Farah Damji

Bisangiddwa ku Wikipedia

  Farah Damji, yazaalibwa ng'enaku z'omwezi 9, mu mwezi ogw'omwenda mu mwaka gwa 1966, nga era basinga ku mumannya nga Farah Dan,[1][2][3] nzaalwa za Uganda wabula nga mumenyi w'amateeka gwebasingisiza emisango egiwerako gamba ng'obufere wamu n'okubeera nga yali amalako abantu emirembe ekyabaletera ng'okutya ku bululamu bwabwe, mu ggwa lya Amerika, South Afrika wamu ne Bungereza.

Obulamu bwe[kyusa | edit source]

Damji yazaalibwa mu Uganda mu mwaka gwa 1966, nga kitaawe yali nagagga eyalina ssente ng'azikola mu kudaabiriza bintu n'amayumba Amir Damji[4][5], nga yasenguka ne famire ye okugenda mu London ekibuga kya Bungereza mu mwaka gwa 1970.[6] Ayita munamawulire Yasmin Alibhai-Brown ssenga kuba ono mwanyina wa Amir;[4][7] ng'era ono ayogera ku buto bwa kizibwe bwe mu byeyawandiika mu katabo ke aka ''No Place Like Home'' oba tewali kifo kisinga waka. Damji alina obulwadde bw'omutwe obumulemesa okwolesa ky'abeera awulira, ng'era tava ku by'okukozesa njaga wamu n'omwenge.[7][5] Mufumbo ng'are alina abaana babiri.[4][6][7][5][8]

Obulamu bwe mu ggwanga lya Amerika[kyusa | edit source]

Mu mwaka gwa 199 okutuuka mu gwa 1995, Damji yali adukanya ekifo webatundira wamu n'okwolesa ebifanannyi mu ssaza ly'e Manhattan ne mu East Hampton.[9] Mu kaseera ako, yali apangisa ekifo weyali asula yekka. Yawa laadiloodi cceeke gyeyali afunye nga ya doola za ssente za Amerika 20, gyeyali afudde ng'eriko doola 20,000; cceeke weyagaanibwa, laandiloodi yafuna ekiragiro ekyali kimugoba mu nnyumba, era n'awamba n'ebintu bye byonna.[10] Damji oluvannyuma yacupula omukono gw'omulamuzi gweyali atadde ku musonge, n'akyusa n'ekiragiro, ng'ayagala kuddamu kufuna bintu bye, byebaali bamuwambyeko.[10]

Mu mwezi ogw'ekumi, mu mwaka gwa 1995, Damji yasindikibwa mu komera okumala emyezi mukaaga mu bizinga bya Rikers, mu kibuga kya New York, olw'emisango egyo, n'emirala egyali gyekuusa ku kifo gyeyali atundira ebifannanyi n'okuby'olesa: , okubba ebintu ebyali bibalibwamu ssente ennyingi, okubeera n'ebintu ebyali ebijingirire, okukyusa kyusa likodi oba ebiwandiiko bya ofiisi.[9][10] Yaweebwa ekiragiro ky'okusasula ssente za doola za Amerika 72,000, eri abantu abaasinga okukosebwa, n'aweebwa emyaka 4 nga singa abeera azeemu okuzza omusango abeera agenda kudizibwayo mu kkomera.[9]

Mu kaseera ako Damji, yali aweereddwa emyaka nga singa addamu okuzza emisango, nga bamuzaayo mu komera, yaddamu n'azza emisango; ebaluwa y'okumukwata weyayisibwa, yaduka mu Amerika.[10]

Damji yagenda mu ggwanga lya South Afrika; bweyali eyo, yaddamu okuzza emisango emirala egy'ekuusa ku by'ensiimbi, egyamuvirako okumutika nebamukomyawo.[4]

Obulamu bwe mu ggwanga lya Bungereza[kyusa | edit source]

Damji oluvannyuma yaddayo mu ggwanga lya Bungereza. Bweyali eno, yatandikawo, era n'afuuka omusunsuzi w'ebyali bifulumizibwa mu katabo ka ''lifestyle'' oba eneeyisa omujjiji omulala (Another Generation) nga mukusooka baali bakayita ''Indobrit'',[7][10] akazingibwako oluvannyuma lw'okufulumizibwa emirundi 9 nga ne kooti eyawagulu yamusingisa omusango gw'okubeera nga yali yakozesa erinya lya ‘Indobrit’, eryali lyawandiisibwa Dr.Anjoom Mukadam. Enkumu n'enkumu z'abawandiisi , abakubi b'ebifananny, na'abalala abaali bakola mu katabo kano baali tebasasulwa olw'emirimu gyabwe, oba nga baaweebwa cceeke ezaali enfu.[10] Mu kaseera ako, yawandiika ng'engero ezaatekebwa nga ku ttiivi oba mu mawulire, ng'era abantu baali bazimanyi ng'etuufu, nga muno mwemuli olupapula lwa Birmingham Post, okuwandiika mu lupapula lwa New Statesman,[11] wamu ne mu lupapula lwa The Observer.[12]

