Felix Chemonges
Felix Chemonges (yazaalibwa nga 10 Ogwekkumi 1995)[1][2] munnayuganda omuddusi w'embiro empanvu.
Mu 2018, yavuganya mu mbiro z'abasajja ez'amubuna byalo eza 2018 IAAF World Half Marathon Championships ezaali mu kibuga Valencia ekya Spain.[2] Yamalira mu kifo kya 26.[2] Mu Gwekkuminogumu, Felix yakola ekyafaayo kye ekyasooka bw'emalira mu ky'okubirir mu ssaawa 2:11:57 mu misinde gya mubuna byalo egya Beirut Marathon.
Mu 2019, Chemonges yali w'akubiri mu misinde gya Borealis Linz Donau Marathon egyali mu Austria mu budde bwa saawa 2:09:19. Mu misinde gye egyaddako mu Toronto Waterfront Marathon Chemonges yayongera okukola obulungi nga kino ky'amuteekesa mu likodi ya Uganda ng'omuddusi ow'okusatu mu ssaawa 2:05:12.
Mu 2020, Chemonges yavuganya mu mbiro za Lake Biwa Mainichi Marathon ez'omulundi ogwa 76 nga yamalira mu kifo kya mwenda ne ssawa 2:10:08.
Mu mwaka gwa 2021, Chemonges yetaba mu misinde mubunabyalo egya NN Mission Marathon mu Enschede, Netherlands, gyeyamalira mu kifo kya 8th mu ssaawa 2:09:59.[3] Olw'okaano lw'awangulwa munnakenya Eliud Kipchoge. era Chemonges yalondebwa okwegata ku baddusi banne Stephen Kiprotich ne Fred Musobo ku ttiimu ya Uganda ey'abasajja abaddusi b'emisinde mubunabyalo mu mizannyo gya 2020 Tokyo Olympic Games. [4]
Ebijuliziddwamu
[kyusa | edit source]- ↑ https://worldathletics.org/athletes/uganda/felix-chemonges-14732235
- ↑ 2.0 2.1 2.2 https://web.archive.org/web/20200109183644/https://media.aws.iaaf.org/competitiondocuments/pdf/6023/AT-HMAR-M-f----.RS6.pdf Cite error: Invalid
<ref>
tag; name "men_results_iaaf_world_half_marathon_2018" defined multiple times with different content - ↑ https://worldathletics.org/athletes/uganda/felix-chemonges-14732235
- ↑ https://www.independent.co.ug/olympics-stephen-kiprotich-picked-for-uganda-marathon-team/
Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya
[kyusa | edit source]Felix Chemonges mu misinde gy'ensi yonna
Felix Chemonges mu misinge gya OlympediaLua error: Invalid configuration file.