system) esinziira ku mugattiko gwa musingi gw’ebyenfuna ne sebuzimbe (sebasitula). Okwekebejja entabaganyabantu kuzudde ensengekera z’entabaganya mukaaga nga bwe nziraze waggulu.
Entabaganyo Eyasooka (The Early Community)
Eno era eyitibwa entabaganya y’ababisi. Mu nsengekera eno, omuntu eyasooka yali atandika butandisi okubeera mu ntabaganya erina obuzimbe. Abantu babeeranga mu bulamu obwangu nga bakozesa ebikozesebwa by’ababisi olw’okuba omutindo gwa sayansi ne tekinologiya gwali wansi nnyo. Entabaganya teyaliimu mitendera gya bukulembeze mirambulukufu ate era nga tewali asukkulunmye ku mulala mu byanfuna.
Ebitondekeso (means of production) nga ettaka byalinga bya bwannanyini bya wamu ate nga era kirabika waaliwo omwenkanonkano wakati w’abakazi n’abasajja, ekitegeeza nti emikwanaganyo gy’entodeka y’ebikole tegyali gya kusika mugwa, buli omu yenyumirizanga mu bibala byantuuyo ze. Entabaganyo (= entabaganya entono) zaagenda zigaziwa era okusengulukuka ne kutandika olw’obwetaavu bw’okunoonya obulamu obulungi okusingawo.
Mu kunoonya awansigako okuba awalungi, kyesangibwa nga wabaluseewo okulwanagana wakati w’ekibinja ekimu n’ekirala. Eno ye yali entandikwa y’obuddu nga ebika oba ebibinja ebiwanguddwa bifuulibwa abaddu b’abo abawangudde.
Abaddu baakolanga emirimu emisukkulumu , ekintu ekyavirako okutondeka amakungula amasukkulumu. Ensukkulumo (surplus), bannannyini baddu gye beefunzanga awatali kwenyigira butereevu mu kutondeka bikole. Eno ye yali entandikwa y’enjawukana z’ebyenfuna mu ntabaganya.
3.2 Entabaganya y’abamaasita n’abaddu
Eno yeyolekera nyo mu Buyonaani n’Abarooma.Ensegekera eno yabangamu abantu abaabeelangawo ku ntuuyo z’abaddu; bano nga be abamaasita. Kino kyasobozesa abamaasita okwemalira ku kukozesa obwongo ne bafuuka ba sekalowooleza (thinkers) oba abayiiya abaweesi.
Okusobola okwekuumira mu mbeera eno erimu obunyunyunsi, abamaasita baalina okuteekawo ekiyitibwa “eggwanga eryotongovu” (state) eririna sebuzimbe eyesigamye ku bitongole ebyobuwaze. Kyokka ky’olina okumanya kwe kuba nti ensengekera (system) eno yalimu omutindo gwa tekinologiya wa wansi naye nga wa mutindo gwa wagguluko okusinga oyo eyaliwo mu ntabaganyo ey’ababisi kubanga ebikozesebwa bikulakulanyiziddwako katono okusingako.
Enkolagana (emikwanaganyo) z’etondeka z’ebikole za kusika mugwa kubanga omuntu atandise okunyigiriza muntu munne ng’afuula emirimu gye eky’obwannannyini. Eno ye yali entandikwa y’obwanannyini obw’omuntu kinnoomu.
Kyokka sikimanyitye (supersitititions) akyali mungi ddala olw’okuba nga omutindo gwa sayansi guli wansi ddala.
Empagi z’ensengekera eno baali baddu abataalina kye baganyulwa. Abafuzi beeyambisanga baddu okufuga obutonde (to tame nature) olw’okuganyula bbo bokka.
Yadde nga ensegekera eno yasaanyaawo omwekanonkano . Yatandikawo entondeka y’ebikole mu bungi n’okutuuka ku mpalirizo z’okutondeka ebikole.
Ku nkomerero y’ensegekera eno entabagannyo zaali zigaziyidde ddala ate nga te zikyatayaaya nnyo, ekitegeeza nti zaali zigumbye wamu okusingawo bwe kyali.
Kino kyaviirako obaduumizi b’entalo mu bika okwenyweeza wakati mu sikimanyikitye n’okwenyweza mu by’ekijaasi. Okunyigirizibwa okuva mu baddu kwaleetawo enkyukakyuka ezaleetawo entabagenya y’abamataka.