Mu mwezi ogw'omwenda, mu mwaka gwa 2002, Damji yabba kaadi egya ssente ku byuuma bya baanja okuva eri eyali amukozesa; kuno yagyako ssente ezaali ziwera 3,903 egya ssente za paawuundi za Bungereza.[8][13] Yakwatibwa ku lw'eky, wabula nebamuta ku kakalu ka kooti nga bw'alindirira okuwozesebwa. Bweyalia kukakalu ka kooti, yaddamu okubba kaadi ekozesebwa okutereka ssente okuva ku ayamba okudukanya ebya bizineensi; nga kuno yagyako ssente za paauwndi ya Bungereza eziwera 1,030.[13] Yakwatibwa ku lw'ekyo, wabula era nebamuta ku kakalu ka kooti nga bw'alindirira okuwozesebwa. Mu mwaka gwa 2004, bweyali atereddwa ku kakalu ka kooti nga bw'alindirira olunaku bwebanamuwozesa, yaddamu okubba kaadi endala ekozesebwa okutereka ssente, nga kuno yagyako ssente endala; yaddamu okukola obubbi obulala eby'enjawulo.[8][13]

Okuwulirwa kw'emisango gya gyeyazza mu mwaka gwa 2002 ne 2004, kwali kulina okubeerawo mu mwezi ogw'okubiei, mu mwaka gwa 2005. Wabula ng'okuwulirirwa kuno tekunabeerawo, Damji yakubira omu ku bajulizi abaalina okusalawo omusango guno, neyeefuula okuva mu bakola okuwereza mu by'okusalawo emisango, n'agamba omujulizi nga bweyali talina kubeera mu kooti; era omujulizi ono teyalabikako era okuwulirirwa kw'omusango guno nekwongezebwayo.[5][8][13] Omusango guno bwegwayongezebwayo, Damji yaddamu okubba kaadi okuterekebwa ssente endala, nga kuno kweyateeka okuzza obubbi obulala obw'enjawulo.[10][13]

Ng'enaku z'omwezi 14, mu mwezi ogw'okutaano, mu mwaka gwa 2005, Damji yakwatibwa, nga kuluno baagaana okumuta ku kakalu ka kooti.[10]Oluvannyuma, okuwulirwa kw'omusango gwe kwaliw, nga kwakomekerezebwa ng'enaku z'omwezi 13, mu mwezi ogw'ekumi, mu mwaka gwa 2005[13] Damji yakiriza ng'emisango gy'okubeera nga yali mubbi bwegyali gimusinga, nga kuno kwaliko emirundi 11 egy'okufuna ebintu oba obuwereza ng'ayita mu kulimba bantu, n'emirundi ebiri ng'abuza buza obw'enkanya.[5][10] Obubbi bweyakola bw'agatibwa nga bubalibwamu ssente za paawundi za Bungereza 50,000.[5][14][13] Damji yasindikibwa amale emyaka esatu nekitundu ng'ali mu komera.[5][8][13] Omulamuzi eyali mu kuwulirwa kw'omusango guno, yanyonyola Damji ng'ataali w'amazima era eyali abuza buza abantu".[5][8][13]

Damji yateebwa okumala akeera okuva mu komera lya Downview ng'enaku z'omwezi 22, mu mwezi ogw'omusanvu, mu mwaka gwa 2006, okwetaba mu lukungaana oba mu lukiiko lw'abayigiriza oba abasomesa b'okutendekero lya Open University, wabula nga teyakomawo nga bweyali yeetagibwa ku lunaku olwo.[15][16][17] Yaddamu n'akwatibwa poliisi oluvannyuma lw'enaku e taano, ng'enaku z'omwezi 27, mu mwezi ogw'omusanvu.[16]

Bweyali mu komera Damji, yatandika okuwandiika ebyali bimukwatako; yamaliriza okuwandiika oluvannyuma lw'okuteebwa kwe.[10] Akatabo kano kaafulumizibwa, mu mwezi ogw'omusanvu, mu mwaka gwa 2009, wansi w'erinya nge zesa oba ''Try Me''.[4][6][10][18] Mu katabo kano, Damji akikatiriza nga bweyali adaabiriziddwa, era n'ateeka ebyafaayo bye eby'okubeera omumennyi w'amateeka mu byayita bye.

