Jump to content

Fauziah Nakiboneka

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Fauziah Nakiboneka (yazaalibwa 15 Omwezi ogwokutaano 1977) muzannyi wa katemba , muyimbi, muziinyi era afaayo oba akwatibwako ku lw'obulungi bw'abalala n'addala abali mu bwetaavu. [1] [2] Muzannyi mukulu mu The Ebonies, ekimu ku bibiina bya katemba wokusiteegi ebisinga okukola obulungi mu Uganda era ebisinga obukadde.

Fauziah era amanyiddwa nga Fuzzy yazaalibwa Kyaddondo, bazadde be Hajji Abdul Bbosa ne Hajjat Zuriat Bbosa ab’e Masajja.

Yasomera ku ssomero ky'abato erya Victoria Kindergarten, essomero lya pulamimale erya Maim Street Primary School Jinja, Najjanankumbi YCS, Aga Khan High School ne yunivasite ya Kampala Internattional Univesity

Omulimu gw’okuzannya katemba

[kyusa | kolera mu edit source]

Fauzia yeegatta ku kisaawe kya katemba ng’ayita mu kibiina kya The Ebonies mu 1999, mu luwummula ng'amaliriza ebigezi by'omutendera gwa siniya eyomukaaga (S.6 Vacation) . Akulembeddemu endaga nnyingi ezikutte abantu omubabiro era nezisiimibwa mu lujjudde omuli That's Life Mwattu, Kyeeko nekati oguliko ogwa OMG nga Sarah Gava. Mu 2014, Fauziah yateekateeka ekivvulu ekikwata ku ye ng'omuntu ekyasooka, ekyatuumibwa Fauziah Nakiboneka y'ani? (Who is Fauzia Nakiboneka? ) ekyafuuka ekivulu ekyasinga okukola obulungi wansi w'ebivvulu ebikwata ku bazannyi ba Ebonies ebyalagibwanga ku ntimbe ekiro.


Nakiboneka n'era yayolesa ekivvulu kyokusiteegi ekyatuumibwa Sarah Gava Extravaganza Show nga 21 Omwezi ogwekkuminoogumu 2019 ku kifo ekizannyirwamu ekya Theatre Labonita nga bwayimba, bwazina n’okukozesa emikono ebigere n'omubiri. Yeeggattibwako mikwano gye abayimbi n'abazannyi ba katemba Ykee Benda, Harriet Nalubwama (Nakawunde), Gravity Omutujju, Levixone, Halima Namakula, Patriko, Cindy Sanyu, The Ebonies, Akaalo Band n'abalala. [3]

Fauziah abadde kitundu ku Ebonies okuva mu myaka gye egy’obutiini. Ebonies kye kimu ku bibiina bya katemba owookusiteegi ebisinga okukola obulungi era ebikadde mu Uganda, nga kyatandikibwa mu 1977 nga kimaze emyaka egisoba mu makumi asatu nga kisanyusa bannayuganda n’ensi yonna.

Ng’oggyeeko emizannyo gyabwe egigezesebbwa nga giragibwqa ku ttivi nga That’s Life Mwattu, Bibaawo;These Things Happen , Kyekyo, Obulamu Kyeki n'oluvannyuma, OMG . Aba Ebonies mu myaka 35 egiyise bayimbye ezimu ku nnyimba ezisinze okukola obulungi mu byafaayo by’okuyimba kwa Uganda. Ennyimba nga Twalina Omukwano negufa, Munyambe Ntukeyo - zonna nnyimba ezaayiiyizibwa Ebonies. [4] [5] [6] [7] [8] [9]

Omulimu gw’okuyimba

[kyusa | kolera mu edit source]

Fauziah akoze ku nnyimba ez’enjawulo mu biti byombi ng'omuyimbi ate nga omuwandiisi w'ennyimba. Ezimu ku nnyimba mulimu Salary, Just A Woman [10] ne Together for Her . Ennyimba za Fauziah ezisinga zeetoloolera ku kulwanirira kusoma kwa mwana wa buwala n’eddembe n’okukwata ku mukono abakazi okubongera amanyi.

Mu 2016, ekitongole kya Plan International kyamuwa omulimu ogw'okukwata oluyimba ku lutambi olukwata ku mwana omuwala olwatuumibwa Fenna wamu ku lulwe ( Together for her ) olwafulumizibwa Nesim ku kkolero ly'ennyimba (Studio) erya Badi Wotd.

Emirimu gy’obuzirakisa

[kyusa | kolera mu edit source]

Fauziah kumpi emyaka kkumi abadde awagira ekitongole kya Missionaries of the Poor, Amaka ga Good Shepherd Home mu Mengo Kisenyi n'amaka g'abaana aga Father Raymond Kids Home mu Kabowa. Obuwagizi bubadde buyita mu bintu ebyetaagibwa mu kusoma ne mu nsimbi eziweebwayo.

