Jump to content

Ensinga

Bisangiddwa ku Wikipedia

Gakuweebwa Charles Muwanga !! Ensinga (Mode)

mode

Mu lukalala lw’emiwendo, ensinga (mode) eba namba esinga okweyoleka .Singa namba bbiri ze zisinga okweyoleka, kitegeeza olina ensinga bbiri. Kino kiyitibwa nansingabbiri (bimodal).


Ekikunizo : Zuula ensinga ya namba zino : 85 , 33, 67 , 33, 81 , 102 , 33 34 .


Mu nziringanya ya namba zino, okiraba nti 33 yeyoleka emirundi esatu .

85 , 33, 67 , 33, 81 , 102 , 33 , 34


N’olwekyo, ensinga, omuwendo oba ennamba esingayo okweyoleka eri 52.


N’olwekyo, ensinga y’omugereko gw’ennamba gwe guba omuwendo oba ennamba esinga okweyoleka, ntegeeza esinga okulabika emirundi emingi.


Ekyokulabirako: Mu somero lya Team primary school, e Mpala, buli kibiina kirimu namba y’abaana bweti:


40 45 46 37 45 26 45


Laga omuwendo ogw’ensinga .


Ekibazo: Bwe wekenneenya kalonda oyo waggulu okiraba nti ebibiina ebirimu abaana 45 be bisinga obungi. Ekitegeeza ensinga eri 45 :


40 45 46 37 45 26 45


Singa era wabaddewo ebibiina bisatu ebirina 26 , kalonda yandibadde nansingabbiri(bimodal) nga 26 ne 45 zombi nsiga za mugereko gwa miwendo gino:


40 45 26 26 45 26 45 37 50


Kyokka era kiba kisoboka okuba nga waliwo namba y’ebibiina ebirimu emiwendo ebyenkanankana .Ekibinja kino te kiba na nsinga kubanga tewali muwenda gwa baana mu kibiina gweyoreka mirungi mingi kusinga mulala .


30 30 33 33 36 36 37 37