Wiiki eziwerako zaayitwo oluvannyuma lw'okuteebwa kwe okuva mu komera, Damji yaddamu okukola obufere obulala.[19] Mu mwezi ogw'omusanvu, mu mwaka gwa 2009, Damji yakiriza okubeera nga yazza emisango gyamirundi 3 egy'okubeetra nga teyali mwesimbi mu byeyawaayo mu kakiiko ka Hammersmith and Fulham London Borough Council, nga muno mwalimu ssente omuntu z'aganyulwamu nga basinziira ku bibeera mu mateeka ezaali ziwera 1 pawuundi 17,000 eza ssente za Bungereza; yayongerako ng'agamba nga bwegwali gumusinga emirundi ebbiri bweyalimba eyali laadiloodi, nga muno mwemwali okumufera paaundi 7,685 eza ssente za Bungereza.[20] Ng'enaku z'omwezi 29, mu mwezi ogusooka, mu mwaka gwa 2010, Damji yasindikibwa mu komera okumala emyezi15.[19][21] Mu kuqwulira omusango, omulamuzi eyali mu mitambo yagamba" edaala y'obutaabeera mwesimbu liri kumutendera gwawagulu nnyo, nga guno gwemusango gwesiramula ngako bukyanga mbeerawo.".[10][21][22]

Mu mwezi ogw'okusatu, mu mwaka gwa 2011, Damji yatandikawo kampuni ya Kazuri Properties.[23][24] Kampuni eno yali egamba okubeera nga yatandikawo ekifo abazira webasisinkana, okuyamba abaaliko abajaasi ssaako n'abaawereza mu magye oba abajaasi wabula nebakomekerera mu makomera.[23] Okunoonyereza okwakolebwa aba amawulire ga ''The Sunday Times'' kwazuula nti ekifo kino tekyaliwo, era nekikomekereza nga kigamba nti ekigendererwa kya Damji kyali ''kyakukozesa kakisa ka ssente za gavumenti zeyali eteeka mu kudaabulula abasibe abali mu makomera.".[23] Kampuni eno okuva olwo yasanyizibwawo.[24]

Mu mwezi ogw'omwenda , mu mwakagwa 2013, Damji yatandikawo kampuni eyali eyitibwa, okukomawo ewaka oba ''Coming Home'' mu kibuga Cardiff eky'egwganga lya Wales; yali agamba kampuni eno yali egenda kuyamba abakazi oba abakyala abato okuzuula emirimu.[25][26] Ebaluwa eyali erangirira okutongoza kwa kampuni eno yayita abantu okugenda mu kifo ekyali kiyitibwa Cardiff Castle, ng'egamba nti ssentebe w'ekibiina kya Mear yali agenda kwetaba ku mukolo guno. Okunoonyereza kw'emikutu gya Wales egya yintaneeti kwa kizuula ng'akakiiko akadukanya ekibuga kino aka City of Cardiff Council, akalina obuvunaanyizibwa ku kizimbe kino, kaali tekakimannyiiko nti waali wagenda kubeerawo omukolo guno, ng'era tekaafuna muntu yenna yali ataddeyo kusaba ng'ayagala kutegekera mukolo mu kifo kino; okwongerako, ssentebe w'ekibiina kya a ''Mears'' yagamba " tetulina nkolagana yonna eri ku byansiimbi ne mukyala Damji, oba ekibiina kye".[25] Kampuni ya Damji yasaanawo mu mwezi ogw'okuna, mu mwaka gwa 2015.[26]

