Enzirukanya y'ekitongole ey'Omupango (Strategic Management)

Bisangiddwa ku Wikipedia

From IALI NGO with authority from Terminologist Muwanga Charles.

i) Okubaga Omupango


a) Baga ekigambululo ky’okwolesebwa (vision statement)

b) Baga ekigambululo ky’ebigendererwa (mission statement)

c) Nokolayo emikisa n’obuzibu obuyinza okuyingirira ekitongole (kuva mu mbeera ey’ ebweeru).

d) Nokoolayo amaanyi n’obunafu ebiri munda mu kitongole.

e) Nokoolayo ebiruubirirwa (long term objectives / aims)

f) Lowooza ku mipango emirala singa kino kiba kigaanye.

g) Londa emipango egisingilayo ddala egy’okugoberera.


ii) Okutuukiriza omupango


a) Tekawo ebiruubiriro by’omwaka (annual objectives) nga byesonjovu(specific), bipimifu( measurable) ate nga bituukibwako (attainable), bye kibalo (realistic), biri mu kiseera ekibibaze (timely) ate nga bituukikako (sustainable).

b) Baga enkola (policies) okuwanirira ebyo waggulu.

c) Abakozi bazzemu amaanyi.

d) Gabanya embalirira.


iii) Obwakalabalaba n’okutunula emabega(Monitoring and evaluation)

v) Wekennennya emipango egikola obulungi n’egitakola bulungi olwo olongoose ne kyetaagisa.

Enganyulo z’omupango gwa kitondekakola

- Kikendeeza okwenoona ensimbi n’ebyobugagga by’ekitongole.

- Kisobozesa okuteekateeka okwewala awatali kulinda buzibu kubaawo.

- Enteekateeka ziba nsengeke, nsengekere ate nga zitegeerekeka

- Kimeetawo obumu mu batondesi n’abatuukiriza enkola era n’abakozi bonna.

- Kimeetawo empuliriziganya ekintu ekitambuza ekitongole obulungi.

Weetegereze"

1- Baga ekigambululo ky’okwolesebwa

2- Bega ekigambululo ky’ekigenderwa

3- Wekenneenye ebijja (emikisa n’obuzibu)

4- Wekennenye ebyomunda (amanyi n’obunafu)

5- Teekawo ebiruubirirwa (ebiruubirirwa eby’omupango)

6- Tuuka ku mipango

7- Teekawo enkola n’ebiruubirirwa eby’omwaka

8- Gabanya ebikozesebwa nga (ensimbi n’abakozi)

9- Kola ogwa kalabalaba, pima era otunule emabega engeri ebintu gye bikolebwamu.