Entabaganya y’Abamataka
Mu nsengekera eno wajjawo Kabaka omwetongovu (sovereign King) ng’awagirwa ab’amataka n’abaduumizi b’entalo, awamu abaakolanga ekiyitibwa Gavumenti.
Mu mulembe gw’obuddu, ebibinja by’abaddu byatandika okuwakanya obunyunyunsi bw’abafuzi. Kino kyaviirako abaddu okufuulibwa “abaserafu” (serfs). Abaserafu yadde era tebaalina ddembe lijjuva naye baaweebwa enkizo ku nkozesa y’ekisukkulumo eky’amakungula ebisigaddewo ne babiwaayo eri bannanyini mataka.
Oluusi abaserafu baaweebwanga ekyagaanya okukozesa obwongo bwabwe, ekyabasobozesa okukulaakulanya sayansi, kino ne kireetawo “abayiiya” (artisans).
Sayansi ne tekinologiya byeyongera okukulaakulan kubanga amakumbi (plough) gaali gakozesebwa mu bitundu bya bulaaya ebisinga.
Emikwanaganyo gy’entondeka y’ebikole gyali gya kusika mugwa wakati wa kiraasi eya balandiroodi (Abamataka) ate abaserafu nga be ab’ebibanja.
Sebuzimbe (superstructure) atandika okweyolerakera ddala omuli ne gavumenti ennambulukufu, eyesigamizza amaanyi gaayo mu sikimanyinkitye (superstitions) n’ebyekijaasi.
Ebisale ku bayiiya (artisans) n’abalusi b’ensero (craftsmen) byagerekebwanga abaloodi ab’amataka. Abayiiya bwebagendanga okutunda ebikole byabwe nga bayita mu mataka g’abaloodi era wano ne basasula emisolo.
Omulembe gw’abamataka gwalimu nnyo okwejalabya mu kiraasi enfuzi ne bannaddiini, ekintu ekyaviirako ensengekera y’entabaganyi empya eya “sitakange”.
3.4 Ensengekera ya Sitakange
Sitakange yeyubula okuva mu nsengekera y’abamataka kyokka yo ereetebwa kiraasi y’abayiiya abaweesi (artisans) efuuka ekifundikwa kya basitakange n’abamerekenti (merechants). Okubinika emisolo n’envujjo mu b’amataka kyafuula enkolagana z’ebyenfuna okuba eza kawereege.
N’olwekyo abateeka amaanyi mu nsengekera ya sitakange baali bayiiya abaweesi n’abamerekanti abaakulemberamu okuwakanya ba nobiriya b’omulembe gw’abataka. Eky’okulabirako z’enkyukakyuka ezaali mu Bufaransa mu 1789.
Okugotaanya okwakolebwa abafuzi b’Amatwale basitakange mu Uganda
Abazungu webajjira mu Buganda, ebyenfuna yaffe byali ku musinji gwa byabulimi, okuweesa okutonotono okwa tekinologiya owa wansi, n’okulunda, okusuubulagana okutonotono okwa mpa nkuwe naye tetwalina baavu lunkupe na bawejjere ng’abaliwo kati.
Okusooka bajja nga balambuzi, ne bazzaako eddiini, n’ekyasembayo kwezza teritoliya nga bakozesa amaanyi g’emundu etaali mu Afirika. Wano mu Buganda we baateeka ekifundikwa kya Uganda basooka kuwang’angusa Kabaka Mwanga ne bassaako mutabani we omulangira Daudi Chwa nga wa myaka esatu kino ne kibasobozesa okukakaatika ku Baganda endagaano ya 1900.
Endagaano eno yeyajjawo obwetwaaze bwa’abantu ba Uganda(si bwa Buganda yokka) mu byobufuzi n’ebyenfuna kubanga ettaka Kabaka lye yali akuuma olwa buli Muganda lyagabanyagabanyizibwamu, ate Kabaka nagaanibwa okuba n’ejje erikuuma ensi ye awamu n’okusolooza emisolo emikulu egiyimirizaawo eggwanga eryetongodde.Wano we baasinziira okukakaatika obufuzi bwabwe ku bitundu bya Uganda ebirala kyokka mu kukola kino ne bagenda nga basiga ensigo ey’okweyawulayawulamu n’obukyayi.
Mundagaano ya 1900, okusinziira ku article 15 ettaka eriweza mailo 1500 ery’ebibira ne mairo eziri wakati wa 8,000 – 9.000 byaweebwa Kabaka wa Bungereza ate mairo nga 8,000 ne ligabanyizibwa ku lw’empaka mu Kabaka, abakungu be, ab’amasaza, abamagombolola, n’amadiini ag’enjawulo agaaliwo mu kiseera ekyo.