Ng'enakuz z'omwezi 19, mu mwezi ogwomunaana, mu mwaka gwa 2016, Damji yakwatibwa nebamuteeka mu komera okumala emyaka 5,oluvannyuma lw'okukizuula nti yali atiisatisa abantu n'okubamalako emirembe enfunda 3.[1][2][3] Yalina yakamala okubeera nga bamuvunaana omusango ogw'okutiisa tiisa abantu ng'enaku z'omwezi 9, mu mwezi ogusooka, mu mwaka gwa 2014. Yateebwa ku kakalu k'ekooti oluvannyuma lw'akaseera akatono, wabula bweyali wabweru ku kakalu k'ekooti ng'alindiridde kuwozesebwa, yaddamu n'atiisatiisa abantu emirundi ebbiri nga kwekwali n'okubamalako emirembe kwamirundi 2: okumu nga kwa musajja y'omu ng'okwasooka, ate okulala ku basajja ab'enjawulo.[1][2][3] Abadde atiisa tiisa abantu ng'akozesa erinya Farah Dan n'amala manji geyeetuuma. Okutiisatiisa n'okumalako abantu emirembe okwasooka kwaliko okukuba amasimu 180 agaali galimba limba wamu n'okusindika obubaka gy'ali; ng'asindikira obubaka ng'kozesa emikutu gya yintaneeti eri abantu abasajja baakolagana nabo mu bizineensi, wamu ne mikwano gye; ng'awandiika n'okutondawo ebintu ebikyamu ebyali bigamba nga mukyala we bweyali ayisibwa obubi mu maka; okusindika ebintu eby'obukaba eri mutabani we ow'emyaka 16; okutiisa tiisa kw'okubeera nga yali agenda kukabasanya muwala we ow'emyaka omukaaga.[1][3] Damji baali baamulumirizrizaako okubeera nga yali atiisa tiisa n'okumalako omunwadiisi amannyikiddwa nga William Dalrymple emirembe, mu mwaka gwa 2004.[27] Dalrymple yategeezaako poliisi y'e Bungereza, naye tewali kuwawabibwa kw'amateeka kwakolebwa kuba okutiisibwa tiisibwa kuno nw'okumalako emirembe kwaliwo Damji bweya goberera Dalrymple mu ggwanga lya Buyindi, nga yali wabweru, amayteeka ga Bungereza weyagaoma okukola. Ng'emyaka gya 1990 ginatera okugwaako, Damji bweyali abeera mu ggwanga lya Amerika, yamalako abaaliko abaagala emirembe bweyasikirizibwa munegri y'omukwano ekyabavirako okwawukana muneri ey'obulabe".[10])

Mu mwezi ogw'omwenda, mu mwaka gwa 2017, bweyali asibiddwa mu komera lya Bronzefield, Damji yajuza okusaba kw'okuwulirwa eri minisitule y'obwenkanya.[28] Okusaba kuno kwali kwakufuna bubaka obukwata ku bakazi abasibe nga bali wansi w'okulabirirwa abakozi ababeera balondedwamu. Minisitule yasalawo okugaana okusaba kuno, ng'egamba kwali kunyiiza. Mu mwezi ogw'okubiri, mu mwaka gwa 2018, Damji yatekayo okusaba kwe eri okusalawo kwa minisitule eri ofiisi y'omubaka w'eby'embuliziganya. Ng'enaku z'omwezi 6, mu mwezi ogw'omukaaga, mu mwaka gwa 2018, ofiisi y'omubaka w'eby'empuliziganya, yawagira okusalwo kwa minisitule, n'eyongerako ng'egamba nti Damji olulimi lweyakoze lwali luvuma, lwali lugendererwa eri abantu basekinoomu ng'era Damji yalina ensonga z'obuntu eri abantu ba sekinoomu, abaali batereddwa mu kusaba kwe".[28] Ng'enaku z'omwezi 4, mu mwezi ogw'omusanvu, mu mwaka gwa 2018, Damji yatekayo okusaba kwe eri ofiisi y'omubaka w'eby'empuliziganya, okusalwo ddi okuwulirwa kw'omusango guno bwekwalina okubeerawo; ng'enaku z'omwezi 27, mu mwezi ogw'ekuminoogumu, mu mwaka gwa 2018, akakiiko akatabaganya obutakaanya kaagana okukiriza okusaba kwe.[29]

Ng'enaku z'omwezi 19, mu mwezi ogw'ekumi, mu mwaka gwa 2018, Damji yalabikako mu kooti nga bamulumiriza okubeera nga yamenya amateeka ga kooti geyali yamuteekako nga gamutangira obutabeerako bintu by'akola.[30]

Mu mwezi ogw'omukaaga, mu mwaka gwa 2021 Damji yatandika okuwulira kwe okw'ekooti y'amateeka eri ekitongole ekiwereza abantu mu by'obulamu, nga kigamba baali balemereddwa okumujanjaba obulwadde bw'omutwe bweyali alna bweyali mukomera.[31]

