Jump to content

Essomero lya Rubaga Community

Bisangiddwa ku Wikipedia

Essomero lya Rubaga Community lya pulayimale erisangibwa ku njegoyego z'ekibuga Kampala, ekibuga ekikulu ekyetooloddwa ennyanja eky'eggwanga Uganda.

Mu bufunze

[kyusa | edit source]

Essomero lyatandikibwawo Jjajja Manjeri, omukazi omukadde mu makkati ga-1980.Yayingizzaamu bamulekwa 3 n'atandika okubasomesa n'essuubi ly'okubawa eby'emaaso ebirungi [1] Olw'omulimu gwe mu kitundu, abaana abalala abaali mu mbeera enzibu baabasindika ewa Jjajja Manjeri. Essomero leero limanyikiddwa nga Rubaga Community School.Okuva olwo litutumuse ne liva mu kusomeseza abaana wansi w'omuti okudda mu kubeera n'ebibiina.

Essomero liyina olukusa lwa gavumenti ne satifiketi nga ettendekero ly'ebyenjigiriza, naye nga terifuna buyambi bwa ssente kuva mu gavumenti. Essomero liddukanyizibwa bannansi n'obuyambi okuva mu bitongole by'obwannakyewa eby'ebweru nga International Child Welfare Service[2] ne Rubaga Friends.[3]

Ebibiina mu ssomero lino bitandikira ku nasale okutuuka ku pulayimale 7 era nga wamu liyina abayizi 280. Abayizi abamu bamulekwa era nga babeerera ddala ku ssomero mu kisulo.

Ebijulirwa

[kyusa | edit source]
  1. {{cite web}}: Empty citation (help)
  2. International Child Welfare Service
  3. "Rubaga Friends". Archived from the original on 2017-06-22. Retrieved 2020-12-07.

Linki Endala

[kyusa | edit source]

Omukutu omutongole