Ebbanga Buganda ne Uganda okutwalira awamu gyeyamala ng’eri mu bufuzi bwa Bungereza ebintu bingi ebyakolebwa obufuzi bw’amatwale okudobonkanya ebyenfuna n’ebyobufuzi bwaffe mu lungereza kyewandiyise “the distortions of colonialism”. Muno mwalimu:
a) Okuzimba omusinga gw’ebyenfuna omufunda (narrow economic base). Abangereza baaleka omusingi gw’ebyenfuna omufunda ennyo.
b) Okwawulayawula mu Bantu, Okutambuliza eggwanga mu nkola ezawulayawula mu Bantu okusinziira ku buwangwa n’amadiini.
c) Okudibaga obwannannyini n’enkozesa yettaka
d) Okuteeka okwemanyamanya, emputtu, n’obutagambwako mu bakulembeze abaddugavu.
e) Obusosoze mu mawanga n’amadiini
f) Okkozesa obubi obuyinza, okudiibuuda, obulyake, obuli bw’enguzi, n’obunyunyunsi.
g) Enkwe (intrigue and formation of cliques).
h) Embeera y’ebyenfuna n’ebyobufuzi esiga obukyayi mu batali Baganda ku Baganda oba eri ba Nilotics eri Bantu people.
Mu butuufu okudibaga kw’abufuzi bw’amatwale kweyorekera mu byenfuna, eby’obufuzi, n’eby’obuwangwa byaffe obw’omulembe guno.
Mu byenfuna Afirika okutwalira awamu yafuuka omusiri omunene omwokujja ebirime ebyetaagisa okuriikiriza yindasitule mu mawanga amagagga e Bulaaya. Ku ludda olw’ebyofuzi abangereza batukakaatikako enkola z’ebyobufuzi okuva e Bulaaya ezaali zitagya mu mbeera oba enkulaakulana y’abantu ba afirika.
Mu byobuwangwa tebaatukakatikako bukakaatisi lulimi lwabwe kyokka, naye baaleeta wano empisa zaabwe nnyingi ezaali zikontana n’obuwangwa bwaffe.
Olw’ensonga ezo waggulu obutafaanana nga bwe kiri ku semazinga endala Afirika mu kifo ky’okugenda mu maaso ezze eddirira buddirizi olw’obunyunyuunsi obwa sitakange obwasigwa wano.
Ebyenfuna ebya sitakange byaleetawo enkolagana eza kawereege mu ntabaganya yaffe, naddala okutandika n’omwaka ogwa 1900 abafuzi b’amatwale we baddira ettaka mu Buganda ne balifuula ely’obwa nnanyini, ekintu ekyateekawo kiraasi z’ebyenfuna ez’enjawulo omwali:
(a) Abamataka (b) Abebibanja (c) Obuwangwa obw’enjawulo (d) Abakozi n’abakozesa (e) Abaddugavu n’abeeru
Kiraasi ezo tezaalibadde mbi nga zitandikidde ku musingi ogw’obwaseruganda, okutegeeragana, n’obwenkanya. Naye zakakatikibwa ku ntabaganya yaffe nga tewali kutegeeeragana, mu ngeri ey’obujoozi, ekintu ekyaaviirako emikwanaganyo gy’ebyenfuna egy’esigamye ku busosoze n’okusika omugwa mu mawanga n’amadiini.
Okujja kw’omuzungu okwajja n’ebyenfuna ebya ssente (monetary economy) kwaleetawo kiraasi ya “Bapulolitaliya” obutafaanana nga ba pizante ababeerawo nga balimabulimi ku ttaka, Bapulolitaliya obulamu bwabwe tebuli ku kukozesa ttaka lyoka wabula bakolerera mpeera nga bakozesa ekyobugagga kyokka kyebalina, “obukozi bw’emirimu” mu bitongole ebyenjawulo oba mu makolero agaleetebwa abazungu.
Obutafaanana na Pulolitaliya abasasulwa empeera (wage), waliwo Kiraasi ya Salalitaaliya abasasulwa omusaala (salary), oluusi konseputa ya Pulolitaaliya eweebwa amakulu gegamu n’eya Salalitaliya.
“Emikwanaganyo gy’Entabaganya” (social relations) mulamwa oguva mu kikolwa eky’okukwanaganya era oyinza okukiyita “enkolagana z’entabaganyo, emikwanaganyo gw’entabaganya, emikwanaganyo gy’ebyenfuna (enkolagana z’ebyenuna).