In 2waka gwa 6 Da,mji hasanyonyolwa ab'amawulire ga The Sunday Times nga ''omukazi omufere eyali ammmyikiddwa", [4], ate amawulire amalala gaali gamuyita ''omukazi w'omukibuga ky'e London eyali ow'obulabe'' mu mwaka gwa 2021.[32]

Eggwanga lya Ireland lisaba adizibweyo mu ggwanga gyeyadiza emisango[kyusa | edit source]

Bweyali mu kibuga London ng'alumizibwa okubeera nga yaliko emisango gyeyali azizza, eky'okumenya amateeka ga kooti agaali gamutangira obutabeerako byakola, Damji yaduka mu ggwanga lya Ireland mu mwezi ogw'okubiri, mu mwaka gwa 2020, ng'eno gyeyakwatibwa mu mwezi ogw'omunaana, mu mwaka gwa 2020. Ekooti enkulu ey'eggwanga lya Ireland ylagirwa adisibweyo mu ggwanga lya Bungereza mu mwezi ogusooka, mu mwaka gwa 2022. Damji yali agamba era ng'akayana ng'obujanjabi obwali bumuweebwa mu makomera ga Bungereza webwali tebumala eri byeyali yeetaaga,, ng'era yali atandise okusaba kwe eri okudisibwayo gyeyali azizza emisango.[33]

