Express FC
Express Football Club, mu bumpi emannyiddwa nga Express, kiraabu ya Uganda ey'omupiira okuva mu Kampala, ekibuga kya Uganda ekikulu era ekisinga obunene. Kiraabu eno emipiira gyayo egy'ewaka egisambira ku kisaawe kya Muteesa II Wankulukuku Stadium.[1]
Ebigikwatako
[kyusa | edit source]Express FC, abawagizi baayo basinga kugiyita kamunye emyuufu ng'era basinga kugimannya nga Express Sports Club.[1] Y'emu ku kiraabu z'omupiira ezisinga obukadde mu Uganda, nga yatandikibwawo bamaneja b'empapula z'amawulire eza Uganda Express Newspapers mu gw'Ekumi mu 1957. Eyasinga okugiwongamu omukono yali Jolly Joe Kiwanuka, eyali nannyini lupapula lw'amawulire eyali awagirwa ennyo Paul Ssengendo, Hannington Kiwanuka, Dr. Banabas Kiwanuka, Gaster Nsubuga ne Bishop Dr. Dunstan Nsubuga.[2][3]
Kamunye Emyuufu zino y'emu ku kiraabu za Uganda ezasooka okukozesa engato, kuba kiraabu baagiza engulu mu 1979, engeri gyebaali basalibwako okuva mu kibinja ekyawagulu.[4] Ye ttiimu ya supa liigi yokka etasambira ngako mu liigi yabalwana kwegata ku kibinja kyababinywera. Hassan Mubiru yamalako sizoni nga y'asinga ggoolo mu kiraabu ne mu liigi okumala sizoni satu ez'omudiringanwa okuva mu 2001 paka 2003.
Awamu omugate, Express FC ewangudde ebikopo bya liigi 6, ebya Uganda Cup 10, nga kuliko eby'emirundi 2 (ekya liigi ne Uganda Cup) byeyawangula mu 1995.
Ebyafaayo mu liigi
[kyusa | edit source]Express yeegata ku liigi ya Kampala and District Football League (KDFL), nga webaatukira mu 1964, baali bafuuse b'amaanyi mu mpaka webawangula ekikopo ky'ekibinja ekisooka, nga Ali Kitonsa yeyali asinze okuteeba ne ggoolo 54 mu nzannya 18. Mu 1968–69 kiraabu yeetaba sizoni eyasooka ey'ekibinja ky'eggwanga ekisooka, mweyamalira mu kifo eky'okuna.
Kamunye emyuufu yawangula ekikopo kyayo ekya liigi ekyali kisooka mu 1974 nebaddamu okulaga obuvumu mu sizoni eyaddako mu 1975 nebakiwangula. Mu sizoni ya 1977 Express yawangula oludda lw'amagye Simba FC ggoolo 2–0 mu mupiira gwa liigi ogwali gusalawo, era nebawerebwa nga babalumiriza okwenyigira mu bintu ebyali bivumirira gavumenti, eyali akulira esaza ly'amasekati Col. Abdallah Nasur, eyali tasanyuse olw'oludda lwe okubeera nga lwali luwanguddwa. Mu 1979, okuwerebwa kwabwe kwagibwawo oluvannyuma lw'obukulembezze bwa Idi Amin okukomekerezebwa, era Express n'ekomawo mu liigi y'eggwanga okwetaba mu sizoni ya 1980.[5]
