Ensenke

Bisangiddwa ku Wikipedia

Ensenke ndwadde ereeta ekifu ku maaso, ekireetera omuntu okuba nga takyalaba bulungi. Ensenke yandikwata eriiso limu oba gombi.

Obumu ku bubonero bw'ensenke[kyusa | edit source]

  • Omuntu okuba nga takyalaba bulungi na kwawula bulungi langi za bintu
  • okuba n'ekifu ku maaso
  • amaaso okuba nga gafuna ogutangaala ogwetooloovu mu budde obw'emisana.
  • Mu birala mulimu okukaluubirirzibwa ng'omuntu atunula ku langi ezitangaala gamba nga; enjeru oba eya kyenvu n'endala, wamu n'okuzibuwalirwa okulaba mu budde obw'ekizikiza

Bino nno bireetera omulwadde okulemererwa ebintu ng'okuvuga ebidduka, okusoma bwino oba okwawula abantu ab'enjawulo. Ensenke ekola ebitundu ataano ku buli kikumi(50%) mu kufuula abantu abazibe b'amaaso, ate era n'ekola ebitundu asatu mu bisatu ku buli kikumi(33%) mu kufuula abantu okuba n'obulemu ku maaso mu nsi yonna.

Ebireeta ensenke[kyusa | edit source]

  • Ensenke etera kuva ku kukaddiwa
  • omubiri okufuna okwekanga okw'amaanyi
  • okutunula mu bimyanso eby'amaanyi ennyo
  • omuntu okuzaalibwa nayo
  • omuntu singa alongoosebwa amaaso olw'ensonga endala asobola okufuna ekizibu kino
  • Ebirala ebiyinza okuleeta ensenke kwe kuli endwadde ya ssukaali, okufuuweeta(okunywa ebintu nga ssigala, taaba n'ebirala)
  • omuntu okumala ekiseera ekiwanvu ng'atunudde mu kitangaala ky'omusana
  • wamu n'okunya ennyo omwenge okumala ekiseera ekiwanvu.

Engeri y'okwewala ensenke[kyusa | edit source]

Wabula ensenke tukyayinza okugyewala nga twambala gaalubindi ez'omusana okwewala okutunula mu kitangaala kyagwo ekingi, okwewala okunywa omwenge ne ssigala n'ebirala.

Omuntu nga yaakafuna obulwadde buno asobola okukozesa gaalubindi z'amaaso endwadde n'ekkakkanamu, wabula gaalubindi bwe zigaana olwo ng'amaaso galongoosebwa okusobola okuggyako ekifu ku maaso. Wabula okulongoosa amaaso agalwadde ensenke tekisobolwa mu mawanga gonna, naddala ku bakazi. Ababalirizi bagamba nti abantu abawerera ddala obukadde abiri(20) bazibe b'amaaso olw'ensonga eno.