Fauziah n'era ye kennyini alabirira abaana babiri , Kizito (Ow'emyaka 19 ) okuva mu 2014 ne Diana (Ow'emyaka 8) okuva mu nasale.

Bbasale ya Fauziah Nakiboneka ey'ebyenjigiriza

[kyusa | kolera mu edit source]

Ng'awagirwa essomero lya siniya erya London College Nansana, Fauziah awayo bbasale z’amasomero eri abayizi 20 aba siniya buli mwaka eri abayizi ababeera basukkulumye mu bintu ebikolebwa wabweru w'ekibiina. Omukago guno gwatandika oluvannyuma lw’olunaku lweyasooka okulaga ekivvulu kye eky'e ekiro ku ntimbe mu 2014.

Obulamu bwe ng'omuntu

[kyusa | kolera mu edit source]

Fauzia emabegako yali yafumbirwa munnakatemba munne mu kibiina kya The Ebonies, Ronnie gwe yasisinkana ng’akola ku muzannyo gwa siteegi ogwa ‘Daisy’. Ababiri bombi baayaniriza omwana omuwala mu 2003. [11]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. "Fauziah Nakiboneka – Film Hackers Uganda". filmhackers.org. Archived from the original on 2020-06-19. Retrieved 2020-06-18.
  2. "The Ebonies in an Enthralling Easter Production". HiPipo. Archived from the original on 2018-08-11. Retrieved 2020-06-18.
  3. "Ebonies Star Fauziah Set For Screen Night". Showbizuganda. Archived from the original on 2020-06-18. Retrieved 2020-06-18.
  4. "Fauziah Nakiboneka was born for theatre - Daily Monitor". monitor.co.ug. Retrieved 2020-06-18.
  5. "The Observer - Uganda". observer.ug. Archived from the original on 2020-06-18. Retrieved 2020-06-18.
  6. "Ebonies To Perform At Unaa Convention In Boston". newvision.co.ug. Retrieved 2020-06-18.
  7. "Curtain falls on 'agony aunt' Cissy". The East African. Archived from the original on 2020-06-19. Retrieved 2020-06-18.
  8. "The Excruciating Conundrum Of The Ebonies". newvision.co.ug. Retrieved 2020-06-18.
  9. "The Ebonies: from music group to theatre outfit - Daily Monitor". monitor.co.ug. Retrieved 2020-06-18.
  10. "Bukedde Online - Bukedde akwataganye ne Ebonies okulwanyisa obwamalaaya". bukedde.co.ug. Archived from the original on 2020-06-19. Retrieved 2020-06-18.
  11. "Just a Woman". youtube.com. Retrieved 2020-06-18.
  12. "Bukedde Online - 'Omusajja gwe nazannya naye ebya laavu kati ye baze'". bukedde.co.ug. Archived from the original on 2020-06-19. Retrieved 2020-06-18.

Ebijuliziddwa wabweru wa Wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]

 

  • Fauziah Nakiboneka ku IMDb
  • Fauziah Nakiboneka ku Facebook
  1. "Fauziah Nakiboneka – Film Hackers Uganda". filmhackers.org. Archived from the original on 2020-06-19. Retrieved 2020-06-18.
  2. "The Ebonies in an Enthralling Easter Production". HiPipo. Archived from the original on 2018-08-11. Retrieved 2020-06-18.
  3. "Ebonies Star Fauziah Set For Screen Night". Showbizuganda. Archived from the original on 2020-06-18. Retrieved 2020-06-18.
  4. "Fauziah Nakiboneka was born for theatre - Daily Monitor". monitor.co.ug. Retrieved 2020-06-18.
  5. "The Observer - Uganda". observer.ug. Archived from the original on 2020-06-18. Retrieved 2020-06-18.
  6. "Ebonies To Perform At Unaa Convention In Boston". newvision.co.ug. Retrieved 2020-06-18.
  7. "Curtain falls on 'agony aunt' Cissy". The East African. Archived from the original on 2020-06-19. Retrieved 2020-06-18.
  8. "The Excruciating Conundrum Of The Ebonies". newvision.co.ug. Retrieved 2020-06-18.
  9. "Bukedde Online - Bukedde akwataganye ne Ebonies okulwanyisa obwamalaaya". bukedde.co.ug. Archived from the original on 2020-06-19. Retrieved 2020-06-18.
  10. "Just a Woman". youtube.com. Retrieved 2020-06-18.
  11. "Bukedde Online - 'Omusajja gwe nazannya naye ebya laavu kati ye baze'". bukedde.co.ug. Archived from the original on 2020-06-19. Retrieved 2020-06-18.