Akaseera kamunye emyuufu zekaamala nga teziri mu liigi ya ggwanga kyavirako okulakulana kw'oludda lwayo lw'abavubuka olwa Nakivubo Boys. Abakungu ba Express bonna badda mu Nakivubo Boys nebategeka ttiimu yabwe empya eyafuuka ey'amaanyi mu mupiira gwa Uganda. Nakivubo Boys yakyusa erinya neefuuka Nakivubo Villa, oluvannyuma n'ekyusa erinya n'eyitibwa Sports Club Villa.[2][3]
Tebwali okutuusa mu sizoni ya 1993 Express bweyawangula ekikopo kya supa liigi, ng'awo baagobererwa akaseera kiraabu mweyasinga okufunira obuwanguzi n'ebikopo bya liigi mu 1995 ne 1996. Awo okutunda emipiira okwalimu baggya ba Express abakyasinze aba Villa baayingirira akaseera kebali bawanguliramu. Ekikolwa kino ekyali kimenya amateeka kyakomekerera mu sizoni ya 2002-2003, nga kunkomerero ya sizoni eno kyayonoona omupiira gwa Uganda nga Villa eteebye ggoolo 22 nga bakuba Akol FC , nekibavirako okuwangula ekikopo kya liigi nga basinga Express omugate gwa ggoolo.[6]
Emyaka 10 egisembyeyo, engeri kiraabu eno gy'ebadde ekolamu mu liigi ezze esereba nga wadde mu 2011-12 kamunye emyuufu zaawangula ekikopo kya liigi omulundi omulala nga bamalidde akabonero kamu wagulu wa Bunamwaya SC. Sizoni eyaddako mu 2012–13 kiraabu eno yamalira mu kifo kya 11, ekifo kyawansi kyebakyasinze okumaliramu nga bali mu kibinja kyawagulu. Mu 2018, baatandikawo kakuyege w'okusonderako ssente ziyambe ttiimu obutasalwako kuva mu supa liigi.[4] Express yawonera watono okusalibwako mu sizoni ya 2017-18, nga baakakasa ekifo kyabwe oluvannyuma lw'okuwangula kiraabu eyali esembye wansi eya Masavu gyebaakuba ggoolo 1-0 mu mupiira ogwali gusembayo mu sizoni.[7] Ekifo kya 13 kyebamaliramu kyekyawansi kyebaali bamaliddemu mu liigi ya wagulu.
Ebikopo
[kyusa | edit source]Okwawukanako n'engeri gyebabadde bakolamu mu liigi, Express ebadde ekola bulungi mu Uganda Cup, ng'ewangudde empaka zino emirundi 10 mu 1985, 1991, 1992, 1994, 1995, 1997, 2001, 2002–03, 2006 ne 2006–07. Beetabye mu mpaka z'ebikopo bya Afrika eziwerako omubadde, ogumu mu mpaka za kiraabu empanguzi ku lukalo lwa Afrika, emirundi 6 mu African Cup of Champions Clubs, emirundi 2 mu CAF Confederation Cup, emirundi 2 mu CAF Cup n'emirundi 5 mu CAF Cup Winners' Cup. Mu 1995, Kamunye Emyuufu zaatuuka ku luzannya oludirira olw'akamalirizo mu mpaka za African Cup of Champions Clubs nebawangulwa abaali bakyampiyoni aba Orlando Pirates kiraabu okuva mu South Afrika ku mugate gwa ggoolo 2-1. Mu kwongerezaako, kiraabu eno ekubiddwa ku fayinolo emirundi 2 mu kikopo ekyetabwau kiraabu okuva mu buvanjuba ne mu masekati ga Afrika, mu 1994 ne 1995.Obuwanguzi obulala bwali bwakuwangula ekikopo kya East African Hedex Super Cup mu 2001–02.