“Enkolagana z’ebyenfuna” (emikwanaganyo gy’ebyenfuna) giyinza okubaamu okutataaganya era gino giyitibwa “emikwanaganyo emitataaganya” (antagonistic relations) era ekiyitibwa enkolagana entataaganya (antagonistic relations). Emikwanaganyo oba enkolagana z’ebyenfuna bwe zitabaamu kutataaganya ziyitibwa enkolagana ezitali ntataaganya (unantagonistic relations) oba enkolagana ez’omukwano (friendly relations).
Enkolagana z’ebyenfuna ziyinza okuba wakati w’abakozi n’abakozesa naye nga teziriimu ntataaganya yonna singa ziba tezesiganye ku busosoze mu mawanga na ddiini. Zino ziba nkolagana za mukwano. Kyokka bwe zibaamu entataaganya ezesigamye ku busosoze mu mawanga n’amadiini kiba kibi eri entabaganya.
Osaana okimanye nti okukontana okubeerawo wakati w’abakozi n’abakozesa, abagagga n’abaavu kuyinza obutabaamu ntataaganya yonna. Okukontana kuno kubaamu okuba nti abakozi balimu emitendera era emitendera egimu gifuna emisaala gya waggulu ate emirala gya wansi okusinziira kubuvunaanyizibwa n’obukugu buli omu bw’alina mu kukola. Kyokka singa wabaawo okuwa abantu abamu enkizo okusinziira ku buwangwa, obuzaale n’ amadiini ate nga mulimu n’ obunyunyunsi, obwanakyemalira n’obukenuzi enkolagana ziba ntataaganyi (antagonistic) kuba ziba zitataaganya embeera y’abantu mu ntabaganya.
Wano mu Uganda embeera eno yaleetawo kiraasi ya babbujwazi. Okusooka mu bulaaya Bujwazzi yabeeranga muweesa (artisan) oba mukozi wa byamikono (craftsman) ng’ali wakati wa Pizanti ne Landiroodi (Bannanyini mataka).
Oluvannyuma Bujwazzi kyagaziwa okutegeeza abo abali mu “nfuna eya kibogwe” (middle class) abafuuka Bassitakange (Bakapitoola). Ennaku zino ekigambo kino era kikozesebwa okutegeeza enneeyisa eyekuusiza ku kwagala ennyo ebintu (materialism) n’enneeyisa yabannaggagga etafa ku bantu balala abali obubi.
Yadde nga Bujwazzi kikozesebwa okutegeeza abasuubuzi, Abamerekanti (merchants) abasuubulira amagoba nga bakozesa n’abalala mu ngeri ey’obunyunyunsi, ku mulembe guno naddala mu Afirika kikwatira ddala ku ngeri kiraasi ebeera mu buyinza gy’eyinza okwezza obugagga bw’eggwanga mu ngeri ey’obunyunyunsi mu ngeri ye’mu abafuzi b’amatwale gyebanyunyuntamu omuddugavu.
Yadde ng’abaminsani okuva ebulaaya baakola kinene okutandikawo enkola y’ebyenjigiriza ey’omulembe bannaabwe abafuzi b’amatwale tebaafaayo kubayambako kuzimba musingi gwa byanjigiriza mulambulukufu okusobozesa enkulaakulanya ya tekinologiya okuzimbira ku kuweesa okwekinansi kwebasangawo. Batuleetera masiini n’ebyuma ebyetagisa okukulakulanya ebyenfuna awatali kutumbula masomo gakola byuma bino wano.
Nga Adamu Semiti bw’agamba nti ensibuko y’obugagga bw’amawanga kwe kukola bikola (bwa) okuyita mu kukola emirimu okiraba bulungi nti amawanga agalina obusobozi obukulaakulanye (ntegeeza ago agakulaakulanye mu sayansi, tekinologiya, n’obukulembeze) gegasinga okukola ebintu ebyamagezi ebingi ate byamutindo gwa waggulu.
Kyokka wano abafuzi b’amatwale okusinga bettanira kutendeka bannansi mu masomo ga bukulembeze babayambe okufuga baddugavu bannaabwe n’okubakunga okulima ebirime ebyali byetaagibwa mu makolero e Bulaaya.
