Faith Mwondha

Bisangiddwa ku Wikipedia

  Faith Essy Kalikwani Mwondha Munnamateeka wa Uganda era mulamuzi aweereza ng'omulamuzi wa Kkooti ensukkulumu eya Uganda, okuva nga 8 Ogwomwenda 2015.[1]

Obuto bwe n'emisomo gye[kyusa | edit source]

Yazaalibwa nga 16 Ogwokusatu 1964. Okuva mu 1968 - 1971, mu misomo gye egya O-levo yagisomera ku Iganga Secondary School. Emisomo gye egya A-Levo, yagisomera ku Namasagali College, okuva mu 1972 - 1973.[2] Alina Diguliesooka mu mateeka eya Bachelor of Laws, gye yafunira ku Makerere University, mu Kampala, ekibuga kya Uganda ekikulu. era alina Dipuloma mu kutaputa amateeka eya Diploma in Legal Practice, gyeyafunira mu ttendekero ly'abannamateeka erya Law Development Centre, nga nalyo lisangibwa mu Kampala. Diguli ye eyokubiri mu mateeka eya Master of Laws yagifuna okuva mu De Montfort University, mu Leicester, mu Bungereza.[2][3]

Emirimu gye[kyusa | edit source]

Mu 1979, yalondebwa ku daala eryokubiri erya bannamateeka mu Kampala. Mu 1984, yalondebwa nga munnamateeka wa Kkooti enkulu eya Uganda. okuva mu 1987 - 1990, ng'amaze okukakasibwa, yaweereza ng'omulamuzi omukulu owa kkooti y'e Jinja.

Mu 1994, Faith Mwonda yalondebwa ng'omukazi akiikirira ekibuga kye Jinja mu kakiiko akawandiika Ssemateeka nga kekawandiika ssemateka wa Uganda owa 1995. Yali mmemba mu Paalamenti oluvanyuma lwa 1996.

Mu 1996, yalondebwa nga Kaminsona ku kakiiko akalwanirizi k'eddembe. Mu 2001, yalondebwa mu Kkooti enkulu eya Uganda. Mu 2005, yalondebwa ku bwa Kaliisoliiso wa Gavumenti (IGG).

Ebirala eby'omugaso[kyusa | edit source]

Ye mutandiisi w'ekibiina ky'abannamateeka ekya Mwondha & Co. Advocates. Ng'akyali ku Yunivasite y'e Makerere, Mwondha yali muwandiisi wa Mary Stuart Hall. Okuva mu 1991 - 1998, yaweereza mu Kkanisa ya ey'abakulisitaayo eya Uganda n ku kakiiko akatwala amakanisa g'ensi yonna mu Geneva. Era yakola nga mmemba mu kakiiko ka Yunivasite y'e Makerere University, okuva mu 1995 - 1997. Mu 2000, yalondebwa ku kakiiko ka Uganda Christian University, e Mukono. Era memba w'akakiiko ka United Bible Society era ye sentebe w'ekibiina ky'abaaliko abayizi ba Iganga Secondary School.

Laba na bino[kyusa | edit source]

  • Essiga lya Uganda eddamuzi

Ebijuliziddwa[kyusa | edit source]

  1. http://www.judiciary.go.ug/data/news/206/4442/New%20Justices%20Appointed%20to%20the%20Supreme%20Court%20and%20Court%20of%20Appeal.html
  2. 2.0 2.1 https://medium.com/@princemulindwaisaac/profiling-the-justices-of-the-supreme-court-the-career-side-b3a3d0e02bc9
  3. "Archive copy". Archived from the original on 2018-09-07. Retrieved 2023-03-22.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya[kyusa | edit source]