Enziku
Enziku, bumu ku bulwadde bwe'ekikaba. Obulwadde buno buleetebwa akawuka akayitibwa Neisseria gonorrhoeae. Abantu bangi abatafuna bubonero bwa nziku so ng'ate oluusi baba bagirina. [1]
Obumu ku bubonero
[kyusa | edit source]Abasajja bayinza okubabukirirwa nga bafuuyisa, okufulumya amazzi amacaafu okuva mu busajja, oba okulumwa ensigo. Ate bo abakyala basobola okufuna okubabuukirirwa nga bafuuyisa, okufulumya amazzi amacaafu okuva mu bukyala, okukulukuta omusaayi mu biseera by’okulwala oba okulumwa wansi mu bitundu by’ekyama. Enziku eretaawo okuzimba mu bukyala ate mu basajja n’eretaawo okuzimba mu nseke. Bwe kityo, enziku eyo esobola okusaasaana mu nnyingo zonna oba mu misuwa gy’omutima singa eba tejajabiddwa.
Ensaasaana n'okwekebeza
[kyusa | edit source]Enziku esobola okusaasaanyizibwa ng'eva ku maama n’ekwata omwana mu kaseera kokusumulukuka. Obulwadde buno bukeberebebwa mu ngeri ez'enjawulo. basobola okukebera omusulo oba akanyinyi mu basajja ate mu bakyala bakebera mumwa gwa nnabaana. Okwekebeza ekirwadde ky’enziku kisaana eri abantu ababa bakafuuna ababeezi wamu n’abavubuka abali wansi w’emyaka 25 buli mwaka. So ate era n’abasiyazi balina okwekebeza buli mwaka.
Waliwo engeri nnyinhi omuntu z’asobola okweyambisa okwewala enziku; okugeza nga; okukozesa obupiira, okwegatta n’omuntu omu yekka ate nga naye mulamu, n’okulekayo okwegatta. Ebiseera ebisinga obujjanjabi bw'obulwadde buno buba bwa kukubwa mpiso.
Okuddamu okwekebeza kulina kubaawo luvannyuma lwa myezi esattu ate bo abaagalana abawezezza emyezi ebiri balina okfuna obujjanjabi okwewala okulwala enziku.