Evelyn Kaabule

Bisangiddwa ku Wikipedia

  Kaabule Evelyn Naome Mpagi (yazaalibwa nga 1 Ogwomusanvu 1966)  Munnayuganda ey'ebuuzibwako mu akuwa abakozi emirimu era munnabyabudfuzi. Yali Mmemba mu Paalamenti, nga yaweereza ng'omubaka omukazi eyasooka owa Disitulikiti y'e Luuka mu Paalamenti ya Uganda ey'omwenda, oluvanyuma lw'okuteekebwawo oluvanyuma lw'etteeka lye Paalamenti era yatandiika okukola nga 1 Ogwomusanvu 2010. Yaweereza mu kifo kino okutuusa mu 2016 bweyawangulwa Esther Mbulakubuza Mbayo mu kalulu k'awamu aka 2016.[1] Yali memba mu kibiina ky'ebyobufuzi ekya National Resistance Movement (NRM), nga yawereza mu Bukiiko bwa Paalamenti busatu mu kaseera keyamala mu Paalamenti omuli Akakiiko ak'ebyensimbi z'ebitongole bya Gavumenti, akakiiko ka Social Services, n'akakiiko k'ensonga za Pulezidenti. Oluvanyuma lw'okumaggebwa Mbayo ku ani an'esimbawo ku tiketi y'ekibiina kya NRM, yasalawo okwesimbawo ng'atalina kibiina mu kalulu ka 2016.

Ebimukwatako[kyusa | edit source]

Kaabule yazaalibwa mu Disitulikiti y'e Luukamusoga yazaalibwa mu Famire y'aki Kulisitaayo. Naye yakyuka n'adda mu Balokole ng'ali ku Makerere University.[2]

Emisomo gye[kyusa | edit source]

Kaabule emisomo gye egya O ne A Levo yagisomera ku Trinity College Nabbingo. Yatikkirwa okuva ku Ssettendekero wa Makerere mu 1988 ne Diguli esooka eya Bachelor of Arts in Social Sciences. Mu 1998, Yafuna Dipuloma eya Diploma in Business Administration okuva mu College of Professional Management UK. Dipuloma ye mu kukwasaganya,n'okwekennenya abakozi eya Diploma in Human Resource Management yagifuna mu 2003 okuva mu Ttendekero lya Uganda Management Institute (UMI). Mu 2010, Yatikkirwa Diguli eyokubiri okuva ku UMI eya Master of Science in Human Resource Management.[3][4]

Emirimu gy'akola kati[kyusa | edit source]

Okuva mu 2019, Evelyn Kaabule akola nga Omumyuka wa Pulezidenti w'ekibiina kya African Parliamentarians' Network on Development Evaluation (APNODE).[5][6]

Awaadi z'eyetabamu[kyusa | edit source]

Mu 2016, Evelyn Kaabule y'ateekebwa ku lukalala lw'ababaka ba Paalamenti abaali balina okuweebwa emidaali gy'azaabu egya Golden Jubilee Medal[7]

Ebijuliziddwamu[kyusa | edit source]

  1. http://www.ec.or.ug/docs/Report%20on%20the%202015-2016%20General%20Elections.pdf
  2. "Archive copy". Archived from the original on 2023-03-22. Retrieved 2023-03-22.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  3. https://en.wikipedia.org/wiki/Parliament_of_Uganda
  4. "Archive copy". Archived from the original on 2023-03-22. Retrieved 2023-03-22.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  5. https://www.afdb.org/en/news-and-events/african-parliamentarians-network-on-development-evaluation-gains-momentum-17194/
  6. "Archive copy". Archived from the original on 2019-06-01. Retrieved 2023-03-22.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  7. https://eagle.co.ug/2016/09/22/besigye-byanyimas-generals-oyite-ojok-rwigyema-parliament-medal-list.html

Ebijuliziddwanu eby'ebweru wa Wikipediya[kyusa | edit source]