Jump to content

Entengejjeso (Buoyancy)

Bisangiddwa ku Wikipedia
entengejjeso

Entengejjeso (Buoyancy)

Mu essomabuzimbe, entengejjeso(empallirizo etengejjesa ku mazzi ) eba mpalirizo ku kintu ereetera ekintu ekyo okutumbiira oba okudda waggulu . Entengejjeso ereetebwawo enjawulo eba wakati w’akanyigirizi akateekebwa ekitengejjeso ku kuntu oba empewo ekintu mwe kiri . Entengejjeso ya mugaso nnyo mu bidduka bingi nga amaato, emmeeri , luseyeeya (bbaluuni), okunokoolayo ezimu . Njawulo ki eri wakati w’entengejjeso n’ensukuma(Buoyancy and thrust)?

Ensukuma(thrust) eba mpalirizo oba ensukuma. Ensengekera bw’esukuma oba okutebentesa enzitoya(to accelerate a mass) mu bwolekero bumu, wabaawo ensukuma(=empalirizo esukuma(thrust) nga eteekawo embeera egyenkana okuva mu bwolekero obwa kikontana. Mu ssomabuzimbe n’ekibalangulo kino , kino kinnyonnyolwa amateeka ga Isaac Newton ag’okuva ery’okubiri n’ery’okusatu.

Ensukuma(thrust) ekozesebwa okulaga omutindo ekitondekamaanyi(engine) kwe kiddukira .Bya Muwanga