Eva Magala
Eva Magala, yazaalibwa ng'enaku z'omwezi 17 mu mwezi ogusooka mu mwaka gwa 1974)[1] nga muzannyi wa goofu ow'aba kyakayiga, ng'era ye ssentebe w'ekibiina ekigata abakyala mu muzannyo gwa goofu[2], ng'era yeeyalondebwa okubeera n'obuyinza bw'okudukanya ekikopo ekivuganyizibwamu amawanga ga afrika mu buvanjuba ne mu masekati ga Afrika.
Obulamu bwe mu kuzannya goofu
[kyusa | edit source]Magala yaleetebwa mu muzannyo gwa goofu eyali baawe omugenzi, nga yatandika okumuzannya mu mwaka gwa 1996.[1] Ng'omuzannyi, yazannyira wansi wa kiraabu ya Uganda eya goofu,[1] naakiikirira Uganda nga kapiteeni oba eyali akulembeddemu ttiimu y'eggwanga ey'abakyala mu mwaka gwa 2015.[3]
Mu by'obukulembezze, yawerezaako nga ssentebe w'ekibiina ekigata abakyala abazannyo b'omuzannyo gwa goofu mu Uganda.
Yakoowoola gavumenti okutereeza engeri eby'enjigiriza ng'eno y'engeri yokka esira gyebayinza okuliteeka ku by'emizannyo.[4]
By'azze awangula mu mpaka
[kyusa | edit source]Omwaka | Empaka |
---|---|
2018 | Nigeria Ladies Open |
2018 | 21st JBG Golf Open |
2019 | IBB Ladies Golf Championship |
Engule, nebimusiimuddwamu
[kyusa | edit source]- Mu 2018, yafuna ekirabo ky'omukyala w'omwaka eyali asinga okuzannya goofu nga kyamuweebwa ekibiina omwegatirwa banamawulire abasaka eby'emizannyo (USPA)[5]
- ↑ 1.0 1.1 1.2
{{cite news}}
: Empty citation (help)https://www.monitor.co.ug/Sports/Golf/Magala-regrets-not-planning-pro-golf/690278-5020258-format-xhtml-j4n73w/index.html - ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://kawowo.com/2018/05/15/eva-magala-ready-to-turn-around-the-uganda-ladies-golf-union/ - ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://eagle.co.ug/2015/05/29/ladies-golf-team-optimistic.html - ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20230403182323/https://media.zaabuconsult.com/?p=1193 - ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://www.batanudde.com/gallery/2018-uspa-awards/