Likodi mu kibinja kyawagulu
[kyusa | edit source]Season | Tier | League | Pos. | Pl. | W | D | L | GS | GA | Pts | |
---|---|---|---|---|---|---|---|---|---|---|---|
1968–69 | 1 | Uganda National First Division | 4th | 14 | 8 | 2 | 4 | 32 | 17 | 18 | |
1969 | 1 | Uganda National First Division | 2nd | 18 | 12 | 2 | 4 | 64 | 24 | 26 | |
1970 | 1 | Uganda National First Division | 4th | 10 | 6 | 1 | 3 | 22 | 13 | 13 | |
1971 | 1 | Uganda National First Division | 4th | 14 | 7 | 2 | 5 | 20 | 20 | 16 | |
1972 | Competition abandoned | ||||||||||
1973 | Competition abandoned | ||||||||||
1974 | 1 | Uganda National League | 1st | 14 | 9 | 4 | 1 | 29 | 12 | 22 | Kyampiyoni |
1975 | 1 | Uganda National League | 1st | 18 | 11 | 5 | 2 | 35 | 15 | 27 | Kyampiyoni |
1976 | 1 | Uganda National League | 2nd | 22 | 16 | 2 | 4 | 47 | 14 | 34 | |
1977 | 1 | Uganda National League | Baabawera | ||||||||
1978–79 | Not permitted to participate | ||||||||||
1980 | 1 | Uganda National League | 5th | 30 | 14 | 6 | 10 | 46 | 41 | 34 | |
1981 | 1 | Uganda National League | 3rd | 32 | 15 | 9 | 8 | 63 | 37 | 39 | |
1982 | 1 | Uganda Super League | 3rd | 18 | 9 | 6 | 3 | 32 | 20 | 24 | |
1983 | 1 | Uganda Super League | 4th | 28 | 16 | 5 | 7 | 54 | 39 | 37 | |
1984 | 1 | Uganda Super League | 3rd | 30 | 14 | 9 | 7 | 49 | 34 | 37 | |
1985 | 1 | Uganda Super League | 2nd | 26 | 19 | 3 | 4 | 50 | 23 | 41 | |
1986 | 1 | Uganda Super League | 8th | 28 | 9 | 9 | 10 | 25 | 28 | 27 | |
1987 | 1 | Uganda Super League | 2nd | 21 | 11 | 8 | 2 | 38 | 14 | 30 | |
1988 | 1 | Uganda Super League | Tebaaliyo | ||||||||
1989 | 1 | Uganda Super League | 2nd | 22 | 14 | 7 | 1 | 37 | 21 | 35 | |
1990 | 1 | Uganda Super League | 4th | 22 | 11 | 4 | 7 | 26 | 17 | 26 | |
1991 | 1 | Uganda Super League | 4th | 20 | 13 | 5 | 2 | 39 | 10 | 31 | |
1992 | 1 | Uganda Super League | 2nd | 26 | 17 | 7 | 2 | 43 | 19 | 41 |
Season | Tier | League | Pos. | Pl. | W | D | L | GS | GA | Pts | |
---|---|---|---|---|---|---|---|---|---|---|---|
1993 | 1 | Uganda Super League | 1st | 28 | 20 | 7 | 1 | 60 | 15 | 47 | Kyampiyoni |
1994 | 1 | Uganda Super League | 2nd | 28 | 20 | 5 | 3 | 64 | 14 | 65 | |
1995 | 1 | Uganda Super League | 1st | 28 | 24 | 2 | 2 | 73 | 16 | 74 | Kyampiyoni |
1996 | 1 | Uganda Super League | 1st | 30 | 23 | 6 | 1 | 61 | 15 | 75 | Kyampiyoni |
1997 | 1 | Uganda Super League | 3rd | 30 | 22 | 6 | 2 | 68 | 18 | 72 | |
1998 | 1 | Uganda Super League Nile SL Serie A |
2nd | 21 | 13 | 5 | 3 | 44 | 17 | 44 | |
1999 | 1 | Uganda Super League | 2nd | 38 | 28 | 8 | 2 | 85 | 15 | 92 | |
2000 | 1 | Uganda Super League | 3rd | 30 | 20 | 5 | 5 | 53 | 24 | 65 | |
2001 | 1 | Uganda Super League | 3rd | 28 | 14 | 7 | 7 | 37 | 25 | 49 | |
2002 | 1 | Uganda Super League | 2nd | 28 | 21 | 3 | 4 | 62 | 20 | 66 | |
2002–03 | 1 | Uganda Super League | 2nd | 27 | 23 | 3 | 1 | 55 | 9 | 72 | |
2004 | 1 | Uganda Super League | 3rd | 29 | 16 | 9 | 4 | 47 | 20 | 57 | |
2005 | 1 | Uganda Super League Group C |
1st | 8 | 5 | 2 | 1 | 10 | 4 | 17 | Baatuuka kuluzannya lw'okuwandulwa nebakoma kuludirira olwa kamalirizo. |