Okujja kwabanyunyunsi abagwira okuva e Bulaaya ne Buwarabu kwakola kinene okujja omuganda oba omufirika omuddugavu okutwalira awamu ku bwetwaaze bwe yalina mu byenfuna n’ebyobufuzi naye ate kyakyusa kinene ebyobufuna by’omuddugavu gamba ng’okuleetawo enkola ya banka obusuubuzi obutambulira enkozesa ya ssente, okugaziya obusuubuzi okutuuka emitala w’amawandiike amakolero ag’omulembe n’ebirara.
Obwetwaze n’ebyenfuna byali biyimiriddewo nnyo ku ttaka eryakuumibwanga Kabaka ku lw’abantu bonna okutandika n’endagaano ya 1900, obufuzi bw’amatwale bwaleetawo obunyunyunsi (exploitation) era bwafufuggaza enkulakulanya y’obusobozi (Productive Forces) bwa Buganda kubanga ettaka lyajjibwa ku bantu abasing obunji ate ne tekinologiya eyaliwo ng’okuweesa byonna nebidobonkanyizibwa. Tewaatekebwaawo nkola nnambulukufu kukulaakulanya “busobozi” bwa mawanga gaffe ekyaviirako okuba nga ebyanfuna byaffe bizze byeyongera bweyongezi okuyimirirawo ku byenfuna by’ensi ezaatufuganga amatwale.
Okusobola okukulaakulana mu byenfuna wateekwa okubaawo “okukulanya obusobozi” mu mawanga gaffe aga Afirika kino kivaako obweetaavu obwamaanyi okuteeka essira mukukulaakulanya obusobozi mu Sayansi, Tekiologiya, n’obukulembeze obutambulira ku demokulasiya mu ggwanga n’ebitongole ebiririmu.
Emitendera gy’entandikwa ya Sitakenge mu bulaaya
Sitakange yakulaakulana okuyita mu mitendera egy’enjawulo okusobola okutuusa omuntu mu nkulakulana kyokka ate waliwo we yatuuka n’adibonkanya enkulaakulana y’omuntu ng’abo abakugu mu sayansi ne tekinologiya beesigaliza bokka ebyo bye batuseeko. Gino gy’emitendera mwazze ayita:
i) Bannamukwakkula (Okwefunza ebyobugagga)
Kino kyaliwo ku ntandikwa ya sitakange mu kyasa ekya 15. Mu mutendera gwa sitakange guno mwalimu obwanamukwakkula (primitive acculation of wealth), ng’amawanga gakirimaanyi mu tekinologiya gakwakkula buli kya bugagga eky’ensibo kye gasangayo mu bulaaya. Okwefunza ebyobugagga mwalimu enneyisa ezitaali za buntu nga okukozesa abakadde n’abakyala ab’embuto awamu n’abaaana abato mu makolero n’amayikuuliro g’ebyobugagga eby’omuttaka. Ekikulu kyali magoba na byabugagga awatali kufa ku ddembe lya buntu.
ii) Sitakange ow’Amakolero (Yindasitule)
Guno gwali mutendera gwa masiini (ennyanguyirizo) okufulumya eby’amaguzi ebingi ne masiini okwatandika mu kiseera kino mu kyasa ekya 17 ne 18. Okutondeka ebyamaguzi okwa masiini kwaddirira ebikozesebwa eb’emikono okudda ku masiini ezeevugisibwa.
Omutendera guno gwali gwa kuvuganya era mu kiseera kino omuntu yatuuka wala mu kuvumbula n’okuyiiya. Oluvannyuma wajjawo abawozi b’ensimbi okuyamba basitakange abaali mu kuvuganya. Abamakolero abawozi ba sente baatandika okuba n’eddoboozi eddene mu bizineensi z’amakolero era nga basobola n’okwezza bizinensi singa abo basitakange ababa batandiseewo bizinensi eyo baba baggwereddemu ddala. Nga bayita mu kuwola ensimbi okw’engeri eyo basitakange basobola okwezza bizinensi entono. Kino kyaleetawo sitakange omupya owa “ebisigo byensimbi ebya obwa namunigina”.
iii) Ebisigo by’ensimbi ebya obwanamungina (Okwefunza ebisigo byensimbi)
Sitakange eno ajjawo nga kampuni kibunamawanga (multinationals) zefunza bizinensi wabweru w’amawanga gazo okumaamira akatale k’ensi yonna n’ebyobuggaga eby’ensibo. Eky’okulabirako Esso, Shell, Coca-cola n’ebirala”.
Ebitongole ebyo era biwagirwa mu by’ensimbi ebitongole ebiwola ensimbi eby’ensi yonna nga Barclays Bank, Standard Bank, I.M.F, World Bank, n’ebirala.
