Ensolo ez'omusaayi omunnyogovu(Cold blooded animals)
Appearance
Ensolo ez'omusaayi omunnyogovu
(cold blooded animals)
Ensolo ezirina omusaayi omunnyogovu nga goonya, lubbira, n'ebyennyanja zibuguma ate ne zinyogoga okusinziira ku bwoki obuliwo. Eky'okulabirako , enjuba bw'egolooba , ekiro emibiri gyazo nagyo giba ginnyogoga kyokka enjuba bw'evaayo emibiri gyabyo giyingiza ebbugumu ly'enjuba nagyo ne gibuguumirira.
Bino bivudde mu kitabo Essomabiramu (Biology) ekya Muwanga Charles.