2006 | 1 | Uganda Super League | 3rd | 28 | 15 | 9 | 4 | 32 | 16 | 54 | |
2006–07 | 1 | Uganda Super League | 9th | 32 | 8 | 15 | 9 | 22 | 30 | 39 | |
2007–08 | 1 | Uganda Super League | 6th | 34 | 12 | 15 | 7 | 30 | 20 | 51 | |
2008–09 | 1 | Uganda Super League | 8th | 34 | 14 | 11 | 9 | 28 | 24 | 53 | |
2009–10 | 1 | Uganda Super League | 2nd | 34 | 21 | 9 | 4 | 44 | 15 | 72 | |
2010–11 | 1 | Uganda Super League | 7th | 26 | 9 | 10 | 7 | 18 | 14 | 37 | |
2011–12 | 1 | Uganda Super League | 1st | 28 | 15 | 9 | 4 | 39 | 21 | 54 | Kyampiyoni |
2012–13 | 1 | Uganda Super League | 11th | 30 | 8 | 12 | 10 | 31 | 31 | 36 | |
2013–14 | 1 | Uganda Super League | |||||||||
2020–21 | 1 | Uganda Premier League | 1st | 26 | 17 | 7 | 2 | 44 | 13 | 58 | Kyampiyoni |
Ebyafaayo mu bikopo by'olukalo lwa Afrika
[kyusa | edit source]Byebawangudde
[kyusa | edit source]- Ugandan Cup: 10
- Empaka za East African Hedex Super Cup: 1
- 2001–02.
Bwebakoze mu mpaka ezitegekebwa ekibiina ekifuga omupiira kulukalo lwa Afrika
[kyusa | edit source]- Empaka omwetabwa kiraabu empanguzi okuva ku lukalo lwa Afrika: Beetabyemu omulundi gumu
- 1997 –Lawuundi esooka
- Kiraabu za nnantameggwa w'ekikopo kya Afrika : Beetabyeemu emirundi 6
- 2004 – First Round
- 2008 – First Round
- Empaka za CAF Confederation Cup : Beetabyeemu emirundi 2
- 2004 – First Round
- 2008 – First Round
- Empaka za CAF Cup : Bazetabyeemu emirundi 2
- 1999 – Second Round
- 2003 – First Round
- Empaka za African Cup Winners' Cup: Bakyetabyemu emirundi 5
- 1999 – Second Round
- 2003 – First Round
Abazannyi abaliwo kati
[kyusa | edit source]
|
|
- Omutendesi omukulu
Abazze bagitendeka
[kyusa | edit source]Okuva kiraabu eno bweyatondebwawo, omugatte gw'abasajja 44 beebawereddwa omulimu gw'okubeera abatendesi abakulu mu Express.[11]
Abatendesi abawerezaako ku Express beebano wamangai.[11][12]
Laba ne
[kyusa | edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | edit source]- ↑ 1.0 1.1 https://int.soccerway.com/teams/uganda/express/10540/
- ↑ 2.0 2.1 https://web.archive.org/web/20110818193521/http://soccer256.com/Express%20football%20club.html
- ↑ 3.0 3.1 https://web.archive.org/web/20091219212211/http://expressfootballclub.com/hist.php
- ↑ 4.0 4.1 https://www.thegrapevine.co.ug/save-express-what-you-need-to-know-about-campaign-to-save-ugandas-oldest-football-club/
- ↑ http://www.rsssf.com/tableso/oeghist.html
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2014-01-09. Retrieved 2022-11-25.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://www.thegrapevine.co.ug/save-express-what-you-need-to-know-about-campaign-to-save-ugandas-oldest-football-club/
- ↑ http://www.rsssf.com/tableso/oeghist.html
- ↑ http://scoreshelf.com/rmbb/en/Express_Red_Eagles
- ↑ http://scoreshelf.com/rmbb/en/Express_Red_Eagles
- ↑ 11.0 11.1 "Archive copy". Archived from the original on 2014-02-22. Retrieved 2023-06-19.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2023-06-19. Retrieved 2023-06-19.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link)