Sitakange oyo waggula y’ali mu Nsi kati kyokka takyayamba muntu kukulaakulana wabula essira aliteeka ku magoba yadde nga ensibuko y’amagoba teyamba lubu lwa muntu okutwalira awamu.
3.5. Entabaganya ya Nakalyakaani:
Mu sitakange mubaamu abakozi bangi abataba na bwannannyini ku kintu kyonna kubanga “abakapitoola” abatono ennyo be balina obwa nnannyini ku bitondekeso (means of production). Kino, n’okuba nti “abakapitoola” (Basitakange) bafa ku magobamangi kireetera abakozi abatondesi b’ebikole (producers) oba eby’obugagga n’ekisukkulumo (surplus) okuva mu mbeera.
Nga beeyongera okutangaazibwa n’okukulaakulana mu sayansi, abakozi nga begattiddwako ababundabunda n’abatalina mirimu bakizuula nti ebyenfuna n’amagoba g’abakapitoola (capitalist) biri mu mikono gyabwe. Ekivaamu begugunga ne b’eddiza ebitondekeso ne banunula ebibala by’entuuyo zabwe. Kino kye kyali mu Russia mu 1917, mu China mu 1945, n’amawanga amala aga Nannakalyakani. Ebirooto bya Nakalyakani.
1. Tekinologiya asukkuluma ku wa Basitakange. Ebikozesebwa mu kutondeka ebikole bya mulembe nnyo era omutindo n’obungi bw’ebitondeko guli waggulu olw’ekigenderwa eky’okukkusa ebyetaago by’omwana w’omuntu so si magoba.
2. Emikwanaganyo gy’entondeka y’ebikole (Production relations) si gya kusika mugwa kubanga ebitondekeso biri mu mikono gya bakozi bennyini ate nga buli omu mukozi. Ekigobererwa kiri “okuva eri buli omu okusinziira ku busobozi bwe ate era okudda eri buli omu okusinziira ku mulimu gwe”.
3. Obwannayimi bw’ebitondekeso buva ku by’obuggagga eby’eggwanga, ebibiina ebyobwegassi, okudda ku bitali bya ggwanga oba bibiina eby’obwegassi (private) n’ebyo eby’omuntu kinnomu (personal). Eggwanga liba n’obwannannyini ku by’obugagga ebikulu nga banka, yindasitule ennene nga eya kkalwe (iron), sitiiru (steel), okuzimba n’ebirala.
4. Ate ebyobwannanyini eby’ebibiina ebyobwegassi mulimu faamu ennene, amakolero amatonotono, obutale n’ebirala. Ebyobwannyini ebitali bya ggwanga na bibiina bya bwegassi bibaamu bizinensi entono nga amaduuka ga kyakala (retail shops), motoka ezitanbuza abasaabaze, n’ebirala. Ebyobwannannyini eby’omuntu kinnomu nga mubaamu ennyumba, motoka eza buyonjo, engoye, n’ebirala.
5. Omulamwa omukulu mu nkozesa y’amagoba, gwali naakalyakani kukkusa byetaago bya muntu.
6. Nakalyakani akkiriza mu ggwanga eriwa ebyetaago ku buwaze (compulsory welfare state). Mu nkola ya nakalyakani, ekisukkulumo (surplus) kirina okuddazibwa abo abakikoze nga ennyongerezi ku bisale by’obujjanjabi (subsidized medication), ebyenjigiriza ebitali bya kusasulira, ennyongereza ku bisale by’entambula n’amayumba. Kino kiva ku ndowooza nti tekinologiya wa bantu bonna.
7. Sebuzimbe nzibuwanvu nnyo ate nga ekulakulanye nnyo.
8. Waliwo eddembe ly’okusinza naye nga essira lisinga kuteekebwa ku kukola.
9. Waliwo essira ku by’emizannyo kubanga omubiri omulamu gwetaaga dduyiro.
10. Buli mukozi yenyigira mu bukulembeze bw’entabaganya ye. Kiyitibwa demokulasiya ow’abantu bonna.
Ekikyasinze okuba ekirooto mu bamakisi kwe kuba nti nakalyakani alowooleza ku kukulaakulana okuyingira omulembe gw’entabaganyo entuukirivu (communism) naye mu butuufu entabagenyo entuukirivu etaliimu bbala yadde olufunyiro tesobola kubaayo ku nsi kuno kubanga tekinolgiya tasobola kumalibwayo mu butuukirivu bwe, asobole okumala buli kizibu ku Nsi, yadde eby’omwoyo.