  1. 1.0 1.1 1.2 1.3 {{cite news}}: Empty citation (help)https://www.standard.co.uk/news/crime/jailed-obsessive-stalker-who-set-out-to-destroy-businessmans-life-after-he-rejected-her-advances-a3325536.html
  2. 2.0 2.1 2.2 http://www.itv.com/news/london/2016-08-20/stalker-jailed-for-campaign-against-church-warden/"Stalker jailed for campaign against married church warden", itv.com, 20 August 2016. Retrieved 2016-08-22.
  3. 3.0 3.1 3.2 3.3 "Woman jailed for stalking", Metropolitan Police, 20 August 2016, archived from the original on 2016-08-23, retrieved 2023-04-05
  4. 4.0 4.1 4.2 4.3 4.4 4.5 https://www.standard.co.uk/lifestyle/confessions-of-londons-most-dangerous-woman-6736548.htmlRoberts, Alison (15 July 2009), "Confessions of London's most dangerous woman", London Evening Standard. Retrieved 2017-06-06.
  5. 5.0 5.1 5.2 5.3 5.4 5.5 5.6 5.7 {{cite news}}: Empty citation (help)https://www.telegraph.co.uk/news/uknews/1500613/Woman-posed-as-Blunkett-aide-to-stop-her-own-trial.html
  6. 6.0 6.1 6.2 https://en.wikipedia.org/wiki/ISBN_(identifier)Damji, Farah (2009), Try Me, The Ark Press. Template:ISBN
  7. 7.0 7.1 7.2 7.3 https://www.independent.co.uk/news/media/it-seems-i-am-the-cause-of-great-consternation-409951.htmlAdams, Guy (30 July 2006), "'It seems I am the cause of great consternation'...", The Independent on Sunday. Retrieved 2021-08-13.
  8. 8.0 8.1 8.2 8.3 8.4 8.5 https://www.independent.co.uk/news/uk/crime/tycoons-daughter-is-jailed-for-card-theft-319508.htmlRoberts, Geneviève (13 October 2005), "Tycoon's daughter is jailed for card theft", The Independent. Retrieved 2016-08-19.
  9. 9.0 9.1 9.2 {{cite news}}: Empty citation (help)https://www.nytimes.com/1995/11/05/nyregion/neighborhood-report-upper-east-side-gallery-owner-s-specialty-con-art.html
  10. 10.00 10.01 10.02 10.03 10.04 10.05 10.06 10.07 10.08 10.09 10.10 10.11 10.12 https://en.wikipedia.org/wiki/Hodder_&_StoughtonThompson, Tony (2011), Gang Land (London: Hodder & Stoughton), chap.13.
  11. http://www.newstatesman.com/writers/314493"Writers—Farah Damji", New Statesman. Retrieved 2018-04-11.
  12. https://www.theguardian.com/observer/worldview/story/0,,1028456,00.htmlDamji, Farah (24 August 2003), "Shedding the shame of Uganda", The Observer. Retrieved 2017-06-06.
  13. 13.0 13.1 13.2 13.3 13.4 13.5 13.6 13.7 13.8 http://www.thetimes.co.uk/tto/news/uk/article1906487.eceShaikh, Thair (14 October 2005), "Tycoon’s daughter jailed for stolen credit card scam", The Times.
  14. {{cite news}}: Empty citation (help)http://www.thetimes.co.uk/tto/news/uk/article1946055.ece
  15. https://www.theguardian.com/news/blog/2006/jul/27/thenetsnotclOliver, Mark (27 July 2006), "The net's not closing for this fugitive", The Guardian. Retrieved 2017-06-06.
  16. 16.0 16.1 {{cite news}}: Empty citation (help)http://news.bbc.co.uk/1/hi/england/london/5242934.stmhttp://news.bbc.co.uk/1/hi/england/london/5242934.stm
  17. https://www.independent.co.uk/news/uk/crime/socialite-jailed-for-16350000-fraud-flees-open-prison-409431.htmlAdams, Guy (26 July 2006), "Socialite jailed for £50,000 fraud flees open prison", The Independent. Retrieved 2017-06-06.
  18. Jarvis, Alice-Azania (9 July 2009), "Book launch full of slimy characters", The Independent, retrieved 2016-09-18.https://www.independent.co.uk/news/people/pandora/pandora-hot-shot-shahid-relinquishes-his-title-1738063.html
  19. 19.0 19.1 {{cite news}}: Empty citation (help)http://www.getwestlondon.co.uk/news/local-news/serial-fraudster-sent-back-jail-6000257
  20. {{cite news}}: Empty citation (help)http://www.pressgazette.co.uk/former-magazine-editor-admits-benefit-fraud/
  21. 21.0 21.1 {{cite news}}: Empty citation (help)https://www.telegraph.co.uk/news/uknews/crime/7102283/Socialite-jailed-for-housing-fraud-dripping-with-dishonesty.html
  22. "Fraudster jailed for 15 months", London Borough of Hammersmith & Fulham, 1 February 2010, archived from the original on 2014-09-07, retrieved 2023-04-05
  23. 23.0 23.1 23.2 https://web.archive.org/web/20160828122600/http://www.thesundaytimes.co.uk/sto/news/uk_news/National/article705192.ecehttps://web.archive.org/web/20160828122600/http://www.thesundaytimes.co.uk/sto/news/uk_news/National/article705192.eceLeppard, David & Hookham, Mark (21 August 2011), "Fraudster eyes Tory rehab cash", The Sunday Times.
  24. 24.0 24.1 https://beta.companieshouse.gov.uk/company/07548430/filing-history"Kazuri Properties CIC—Filing history", Companies House. Retrieved 2018-09-02.
  25. 25.0 25.1 {{cite news}}: Empty citation (help)http://www.walesonline.co.uk/news/wales-news/convicted-fraudster-plans-networking-event-6253575#!
  26. 26.0 26.1 "Coming Home (Cardiff) Ltd—Filing history", Companies House. Retrieved 2018-09-02.
  27. http://zeenews.india.com/home/mystery-estalker-targets-dalrymple-the-asian-age_136937.html"Mystery e-stalker targets Dalrymple", Zee News, 16 December 2003. Retrieved 2018-04-11.
  28. 28.0 28.1 https://ico.org.uk/media/action-weve-taken/decision-notices/2018/2259195/fs50725990.pdf"Freedom of Information Act 2000 - FS50725990", Information Commissioner's Office.
  29. https://www.gov.uk/government/uploads/system/uploads/attachment_data/file/770779/Register_of_Case__11.01.19_v2a.csvFirst-tier Tribunal (General Regulatory Chamber) information rights appealsTemplate:Dead link. Retrieved 2019-01-24.
  30. http://courtnewsuk.co.uk/convicted-stalker-breached-restraining-order-after-serving-sentence/"Convicted stalker 'breached restraining order after serving sentence'", Court News UK (19 October 2018). Retrieved 13 November 2018.
  31. {{cite web}}: Empty citation (help)https://news.sky.com/story/ex-female-prisoner-to-become-first-to-publicly-sue-nhs-over-mental-health-care-in-jail-12321653
  32. https://www.independent.co.uk/voices/commentators/matthew-bell-the-ios-diary-5512386.htmlBell, Matthew (13 December 2009), "The IoS Diary", The Independent on Sunday. Retrieved 2017-06-06.
  33. {{cite news}}: Empty citation (help)https://www.irishtimes.com/news/crime-and-law/courts/high-court/high-court-orders-extradition-of-on-the-run-fraudster-farah-damji-to-the-uk-1.4790294