Fazila Ikwaput
Appearance
Fazila Ikwaput yazaalibwa ng'enaku z'omwezi 15, mu mwezi ogw'omwenda, mu mwaka gwa, 1995, nga munayuganda omuzannyi w'omupiira, ng'agusambira ttiimu y'eggwanga lya Uganda ey'abakazi.[1]
Kiraabu zazze azaannyira
[kyusa | edit source]Ikwaput mu mwaka gwa 2017 ne 2018, mu sizoni ya liigi ya Buyindi ey'abakazi eyawagulu yazannyira kiraabu ya Gokulam Kerala FC ey'abakazi , n'ateeba ggoolo 5 ku ttiimu eyo. Nga mu mwaka gwegumu, yafuuka omukazi omunayuganda nga muzannyi wa mupiira okuzannya ebibinja by'emipiira gya bulaaya egyetabibwamu kiraabu empunguzi ne kiraabu y'e Kazakhstan eyitibwa BIIK Kazygurt. Fazila esangi zino asambira Omonoia FC ey'abakazi mu ggwanga lya Cyprus.
Ggoolo z'ateebye ku mutendera gw'ensi
[kyusa | edit source]Okuteeba n'ebyava mu mipiira biri ku lukalala lwa ggoolo za Uganda ezagaibwa okusooka
Namba | Enaku z'omwezi | Ekisaawe | Gwebaali bazannya | Gwagwa gutya | Ebyavaamu | Empaka |
---|---|---|---|---|---|---|
1 | Ng'enaku z'omwezi 17, mu mwezi ogw'ekuminoogumu, mu mwaka gwa 2019 | Ku kisaawe kya Chamazi, mu Mbagala, mu ggwanga ly'e Tanzania | Djibouti | 6–0 | 13–0 | Empaka ezeetabibwamu amawanga okuva mu buvanjuba,ne mu masekati ga Afrika ez'omwaka gwa 2019 |
2 | 8–0 | |||||
3 | 9–0 |