Esther Opoti Dhugira

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Esther Opoti Dhugira yazalibwa mu mwezi ogw'omwenda mu mwaka gwa 1962, n'afa ng'enaku z'omwezi 18, mu mwezi ogw'omunaana mu mwaka gwa 2001, nga yali munayuganda eyali akola amateek, era omukyala, omubaka wa palamenti owa disitulikiti y'e Nebbi District, mu palamenti ya Uganda eyo 7. Mu lukungaana lwa Uganda olukola amateeka wakati w'omwaka gwa 1994 ne 1995, y'akiikirira essaaza ly'e Okoro mu disitulikiti y'e Nebbi. Dhugira ng'ali wamu ne Winnie Byanyima n'abalala abaaliko mu kutandika ekibiina ky'abakyala abaali ku lw'enkola ya gavumenti ng'erondeddwa abantu.

Ebimukwatako n'eby'enjigiriza[kyusa | edit source]

Okusinziira ku byeyayogera oba ekiwandiiko kyeyawa Loyce Bwambale, mu lutuula lwa palamenti olwaliwo mu mwaka gwa 2001, Dhugira yazaalibwa Onenoth Opoti Jalmoi, eyalina obuvunaanyizbwa oba eyali adukanya amasomero mu disitulikiti, ne Vitali Opoti mu kabuga ka n Kituli[1]

Yasomerako mu masomero ag'enjawulo nga Arua Public School mu mwaka gwa 1969, naamaliririza pulayimale ye ku Kitgum Public School.[1][1] Yeeyongerayo ku Kitgum High School, Dr. Obote College, ne Boroboro mu disitulikiti y'e Lira, n'eno gyeyatuulira S.4 mu mwaka gwa 1983.[1]

Dhugira yafuna dipulooma mu by'okusomesa kutendekero ly'abasomesa erya Onyama National Teachers College mu disitulikiti y'e Gulu, wamu ne kutendekero lya as well as Nkozi Teachers Training College mu mwaka gwa 1987.[1]

Oluvannyuma yagenda ku setendekero lya yunivasite y'e Makerere, ng'eno gyeyafunira diguli eyali ekwata ku neeyisa y'abantu, ng'esira yasinga kuliteeka ku ngeri gavumenti gyetambuzaamu emirimu gyayo mu ggwanga, ng'alina okuwakanya eri empeereza ya gavumenti eri abantu n'okusoma ku bwongo bw'abantu engeri gyebulowozaamu.

Mu mwaka gwa 1998, Dhugira yali musomesa ku somero lya Erusi Senior Secondary School mu disitulikit y'e Nebbi, ng'eno gyeyava okwegata ku kakiiko ka National Resistance Council (NRC) mu mwaka gwa 1989.[1]

Yalondebwa ku kakiiko oba boodi y'abakulira kampuni enkozi ya sukaali eya Kinyara Sugar Works Limited mu mwaka gwa 1991, ng'era yeeyali akulira akakiiko oba boodi eyali evunaanyizibwa ku bye'ntambula y'abantu nga bafuluma eggwanga, n'okuliyingira mu1994[1].Yaliko omu ku ba memba ku kakiiko oba boodi eyali eronda oba okuwa emirimu ku tendekero ly'e Kyambogo.[1]

Mu lukungaana lwa Uganda olukola amateeka olw'omwaka gwa 1994 webaali mu kulonda, Dhugira yalondebwa ng'omukungu w'okukiikirira essaza lya Okoro erisingaanibwa mu disitulikiti y'e Nebbi.[2]

Yavuganya ku kifo ky'omubaka wa palamenti mu mwaka gwa 1996, bweyali yeesimbye ku Anthony Ofwori Rugete eyawangula. Yavuganya neera mu kulonda kwabonna okw'omwaka gwa 2001, era n'akiikirira disitulikiti y'e Nebbi, mu palamenti ya Uganda eyo 7okutuusa bweyafa mu mwaka gweguu. Yadirwa Betty Odongo Pacuto mu bigere [3][4]

Mu mwaka gwa 1995, ng'ali wamu n'abalala okwali : Winnie Byanyima, Solome Mukisa, Betty Akech, Loyce Bwambale, Tezira Jamwa, Margaret Zziwa, Benigna Mukiibi ne Margaret Ssebagereka, Dhugira yaliko mu kutandika ekibiina ky'abakyala abaali ku lw'enkola ya gavumenti ng'erondeddwa abantu[5][6]

Obulamu bwe[kyusa | edit source]

Dhugira yafiira mu ddwaliro y'e Mulago ng'enaku z'omwezi 9, mu mwezi ogw'omwenda, mu mwaka gwa1962. Yaleka abaana 2 nga bawala .[7]

Laba ne[kyusa | edit source]

  1. 1.0 1.1 1.2 1.3 1.4 1.5 1.6 {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.parliament.go.ug/cmis/views/0f0c3488-d102-4b0e-b61d-ebbf82e3004c%253B1.0
  2. {{cite web}}: Empty citation (help)http://www.nzdl.org/cgi-bin/library?e=d-00000-00---off-0unescoen--00-0----0-10-0---0---0direct-10---4-------0-1l--11-en-50---20-about---00-0-1-00-0-0-11----0-1-&a=d&c=unescoen&cl=CL1.2&d=HASH016d9c404a032ce0564b7ae4.11.4
  3. {{cite news}}: Empty citation (help)https://allafrica.com/stories/200110170187.html
  4. {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.newvision.co.ug/articledetails/1025078
  5. {{cite web}}: Empty citation (help)https://observer.ug/news/headlines/72970-fowode-s-contribution-to-women-movement-can-t-be-ignored
  6. {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/interview-helping-women-find-their-voice-1473366
  7. {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.newvision.co.ug/articledetails/1028199